bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 1
Judges 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
1
Nga Yoswa amaze okufa, Abayisirayeli ne babuuza Omukama nti: “Ani mu ffe anaasooka okutwambukirayo alumbe Abakanaani abalwanyise?”
2
Omukama n'addamu nti: “Yuda y'ajja okugenda. Ensi ngiwaddeyo mu mikono gye.”
3
Awo ab'ekika kya Yuda ne basaba baganda baabwe ab'ekika kya Simewoni nti: “Mujje tugende mu kitundu ekyatuweebwa tulwanyise Abakanaani, naffe tulibalwanirako ku kitundu kyammwe.” Ab'ekika kya Simewoni ne bagenda nabo.
4
Yuda bwe yalumba, Omukama n'amuwa Abakanaani n'Abaperizzi mu mikono gyabwe, ne babattamu abasajja omutwalo gumu e Bezeki.
5
Ne basanga Adoni-Bezeki e Bezeki ne bamulwanyisa, ne bawangulira ddala Abakanaani n'Abaperizzi.
6
Adoni-Bezeki n'adduka, naye ne bamugoba ne bamukwata, ne bamutemako kyalakisajja n'ebigere ebisajja.
7
Adoni-Bezeki n'agamba nti: “Bakabaka nsanvu abaali batemeddwako kyalakisajja n'ebigere ebisajja baalondalondanga obukunkumuka wansi w'emmeeza yange; nange Omukama ankoze kye nabakola.” Ne bamuleeta mu Yeruzaalemu n'afiira eyo.
8
Abantu ba Yuda ne balumba ekibuga Yeruzaalemu. Ne bakikuba n'obwogi bw'ekitala, ne bakiwamba, ne bakiteekera omuliro.
9
Oluvannyuma abantu ba Yuda ne bakkirira okulwanyisa Abakanaani abaabeeranga mu nsi ey'ensozi, ne mu Negevu ne mu Sefela.
10
Yuda n'alumba Abakanaani ababeeranga mu Keburoni, mu kusooka ekyayitibwanga Kiriyati-Aruba, ne bawangula Sesayi, Akimani ne Talumayi.
11
Ne bava awo ne balumba abaabeeranga e Debiri. Debiri okusooka kyayitibwanga Kiriyati-Seferi.
12
Kalebu n'agamba nti: “Omusajja anaawangula n'awamba Kiriyati-Seferi, nnaamuwa muwala wange Akusa abeere mukazi we.”
13
Otunyeli, mutabani wa Kenazi, muganda wa Kalebu, mutoowe, n'akiwamba. Kalebu n'amuwa muwala we Akusa abeere mukazi we.
14
Olumu Akusa bwe yajja ewa Otunyeli, Otunyeli n'amupikiriza asabe kitaawe ekibanja. Bwe yabuuka ku ndogoyi, Kalebu n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?”
15
Omuwala n'amuddamu nti: “Ngirira ekisa. Nga bwe wampa ettaka mu Negevu, mpeerako n'enzizi z'amazzi.” Bw'atyo Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
16
Abazzukulu ba mukoddomi wa Musa Omukeni, baava mu Kibuga ky'Enkindu n'abantu ba Yuda ne bambuka mu ddungu lya Yuda mu Negevu, mu bitundu by'e Aradi, ne basenga eyo mu bantu baayo.
17
Ate ab'ekika kya Yuda ne bagenda ne baganda baabwe ab'ekika kya Simewoni ne balumba Abakanaani ababeeranga mu Zefati, ne bakizikiririza ddala, era kwe kukiwa n'erinnya Koruma.
18
Abasajja ba Yuda era ne bawamba Gaza n'ebitundu byakyo, Asukeloni n'ebitundu byakyo ne Ekuroni n'ebitundu byakyo.
19
Omukama yali n'abasajja ba Yuda. Baawamba ensi ey'ensozi, kyokka mu nsenyi tebaasobola kugobamu batuuze baamu, kubanga baalina ebigaali eby'ebyuma.
20
Kalebu ne bamuwa Keburoni, nga Musa bwe yali agambye; yagobamu Abaanaki abasatu.
21
Naye Ababenyamiini tebaasobola kugoba mu Yeruzaalemu Bayebusi abaakibeerangamu, bwe batyo Abayebusi bakyali n'abantu ba Benyamiini mu Yeruzaalemu n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
22
Ab'ennyumba ya Yozefu ne balumba Beteli; Omukama yali nabo.
23
Baasindika abakessi e Beteli, mu kusooka ekibuga ekyo kyayitibwanga Luzi.
24
Abakessi ne balaba omusajja eyali ava mu kibuga ne bamugamba nti: “Tulage we tuyinza okuyingirira mu kibuga, ggwe tujja kukugirira ekisa.”
25
N'abalagawo, ekibuga kyonna ne bakikuba n'ekitala, kyokka ye omusajja ne bamutaliza ko n'amaka ge.
26
Omusajja n'asengukira mu nsi y'Abakitti, n'azimbayo ekibuga, n'akituuma Luzi, erinnya lye kikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
27
Kyokka Manasse teyasobola kugobawo baali babeera mu Beti-Sewani n'ebibuga byakyo, mu Taanaki n'ebibuga byakyo, mu Dori n'ebibuga byakyo, mu Yibulewamu n'ebibuga byakyo ne mu Megiddo n'ebibuga byakyo, kubanga Abakanaani baamalirira okusigala mu nsi eyo.
28
Naye Yisirayeli bwe yeeyongera amaanyi n'assa Abakanaani ku kasanvu; naye eky'okubagobamu teyakisobola.
29
Ne Efurayimu teyasobola kugoba Bakanaani mu Gezeri, bwe batyo Abakanaani bakyabeera wamu nabo mu Gezeri.
30
Ne Zebuluni teyasobola kugobawo baali babeera mu Kituroni, oba abantu b'e Nawalali, wabula Abakanaani baasigala mu bo, kyokka nga bakola emirimu gy'akasanvu.
31
Aseeri naye teyasobola kugobawo abaabeeranga mu Akko, mu Sidoni, mu Akulabu, mu Akuzibu, mu Afeki ne mu Rekobu;
32
bwe batyo Abaaseeri ne babeera mu Bakanaani abaabeeranga mu nsi eyo kubanga tebaabagobaamu.
33
Nafutali naye teyasobola kugobawo baali babeera mu Beti-Semesi ne mu Beti-Anati, naye n'asenga mu Bakanaani abaabeeranga mu nsi eyo. Bo abaabeeranga mu Beti-Semesi ne mu Beti-Anati baabakoleranga emirimu gy'akasanvu.
34
Bo Abaamori baagobera Abadaani mu nsozi, tebaabaganya kukka mu nsenyi.
35
Era Abaamori baamalirira okusigala mu Lusozi Eresi, mu Ayijaloni ne mu Saalubimu. Kyokka ennyumba ya Yozefu bwe yeeyongera amaanyi, ne babassa ku kasanvu.
36
Ensalo z'Abaamori zaavanga ku kasozi k'e Akurabbimu ne zituuka e Sela ate ne zeeyongerayo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21