bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 18
Judges 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
1
Mu nnaku ezo mu Yisirayeli temwali kabaka; ekika ky'Abadaani ne kyenoonyeza we kinaasenga, babeere eyo, kubanga n'okutuusa ku lunaku lwa leero kyali tekinnafuna busika mu bika bya Yisirayeli.
2
Abadaani kwe kuyungula abasajja abeesobola bataano okwenkana amasiga gaabwe ataano mu kika kyabwe, okuva e Zora ne Esutawoli, ne babatuma bakette ensi bagyekkaanye bulungi. Ne babalagira nti: “Mugende, mwetegereze ensi.” Bo ne bajja mu nsozi za Efurayimu, ne batuuka ku nnyumba ya Mika, ne basula awo.
3
Bwe baali bali kumpi n'ennyumba ya Mika, ne bawulira eddoboozi ly'omuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti: “Ani eyakuleeta wano? Wano okolawo ki? Lwaki oli wano?”
4
Ye n'ababuulira bino na biri Mika bye yali amukoledde. N'abagamba nti: “Ampa omusaala era ndi kabona we.”
5
Ne bamugamba nti: “Weebuuze eri Katonda tumanye oba olugendo lwaffe lunaalama.”
6
Kabona n'abaddamu nti: “Mugende mirembe; olugendo lwammwe lwe muliko luliko obulabirizi bw'Omukama.”
7
Abasajja abataano ne bagenda, ne bajja e Layisi, ne balaba abantu baayo nga beetuulidde entende, era nga bw'eri empisa y'Abasidoni, nga tebaliiko kibeeraliikiriza, bali mirembe. Engeri ensi yaabwe gye yali erina buli kintu, baali bagagga. Kyokka baali walako n'Abasidoni, ate nga tebalina nkolagana na bantu balala.
8
Ne badda eri baganda baabwe mu Zora ne mu Esutawoli. Baganda baabwe ne bababuuza nti: “Ebintu byagenda bitya?”
9
Ne baddamu nti: “Musituke, tugende tubalumbe, anti ensi twagirabye; nnungi nnyo. Temubeeko kye mukolawo? Temulonzalonza kugendayo ne mugyezza.
10
Bwe munaatuukayo mujja kusanga abantu abatebenkevu, ensi engazi Katonda gy'abawadde, ensi etejula kantu.”
11
Awo abasajja lukaaga okuva mu kika ky'Abadaani, abeesibye ebyokulwanyisa, ne basitula okuva e Zora ne Esutawoli.
12
Ne bagenda, ne basiisira e Kiriyati-Yewarimu ekya Yuda. Ekifo kino, ekiri ebugwanjuba wa Kiriyati-Yewarimu, kyekiva kiyitibwa Makane-Daani. Bwe kiyitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
13
Nga bavudde wano, ne bakutula ne balaga mu nsozi za Efurayimu, ne batuuka ku nnyumba ya Mika.
14
Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi y'e Layisi ne bagamba baganda baabwe nti: “Mumanyi nga mu nnyumba muno mulimu efodi, bulubaale bw'awaka, ekifaanaanyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse? Kati musalewo eky'okukola.”
15
Ne bakyama ne bagenda ku nnyumba y'omuvubuka Omuleevi, ewa Mika, ne bamulamusa.
16
Abasajja olukaaga mu Badaani abaali beesibye ebyokulwanyisa baasigala bayimiridde ku muzigo gw'omulyango.
17
Bali abasajja abataano abaagenda okuketta ensi, ne bayingira mu nnyumba, ne batwala ekifaananyi kya lubaale ekyole, efodi, bulubaale bw'awaka n'ekifaananyi eky'ekyuma ekisaanuuse. Kabona ye yasigala ayimiridde ku muzigo gw'omulyango n'abasajja olukaaga abeesibye ebyokulwanyisa.
18
Abasajja bwe baayingira mu nnyumba ya Mika, ne batwala ekifaananyi kya lubaale ekyole, efodi, bulubaale bw'awaka, n'ekifaananyi kya lubaale ekisaanuuse. Kabona n'abagamba nti: “Mukola ki?”
19
Ne bamwanukula nti: “Sirika; toyogera kantu, era jjangu naffe, ggwe oba obeera kitaffe era kabona. Ekisinga obulungi kiruwa, kubeera kabona wa nnyumba emu oba wa kika kiramba mu Yisirayeli?”
20
Kabona kino ne kimusanyusa n'atwala efodi, bulubaale obw'awaka, n'ekifaananyi kya lubaale ekyole n'agenda nabo.
21
Ne bakyuka ne bagenda, nga mu maaso gaabwe bakulembezzaamu abakazi n'abaana baabwe, amagana gaabwe n'ebintu byabwe.
22
Nga basenvuddeko akabanga okuva ewa Mika, abasajja abaali mu mayumba okumpi n'ewa Mika ne beekuŋŋaanya, ne batuuka Abadaani.
23
Ne bakowoola Abadaani okuva emabega waabwe; bano ne bakebuka, ne bagamba Mika nti: “Mutawaana ki ogubakowooza?”
24
N'abaanukula nti: “Mututte balubaale bange be neekolera ne kabona ne mwetambulira. Nze nsigazza ki? Mumbuuza mutya ate nti: ‘Mutawaana ki?’ ”
25
Abadaani ne bamugamba nti: “Toddamu n'otugambako, sikulwa ng'abasajja abakambwe bakuyiikira n'ozikirira, ggwe n'ennyumba yo.”
26
Abadaani ne badda mu lugendo lwabwe ne beetambulira. Mika yalaba bamuyitiridde amaanyi, ne yeddirayo ewuwe.
27
Abadaani ne batwala Mika bye yakola ne kabona we, ne bajja e Layisi eri abantu abeetuulidde entende, abataliiko kye beeraliikirira, ne babatta n'obwogi bw'ebitala, n'ekibuga ne bakyokya,
28
Tewaali abadduukirira kubanga baali wala ne Sidoni, ate nga tebalina nkolagana na bantu balala. Ekibuga kyali mu kiwonvu kumpi ne Beti-Rekobu; Abadaani ne bakizimba buggya, ne basenga omwo.
29
Ne bakituuma Daani, nga bakibbula mu jjajjaabwe Daani eyazaalirwa Yisirayeli; mu kusooka kyayitibwanga Layisi.
30
Abadaani ne beeteekerayo ekifaananyi kya lubaale ekyole; Yonatani, mutabani wa Gerusomu mutabani wa Musa ne bazzukulu be be baabanga bakabona ba Badaani okutuusa ensi lwe yatwalibwa mu busibe.
31
N'ekifaananyi kya Mika ekya lubaale ekyole kye yali akoze baakisigaza ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda lye yamala mu Silo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21