bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 18
John 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
1
Yezu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'afuluma n'abayigirizwa be, n'alaga emitala w'akagga Kiduroni, awaali ennimiro, n'ayingira omwo n'abayigirizwa be.
2
Ne Yuda eyamuwaayo, yali amanyi ekifo ekyo, kubanga Yezu yagendangayo emirundi mingi wamu n'abayigirizwa be.
3
Awo Yuda n'afuna ekibinja ky'abaserikale n'abaweereza okuva ewa bakabona abakulu n'Abafarisaayo, n'ajja eyo n'ettawaaza n'emimuli n'ebyokulwanyisa.
4
Yezu yali amanyi byonna ebigenda okumutuukirira, n'abeeyuna, n'abagamba nti: “Munoonya ani?”
5
Ne bamuddamu nti: “Yezu ow'e Nazareti.” Yezu n'abagamba nti: “Ye nze.” Ne Yuda eyamulyamu olukwe yali ayimiridde nabo.
6
Olw'abagamba nti: “Ye nze,” ne badda ekyennyumannyuma, ne bagwa ku ttaka.
7
N'ababuuza omulundi omulala nti: “Munoonya ani?” Bo ne baddamu nti: “Yezu ow'e Nazareti.”
8
Yezu n'abaddamu nti: “Mbagambye nti: ‘Ye nze;’ oba nno nze gwe munoonya, bano mubaleke bagende.”
9
Ekigambo kye yagamba kiryoke kituukirire, nti: “Be wampa saabulwako n'omu.”
10
Simoni Petero yalina ekitala; n'akisowola, n'atema omuddu w'akabona omukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo, erinnya ly'omuddu nga ye Maluko.
11
Yezu n'agamba Petero nti: “Zza ekitala kyo mu kiraato; ekikompe Kitange ky'ampadde siikinywe?”
12
Awo ekibinja ky'abaserikale n'omukulu waabwe n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yezu, ne bamusiba.
13
Ne bamusookeza ewa Anna, kubanga ye yali mukoddomi wa Kayafa, eyali kabona omukulu mu mwaka ogwo.
14
Kayafa oyo ye wuuyo eyali awadde Abayudaaya amagezi nti: “Kisaanye omuntu omu afiirire bonna.”
15
Simoni Petero n'agoberera Yezu, era n'omuyigirizwa omulala. Omuyigirizwa oyo ye nga bwe yali omumanye ewa kabona omukulu, n'ayingira ne Yezu mu luggya lwa kabona omukulu.
16
Ye Petero yali ayimiridde bweru ku mulyango. Omuyigirizwa oli eyali omumanye ewa kabona omukulu naafuluma n'agamba omuzaana omuggazi, ye n'ayingiza Petero.
17
Omuzaana omuggazi n'agamba Petero nti: “Kazzi naawe oli omu ku bayigirizwa b'omuntu ono.” Ye n'addamu nti: “Nedda, siri.”
18
Abaddu n'abaweereza baali bakumye ekyoto, kubanga obudde bwali bunnyogoga, nga bayimiridde boota; ne Petero yali ayimiridde ng'ayota.
19
Awo kabona omukulu n'abuuza Yezu ku bayigirizwa be ne ku njirigiriza ye.
20
Yezu n'amuddamu nti: “Nayogera mu lwatu eri ensi; bulijjo nayigirizanga mu sinaagooga ne mu Kiggwa Abayudaaya bonna gye bakuŋŋaanira; soogeranga kantu mu kyama;
21
ombuuliza ki? Buuza abo abaawuliranga bye nabagambanga; abo bamanyi bye nabagambanga.”
22
Yali ky'ajje ayogere ebyo, omu ku baweereza eyali ayimiridde awo, n'akuba Yezu oluyi nga bw'agamba nti: “Ggwe oddamu otyo kabona omukulu?”
23
Yezu n'amuddamu nti: “Oba njogedde bubi, nnumiriza ekibi ekyo; oba njogedde bulungi, onkubidde ki?”
24
Awo Anna n'amuweereza nga musibe ewa Kayafa kabona omukulu.
25
Simoni Petero yali ayimiridde ng'ayota. Ne bamugamba nti: “Kazzi naawe oli omu ku bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana; n'agamba nti: “Nedda, siri.”
26
Awo omu ku baweereza ba kabona omukulu, ow'oluganda n'oli Petero gwe yasalako okutu, n'amugamba nti: “Saakulabye mu nnimiro ng'oli naye?”
27
Petero n'addamu okwegaana, era amangu ago enkoko n'ekookolima.
28
Awo ne baggya Yezu ewa Kayafa ne bamutwala mu Purayitoriyo. Obudde bwali bwakakya. Bo bennyini tebaayingira mu Purayitoriyo, baleme kusoba, basobole okulya Pasika.
29
Pilato n'afuluma n'agenda gye bali, n'abagamba nti: “Nsonga ki gye muleeta okuvunaana omuntu ono?”
30
Bo ne bamuddamu nti: “Singa omuntu ono tabadde mukozi wa bibi, tetwandimukukwasizza.”
31
Pilato n'abagamba nti: “Mmwe mumutwale, mumulamule nga mugoberera amateeka gammwe.” Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tetukkirizibwa kutta muntu n'omu.”
32
Ekigambo kiryoke kituukirire bwe kityo Yezu kye yagamba ng'ategeeza enfa gy'alifaamu.
33
Pilato n'ayingira ate mu Purayitoriyo, n'ayita Yezu, n'amugamba nti: “Ggwe kabaka w'Abayudaaya?”
34
Yezu n'addamu nti: “Ekyo okyogedde ku bubwo wekka, n'andiki balala be bakikugambye ku nze?”
35
Pilato n'addamu nti: “Ate nze ndi Muyudaaya? Eggwanga lyo ne bakabona abakulu be bakuwaddeyo gye ndi. Wakola ki?”
36
Yezu n'addamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi eno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi eno, abaweereza bange tebandiremye kulwana, nneme kuweebwayo mu Bayudaaya. Naye nno obwakabaka bwange si bwa mu nsi eno.”
37
Pilato n'amugamba nti: “Awo nno oli kabaka?” Yezu n'addamu nti: “Oyogedde nti ndi kabaka. Nze kino kye nazaalirwa, era kino kye kyandeeta mu nsi, okujulira amazima; buli w'amazima, awulira eddoboozi lyange.”
38
Pilato n'amugamba nti: “Amazima kye ki?” Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma n'agenda eri Abayudaaya nate, n'abagamba nti: “Ono simulabamu nsonga n'emu.
39
Naye mulina empisa nze okubateera omu ku Pasika; kale nno mwagala mbateere kabaka w'Abayudaaya?”
40
Ne bayoogaana buggya nti: “Si ono, wabula Barabba.” Sso Barabba yali munyazi.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21