bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 6
John 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
1
Oluvannyuma, Yezu n'agenda emitala w'Ennyanja y'e Galilaaya, ye Nnyanja ya Tiberiya;
2
ekibiina ne kimugoberera, kubanga abantu baali balabye obubonero bwe yali akola ku balina obuyongobevu.
3
Yezu n'alinnya ku lusozi, n'atuula eyo wamu n'abayigirizwa be.
4
Pasika, embaga enkulu ey'Abayudaaya, yali kumpi.
5
Yezu bwe yasitula amaaso n'alaba ng'ekibiina kijja gy'ali; n'agamba Filippo nti: “Tunaagula wa emigaati abantu bano balye?”
6
Kino yakyogera kumugeza bugeza; ye yali amanyi ky'agenda okukola.
7
Filippo n'amuddamu nti: “Dinaari ebikumi ebibiri nazo tezandimaze kugula migaati buli muntu kufunako katundu.”
8
Omu ku bayigirizwa be, Andureya muganda wa Simoni Petero, n'amugamba nti:
9
“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n'ebyennyanja bibiri; naye ebyo bye biki ku bangi bati?”
10
Yezu n'agamba nti: “Abantu mubatuuze.” Mu kifo ekyo mwalimu omuddo mungi, abasajja ne batuula, nga bawera ng'enkumi ttaano.
11
Awo Yezu n'atoola emigaati; bwe yamala okwebaza, n'agabira abaali batudde; n'ebyennyanja nabyo, buli omu nga bwe yali ayagala.
12
Bwe baamala okukkuta, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, wabulewo ekyonooneka.”
13
Ne bakuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby'obutundutundu obw'emigaati gya sayiri etaano obwalema abo abaalya.
14
Abantu bwe baalaba akabonero Yezu k'akoze, ne bagamba nti: “Ono ye Mulanzi ddala ow'okujja mu nsi.”
15
Yezu bwe yategeera nga bali kumpi okujja okumukwata n'empaka bamufuule kabaka, n'addukira nate mu nsozi yekka.
16
Bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja.
17
Ne basaabala mu lyato, ne bawunguka okugoba e Kafarunawumu; enzikiza yali yakutte dda, naye Yezu nga tannajja gye bali.
18
Awo ennyanja n'esiikuuka, kubanga empewo ey'amaanyi yali ekunta.
19
Bwe baali bavuzeeko sitadiyo ng'amakumi abiri mu ttaano oba asatu, ne balaba Yezu ng'ajja atambula ku nnyanja asemberera eryato, ne batya.
20
Ye n'abagamba nti: “Ye nze, temutya.”
21
Ne baagala okumusaabaza mu lyato; amangu ago eryato nga lyatuuse dda ku ttale gye baali bagenda.
22
Ku lunaku olwaddako, abantu abaali basigadde emitala w'ennyanja baalaba nga tewaali lyato ddala, wabula limu, era nga Yezu teyasaabadde wamu na bayigirizwa be, abayigirizwa nga baagenze bokka.
23
Kyokka waaliwo amaato amalala agaava e Tiberiya ne gagoba kumpi n'ekifo mwe baaliira omugaati Omukama ng'amaze okwebaza.
24
Bwe baalaba nga Yezu taliimu, newandibadde abayigirizwa be, ne basaabala bennyini mu maato, ne bagguka e Kafarunawumu nga banoonya Yezu.
25
Bwe baamusanga emitala w'ennyanja, ne bamugamba nti: “Rabbi, wazze ddi eno?”
26
Yezu n'abaanukula nti: “Mbagambira ddala mazima nti temunnoonya kubanga mwalaba obubonero, wabula kubanga mwalya emigaati ne mukkuta.
27
Muleme kukolerera mmere eyonooneka, wabula eyo ebeerera n'etuusa mu bulamu obutaggwaawo Omwana w'Omuntu gy'alibawa; kubanga Katonda Taata ono yamussaako akabonero ke.”
28
Ne bamugamba nti: “Tukole ki okukola ebikolwa bya Katonda?”
29
Yezu n'abaanukula nti: “Guno gwe mulimu gwa Katonda: nti mukkirize oyo ye gwe yatuma.”
30
Bo kwe kumugamba nti: “Kabonero kaluwa ggwe k'okola tukalabe tulyoke tukkirize? Okola kaluwa?
31
Bajjajja baalya manu mu ddungu, nga bwe baawandiika nti: ‘Yabawa omugaati oguva mu ggulu balye.’ ”
32
Yezu n'abagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti Musa si ye yabawa omugaati ogwava mu ggulu; wabula Kitange y'abawa omugaati ddala ogw'omu ggulu.
33
Omugaati gwa Katonda gwe gwo ogukka nga guva mu ggulu ne guwa ensi obulamu.”
34
Bo kwe kumugamba nti: “Ssebo, tuwenga omugaati ogwo bulijjo.”
35
Yezu n'abagamba nti: “Nze mugaati gw'obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, n'anzikiriza taliddayo kulumwa nnyonta.
