bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 7
John 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
1
Oluvannyuma, Yezu n'ayitaayita mu Galilaaya; teyayagala kuyitaayita mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta.
2
Embaga enkulu ey'Abayudaaya ey'Ensiisira yali kumpi.
3
Baganda be ne bamugamba nti: “Vva wano, olage mu Buyudaaya n'abayigirizwa bo eyo balabe ku ebyo by'okola.
4
Mpaawo akolera mu nkiso sso ng'agenderera okumanyika mu lwatu; oba ggwe okola bino, weeyoleke ensi.”
5
Ne baganda be bennyini baali tebamukkiriza. Yezu n'abagamba nti:
6
“Akadde kange tekannatuuka; mmwe akadde akammwe bulijjo weekali.
7
Mmwe ensi teyinza kubakyawa; naye nze enkyawa kubanga ngirumiriza nti ebikolwa byayo bibi.
8
Mmwe mwambuke ku mbaga enkulu; naye nze sijja kwambuka ku mbaga eno enkulu, kubanga akadde kange tekannatuukirira.”
9
Bwe yamala okwogera ebyo, ye n'agira ng'asigala mu Galilaaya.
10
Baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga enkulu, naye n'alyoka ayambuka, si mu lwatu wabula mu kyama.
11
Abayudaaya ne bamumagamaga ku mbaga enkulu nga bagamba nti: “Ali ludda wa ono?”
12
Oluvuuvuumo ne luba lunene mu bantu; abamu nga bagamba nti: “Muntu mulungi;” ko abalala nti: “Nedda, awubisa abantu.”
13
Naye ddala nga tewali amwogerako mu lwatu olw'okutya Abayudaaya.
14
Embaga enkulu ng'etuuse mu makkati, Yezu n'ayambuka mu Kiggwa, n'ayigiriza.
15
Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Omuntu ono ng'alina amagezi sso nga tayigangako?”
16
Yezu n'abaddamu nti: “Enjigiriza yange si yange, naye y'oli eyantuma.
17
Buli alyagala okukola oli ky'ayagala, alitegeera oba enjigiriza yange eva wa Katonda, nandiki yange ku bwange.
18
Ayogera ku bubwe agoberera kitiibwa kye; naye agoberera ekitiibwa ky'oli eyantuma oyo aba wa mazima, mu ye temuba bulimba.
19
Musa teyabawa etteeka? Sso mu mmwe temuli akwata tteeka eryo. Munnoonyeza ki okunzita?”
20
Ekibiina ne kyanukula nti: “Olimu omwoyo omubi. Ani anoonya okukutta?”
21
Yezu n'ayanukula nti: “Nkoze kimu kyokka, mwenna ne mwewuunya.
22
Musa yabawa okutayirirwa, - sso tekwava ku Musa wabula mu bajjajjammwe - naye ne ku Sabbaato omuntu mumutayirira.
23
Oba omuntu atayirirwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, olwo nze ne munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato?
24
Temusala musango nga musinziira ku ndabika, naye mulamulenga n'ennamula entuufu.”
25
Ab'omu Yeruzaalemu abamu baali bagamba nti: “Ono si gwe banoonya okutta?
26
Ate nga wuuno ayogera kyere; tewali amuwuunako. Tekyandiba ng'abakulu bamutegeeredde ddala nga ye Kristu?
27
Naye ono tumanyi gy'asibuka; sso nga Kristu bw'alijja, tewaliba amanya gy'ava.”
28
Yezu n'ayogerera waggulu ng'ayigiriza mu Kiggwa n'agamba nti: “Weewaawo nze mmumanyi, ne gye nva mumanyiiyo, naye sajja ku bwange, wabula ow'amazima yennyini ye yantuma, mmwe gwe mutamanyi.
29
Nze mummanyi, kubanga nva mu ye, yennyini ye yantuma.”
30
Baali bayiiyayiiya ag'okumukwata, naye ne wataba muntu amussaako ngalo kubanga akadde ke kaali tekannatuuka.
31
Naye bangi mu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti: “Kristu bw'alijja, alikola ebyewuunyo ebisinga ono by'akoze?”
32
Abafarisaayo ne bawulira ekibiina nga kimwemuumuunyaako; awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne batuma abaweereza bamukwate.
33
Yezu n'abagamba nti: “Nkyali nammwe ebbanga ttono, olwo ŋŋende eri oli eyantuma;
34
mulinnoonya, naye temulinzuula; nze we ndi mmwe temuyinza kutuukawo.”
35
Abayudaaya ne bagambagana nti: “Ono ategeka kugenda wa gye tutalimuzuula? Ategeka kugenda mu baasaasaanira mu Bagereeki, ayigirize Abagereeki?
36
Ategeeza ki bw'agamba nti: ‘Mulinnoonya naye temulinzuula,’ ate nti: ‘Nze we ndi mmwe temuyinza kutuukawo’?”
37
Ku lunaku olwafundikira embaga enkulu Yezu n'ayimirira mu Kiggwa n'ayogerera waggulu nti: “Buli alumwa ennyonta ajje gye ndi,
38
n'akkiriza nze anywe; ng'Ekiwandiiko ekitukuvu bwe kigamba nti: ‘Mu mutima gwe mulifumbulukukamu emigga gy'amazzi amalamu.’ ”
39
Mu ekyo yategeeza Mwoyo, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna; kubanga Mwoyo yali tannagabibwa, kubanga Yezu yali tannaba kugulumizibwa.
40
Abamu mu kibiina ekyo bwe baawulira ebigambo bye ebyo, ne bagamba nti: “Ono ye Mulanzi ddala oli.”
41
Abalala ne bagamba nti: “Ono ye Kristu.” Naye abalala ne bagamba nti: “Kristu alisibuka mu Galilaaya?
42
Ebiwandiiko tebigamba nti: ‘Mu zzadde lya Dawudi, mu kyalo Beteleemu, Dawudi mwe yabeeranga, Kristu mw'aliva?’ ”
43
Awo empaka ne zisituka mu kibiina okubeera ye.
44
Abamu mu bo ne baagala okumukwata; naye ne wataba amussaako ngalo.
45
Abaweereza ne baddayo eri bakabona abakulu n'eri Abafarisaayo; bo ne babagamba nti: “Lwaki temumuleese?”
46
Abaweereza ne baddamu nti: “Mpaawo yali ayogedde nga muntu ono.”
47
Abafarisaayo ne babaddamu nti: “Muwubisiddwa nammwe?
48
Kale mu bakabona abakulu oba mu Bafarisaayo mulimu eyali amukkirizza,
49
wabula ekibiina kino, abatamanyi tteeka, abakolimire?”
50
Awo Nikodemo, oli eyagenda gy'ali mu kusooka, yali omu mu bo, n'abagamba nti:
51
“Etteeka lyaffe lisalira omuntu omusango nga terimaze kumuwuliriza ne limanya ky'akoze?”
52
Bo ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe oli Mugalilaaya? Wekenneenye Ebiwandiiko olabe; e Galilaaya teva mulanzi.”
53
Ne baddayo buli omu ewuwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21