bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 13
John 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
1
Ku lukulembera embaga enkulu eya Pasika, Yezu ng'amanyi akadde ke bwe katuuse ave mu nsi muno addeyo ewa Taata, ng'ayagadde ababe abaali mu nsi, n'abaagalira ddala okukomekkereza.
2
Bwe baali ku kyeggulo, Sitaani ng'amaze okusenseza mu mutima gwa Yuda Yisikariyoti mutabani wa Simoni eky'okumulyamu olukwe,
3
Yezu ng'amanyi byonna Taata bwe yabimukwasa mu mikono gye, ate ng'amanyi bwe yava ewa Katonda ate bw'adda eri Katonda,
4
n'ayimuka ku lujjuliro, n'ayambulamu ebyambalo bye, ne yeesiba ekiremba.
5
Awo n'afuka amazzi mu kinaabiro, n'atandika okunaaza ebigere by'abayigirizwa be n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
6
N'atuuka ku Simoni Petero; Petero n'amugamba nti: “Mukama, ggwe onaaze nze ebigere?”
7
Yezu n'addamu nti: “Kye nkola kaakano ggwe tokitegeera; olikitegeera oluvannyuma.”
8
Petero n'amugamba nti: “Tolinnaaza bigere ennaku zonna.” Yezu n'amuddamu nti: “Bwe sikunaaza, mu nze tolinaamu mugabo.”
9
Simoni Petero n'amuddamu nti: “Mukama, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe.”
10
Yezu n'amugamba nti: “Anaabye teyeetaaga kirala, wabula mpozzi okunaaza ebigere byokka; anti aba mulongoofu yenna. Nammwe muli balongoofu, sso si mwenna.”
11
Kubanga yali amanyi ajja okumulyamu olukwe, kyeyava agamba nti: “Muli balongoofu, naye si mmwenna.”
12
Bwe yamala okubanaaza ebigere n'okuddira ebyambalo bye, n'addamu okutuula, n'abagamba nti: “Kye mbakoze mukitegedde?
13
Mmwe mumpita Muyigiriza, Mukama; mwogera kituufu, anti bwe ndi.
14
Kale nno obanga nze Omukama, Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaaza munne ebigere;
15
kubanga mbawadde kyakulabirako; nga nze bwe nkoze, nammwe bwe muba mukola.
16
Mbagambira ddala mazima nti omuweereza takira mukama we, n'omutumibwa tasinga yamutuma.
17
Obanga bino mubimanyi, mwesiimye mumala mubituukiriza.
18
Kyokka soogera ku mmwe mwenna; nze be nalonda mbamanyi; naye Ebiwandiiko kye bigamba kituukirire nti: “ ‘Oyo eyagabana ku mugaati gwange anneefuulidde.’
19
“Ekyo nkibagambye kati nga tekinnabaawo; bwe kinaagwawo mulyoke mukkirize nti nze nzuuyo.
20
Mbagambira ddala mazima nti ayaniriza buli yenna gwe mba ntumye, aba ayanirizza nze; ate buli annyaniriza aba ayanirizza Oli eyantuma.”
21
Yezu bwe yamala okwogera ebyo, n'atabanguka mu mwoyo, n'ayatulira ddala nti: “Mazima, mazima mbagamba nti omu ku mmwe ajja kumpaayo.”
22
Abatume ne beetunulaganako nga basobeddwa ani gw'ayogerako.
23
Omu ku bayigirizwa be, Yezu gwe yali ayagala, yali atudde kumpi ddala ne Yezu;
24
Simoni Petero n'amusunyaako, n'amugamba nti: “Tubuulire ani oyo gw'ayogerako.”
25
Ye ne yeewunzikira kumpi ddala ne Yezu, n'amugamba nti: “Mukama, ani oyo?”
26
Yezu n'addamu nti: “Ye oyo gwe nnaakoleza ekitundu ky'omugaati ne nkimuwa.” Bwe yakoza ekitundu ky'omugaati, n'akiwa Yuda mutabani wa Simoni Yisikariyoti.
27
Oluvannyuma lw'okulya ekitundu ky'omugaati, Sitaani n'amuyingiramu. Yezu n'amugamba nti: “Ky'okola kikole mangu.”
28
Abaali ku lujjuliro tewaali yategeera nsonga yamumugambya ekyo.
29
Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yabanga n'ensawo, Yezu yali amugamba nti: “Gula bye twetaaga ku mbaga enkulu;” oba nti abeeko ky'agabira abaavu.
30
Yuda bwe yamala okulya ekitundu ky'omugaati, amangu ago n'afuluma; obudde bw'ali kiro.
31
Yali ky'ajje afulume, Yezu n'agamba nti: “Kaakano Omwana w'Omuntu agulumiziddwa ne Katonda agulumiziddwa mu ye;
32
ate obanga Katonda agulumiziddwa mu ye, ne Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, ate ajja kumugulumiza mangu.
33
Bwana bwange, nkyali nammwe akabanga katono. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda temuyinza kutuukayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34
Mbawa ekiragiro ekiggya, nti mwagalanenga; nga nze bwe nnabaagala, nammwe bwe muba mwagalana bwe mutyo.
35
Bwe mulyagalana, olwo bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange.”
36
Simoni Petero n'amugamba nti: “Mukama, ogenda wa?” Yezu n'amuddamu nti: “Nze gye ŋŋenda ggwe toyinza kungoberera kaakano, naye olingoberera edda.”
37
Petero n'amugamba nti: “Lwaki sisobola kukugoberera kaakano? Nzija kuwaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38
Yezu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo okubeera nze? Nkugambira ddala mazima nti olwa leero enkoko eneeba tennakookolima, onooba onneegaanye emirundi esatu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21