bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 11
John 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
1
Waaliwo omusajja omu eyali alwadde, Lazaro ow'e Betaniya ekibuga kya Marita ne Mariya muganda we.
2
Mariya ye wuuyo eyasiiga Omukama omuzigo ogw'akawoowo n'amusiimuula ebigere n'enviiri ze; Lazaro omulwadde nga ye mwannyina.
3
Awo bannyina ne bamutumira nga bagamba nti: “Mukama, gw'oyagala wuuno alwadde.”
4
Yezu bwe yawulira n'agamba nti: “Obulwadde obwo tebuzze kumalira mu kufa, wabula lwa kitiibwa kya Katonda, mu bwo Omwana wa Katonda agulumizibwe.”
5
Yezu yali ayagala Marita ne muganda we Mariya ne Lazaro.
6
Bwe yawulira nga Lazaro mulwadde, n'asigala ennaku endala bbiri mu kifo kye yalimu.
7
Oluvannyuma n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.”
8
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Rabbi, Abayudaaya baabano babadde bakunoonya kukukuba mayinja, ate oddeyo?”
9
Ye n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziri kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana, teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno.
10
Naye oli bw'atambula ekiro yeesittala, kubanga ekitangaala tekimuliimu.”
11
Bw'atyo bwe yayogera, era n'abagamba nti: “Lazaro mukwano gwaffe yeebase, naye ka ŋŋende mmuzuukuse mu tulo.”
12
Awo abayigirizwa be ne bagamba nti: “Mukama obanga yeebaseeko, anassuuka.”
13
Ye Yezu yali ayogera ku kufa kwe; naye bo ne balowooza nti ategeezezza kwebaka ku tulo.
14
Awo Yezu n'abaatulira nti: “Lazaro afudde;
15
naye okubeera mmwe nsanyuse nti saaliyo mulyoke mukkirize. Naye ka tugende gy'ali.”
16
Awo Toma ayitibwa Omulongo, n'agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tufe naye.”
17
Yezu bwe yatuukayo, yasanga nga Lazaro yaakamala ennaku nnya mu ntaana.
18
Betaniya kyali kiriraanye Yeruzaalemu, sitadiyo nga kkumi na ttaano;
19
n'Abayudaaya bangi baali bazze ewa Marita ne Mariya okubakubagiza olwa mwannyinaabwe.
20
Marita bwe yawulira nga Yezu atuuse, n'agenda okumusisinkana; Mariya ye yasigala atudde mu nnyumba.
21
Marita n'agamba Yezu nti: “Mukama, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde;
22
naye ne kati mmanyi nga buli ky'onooba osabye Katonda, Katonda anaakikuwa.”
23
Yezu n'amugamba nti: “Mwannyoko alizuukira nate.”
24
Marita n'amugamba nti: “Mmanyi ng'alizuukira nate mu mazuukira ku lunaku olw'oluvannyuma.”
25
Yezu n'amugamba nti: “Nze kuzuukira, nze bulamu; anzikiriza, ne bw'alifa, aliba mulamu.
26
Era buli yenna omulamu anzikiriza talifa emirembe gyonna. Ekyo okikkiriza?”
27
Ye n'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama, nze nzikiriza nga ggwe Kristu, Omwana wa Katonda, agenda okujja mu nsi muno.”
28
Olwamala okwogera ebyo, n'agenda, n'ayita Mariya muganda we mu kaama, n'amugamba nti: “Omuyigiriza ali wano, akuyita.”
29
Bwe yawulira, n'asitukiramu, n'agenda gy'ali.
30
Yezu yali tannatuuka mu kyalo, ng'akyali mu kifo Marita we yamusanga.
31
Abayudaaya abaali naye mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, nabo ne bamugoberera nga balowooza nti yali agenda ku ntaana akaabireyo.
32
Mariya bwe yatuuka awaali Yezu, bwe yamulaba, n'agwa ku bigere bye, nga bw'amugamba nti: “Mukama, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
33
Yezu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nabo nga bakaaba, emmeeme n'emutenguka, n'atabanguka,
34
n'agamba nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti: “Mukama, jjangu olabeyo.”
35
Yezu n'akaaba.
36
Abayudaaya ne bagamba nti: “Mulabe nga bw'abadde amwagala.”
37
Naye abamu mu bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso omusajja eyazaalibwa nga muzibe, abadde tayinza kulobera ono kufa?”
38
Yezu n'addamu okutenguka emmeeme; n'atuuka ku ntaana; yali mpuku ng'eteekeddwako ejjinja.
39
Yezu n'agamba nti: “Ejjinja muliggyeko.” Marita mwannyina w'omufu n'amugamba nti: “Mukama, kati awunya, kubanga luno lwa kuna ng'afudde.”
40
Yezu n'amugamba nti: “Saakugambye nti bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”
41
Awo ne baggyako ejjinja. Yezu n'ayimusa amaaso n'atunula waggulu, n'agamba nti: “Taata, nkwebaza kubanga ompulidde.
42
Mmanyi ng'ompulira bulijjo, naye ebyo mbyogedde olw'okubeera ekibiina ekyetoolodde wano, balyoke bakkirize nga ggwe wantuma.”
43
Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ddene nti: “Lazaro, jjangu ebweru.”
44
Eyali afudde n'avaayo ng'ebigere bye n'emikono bisibiddwa ebiwero, n'amaaso nga gazingiddwa mu kiremba. Yezu n'abagamba nti: “Mumuzingulule, mumuleke atambule.”
45
Bangi mu Bayudaaya abaali bazze ewa Mariya bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza.
46
Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafarisaayo ne bababuulira Yezu ky'akoze.
47
Bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne bakuŋŋaanya olukiiko, ne bagamba nti: “Tunaakola ki! Kubanga omuntu ono akola obubonero bungi.
48
Bwe tumuleka bwe tutyo, abantu bonna bajja kumukkiriza, n'Abaroma bajja kujja bazikirize ekifo kyaffe ekitukuvu n'eggwanga lyaffe.”
49
Naye omu ku bo erinnya lye Kayafa, eyali kabona omukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti: “Mmwe temuliiko kye mumanyi.
50
Temulaba nga ffe tusinga okugasirwa omuntu omu okufiirira abantu, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
51
Ekyo teyakyogera ku bubwe, wabula nga bwe yali kabona omukulu mu mwaka ogwo, yalanga bulanzi nti Yezu yali agenda kufiirira ggwanga,
52
ate si ggwanga lyokka, naye n'okukuŋŋaanya awamu abaana ba Katonda abaali basaasaanye.
53
Okuva ku lunaku olwo ne bateeseza ddala okumutta.
54
Olw'ekyo Yezu nga takyatambula lwatu mu Bayudaaya; kwe kuvaayo n'agenda mu nsi eriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efurayimu, n'abeera eyo wamu n'abayigirizwa be.
55
Pasika y'Abayudaaya yali kumpi n'okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo eyo ne bambuka e Yeruzaalemu nga Pasika tennatuuka beetukuze.
56
Ne bamagamaga Yezu; ne bagambagana nga bayimiridde awo mu Kiggwa nti: “Mulowooza mutya, ono anajja ku mbaga enkulu oba tajje?”
57
Kubanga bakabona abakulu n'Abafarisaayo baali balagidde nti buli muntu amanyi w'ali abategeeze, balyoke bamukwate.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21