36
Naye nabagambye nti mwandaba naye ne mutanzikiriza.
37
Buli kyonna Taata ky'ampa kirijja gye ndi; era oyo ajja gye ndi sigenda kumugobera bweru.
38
Kubanga nakka nga nva mu ggulu si lwa kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala.
39
Oli eyantuma kino ky'ayagala, nti buli kyonna kye yampa wabulewo ekinfa; wabula nkizuukize ku lunaku olw'oluvannyuma.
40
Kitange kino ky'ayagala, nti buli yenna alaba Mwana n'amukkiriza, aweebwe obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma.”
41
Abayudaaya ne bamwemulugunyiza kubanga yali agambye nti: “Nze mugaati ogwakka nga guva mu ggulu.”
42
Ne bagamba nti: “Ono si Yezu omwana wa Yozefu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? Kale ayinza atya okugamba nti: ‘Nakka nga nva mu ggulu?’ ”
43
Yezu kwe kwanukula n'abagamba nti: “Muleke kwemulugunyiza eyo mwekka na mwekka;
44
tewali ayinza kujja gye ndi wabula Taata eyantuma ng'amuleese; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma.
45
Mu balanzi baawandiika nti: ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Buli eyawulira Taata n'ayiga, ajja gye ndi.
46
Si kwe kugamba nti waliwo n'omu eyali alabye ku Taata, okuggyako oyo yekka eyava ewa Katonda; ye yalaba Taata.
47
Mbagambira ddala mazima nti akkiriza abeera n'obulamu obutaggwaawo.
48
Nze mugaati ogw'obulamu.
49
Mu ddungu, bajjajjammwe baalya manu, ne bafa.
50
Guno gwe mugaati oguva mu ggulu, oli aliba aguliddeko aleme kufa.
51
Nze mugati omulamu, ogwakka nga guva mu ggulu; buli aliba alidde ku mugaati guno, aliba mulamu emirembe gyonna; ate omugaati gwe ndibawa ye nnyama yange olw'obulamu bw'ensi.”
52
Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka nga bagamba nti: “Ono ayinza atya okutuwa ennyama ye okugirya?”
53
Yezu n'abagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti bwe mutaalyenga nnyama ya Mwana wa muntu, bwe mutanywenga musaayi gwe, temuubeerenga na bulamu mu mmwe.
54
Alya ennyama yange n'anywa omusaayi gwange abeera n'obulamu obutaggwaawo, nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma.
55
Kubanga ennyama yange mmere ddala, n'omusaayi gwange kyakunywa ddala.
56
Alya ennyama yange n'anywa omusaayi gwange abeera mu nze nange ne mbeera mu ye.
57
Nga Taata omulamu bwe yantuma, era bwe ndi omulamu ku bwa Taata, n'oli andya bw'aliba omulamu ku bwange.
58
Guno gwe mugaati ogwakka nga guva mu ggulu; teguli nga guli bajjajjammwe gwe baalya ne bafa. Alya omugaati guno, alibeera mulamu emirembe gyonna.”
59
Bino yabyogerera mu sinaagooga, ng'ayigiriza e Kafarunawumu.
60
Bangi mu bayigirizwa be bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo bikalubo; ye ani ayinza okubiwuliriza?”
61
Yezu bwe yategeera munda ye ng'abayigirizwa be babyemulugunyiza, n'agamba nti: “Ekyo kibeesittazza?
62
Leero nno bwe muliraba Omwana w'Omuntu ng'alinnya gye yabeeranga?
63
Ekiwa obulamu mwoyo; omubiri mpaamu kantu; ebigambo bye mbagambye biba mwoyo, biba bulamu.
64
Kyokka abamu mu mmwe tebakkiriza.” – Anti okuviira ddala mu masooka, Yezu yali amanyi abo abatakkiriza n'eyali agenda okumulyamu olukwe. –
65
N'agamba nti: “Kyenvudde mbagamba nti mpaawo asobola kujja gye ndi, wabula beppo nga kimuweereddwa kuva wa Taata.”
66
Okuva olwo, bangi mu bayigirizwa be ne bakuba enkyukira nga tebakyatambula naye.
67
Awo Yezu kwe kugamba Ekkumi n'Ababiri nti: “Nammwe mwagala kugenda?”
68
Simoni Petero n'amuddamu nti: “Mukama, tunaagenda w'ani? Ggwe olina ebigambo by'obulamu obutaggwaawo;
69
ffe twakkiriza ne tumanya nga ggwe Kristu Omutuukirivu owa Katonda.”
70
Yezu n'abaddamu nti: “Mmwe saabalonda, Ekkumi n'Ababiri? Naye omu ku mmwe Sitaani.”
71
Yali ayogera ku Yuda mutabani wa Simoni Yisikariyoti, kubanga oyo, omu ku Kkumi n'Ababiri, ye yali agenda okumulyamu olukwe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21