bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 16
Judges 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
1
Olumu Samusoni yagenda e Gaza, n'alabayo omukazi malaaya, n'ayingira ewuwe.
2
Ab'e Gaza bwe baababuulira nti: “Samusoni ali wano,” ne beebungulula ekibuga, ne bamwebakirira ekiro kyonna ku mulyango gw'ekibuga. Ekiro kyonna tebaanyeenya, nga bagamba nti: “Tujja kumutta nga mmambya asala.”
3
Naye Samusoni yeebaka kutuusa nga mu ttumbi. Bwe yazuukuka mu ttumbi, n'akwata enzigi zombi eza wankaaki w'ekibuga n'emyango gyombi n'abiwangulamu ko n'omuyingo, n'abissa ku kibegabega, n'abitwala ku ntikko y'olusozi olutunuulidde Keburoni.
4
Ebyo bwe byaggwa, n'ayagala omukazi eyabeeranga mu kiwonvu ky'e Soreki, erinnya lye nga ye Delila.
5
Abafuzi b'Abafilisitiini ne bajja ne bagamba nti: “Musendesende akubuulire amaanyi agenkana awo we gamuva, n'engeri gye tuyinza okumusiba, ne tumugonza. Bw'onookikola, buli omu ku ffe anaakuwa sekeli eza feeza lukumi.”
6
Delila n'agamba Samusoni nti: “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi agenkana awo we gakuva, n'engeri oli gy'asobola okukusibamu n'akugonza.”
7
Samusoni n'amwanukula nti: “Bwe bansibisa enkoba musanvu empya, ez'eddiba eritannakala, ng'amaanyi ganzigwamu, nga mbeera ng'abantu abalala.”
8
Abafuzi b'Abafilisitiini ne baleetera omukazi enkoba empya musanvu ze yali agambye, n'azimusiba.
9
Bo baali beekwese mu kisenge mw'asula. N'aleekaana nti: “Samusoni, Abafilisitiini bakuliko.” Samusoni n'akutula enkoba kyenkana nga wuzi bw'ekutuka ng'omuliro gugikombyeko. Amaanyi we gamuva ne watamanyika.
10
Delila n'agamba Samusoni nti: “Wayagadde kunguumaaza; oŋŋamba bya bulimba. Naye leero mbuulira kye bateekwa okukusibya.”
11
N'amwanukula nti: “Singa bansiba ne bannyweza n'emiguwa emipya, egiteeyambisibwangako, olwo amaanyi nga ganzigwamu; nga mba ng'abantu abalala bonna.”
12
Delila n'addira emiguwa emipya n'agimusiba. Abasajja baali beekwese mu kisenge. N'aleekaana nti: “Samusoni, Abafilisitiini bakuliko.” N'akutula emiguwa egyali gimusibye emikono ng'akutula wuzi obuwuzi.
13
Era Delila n'agamba Samusoni nti: “N'okutuusa kati okyangumaaza; oŋŋamba bya bulimba. Ntegeeza kye bateekwa okukusibya.” Samusoni n'amwanukula nti: “Singa oddira emivumbo omusanvu egy'enviiri z'oku mutwe gwange n'ogirangamu ebiwuzi, n'ozisibira ku nkondo n'ebikwanso eby'omutunzi, olwo ng'amaanyi ganzigwamu: ndiba ng'abantu abalala bonna.”
14
Awo n'amwebasa otulo, emivumbo omusanvu egy'enviiri z'omutwe gwe n'agirangamu ebiwuzi, n'agisiba n'ebikwaso by'omutunzi. N'alekaana nti: “Samusoni, Abafilisitiini bakuliko.” Samusoni n'awawamuka, n'akuula enkondo n'enkwanso eby'omutunzi, ne bijja n'ebiwuzi by'enviiri.
15
Delila n'amugamba nti: “Ogambira ki nti: ‘Nkwagala’, sso ng'omutima gwo tegundiiko? Kati emirundi esatu ng'ongumaaza; ogaanyi okumbuulira amaanyi agenkana awo we gakuva.”
16
Yamwetayirira atyo nga bw'amuteeteza buli lunaku okutuusa omutima gwe lwe gwetamwa n'ajulirira n'okufa.
17
Kwe kumubuulira byonna nti: “Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange, kubanga ndi munazireewo wa Katonda okuva mu lubuto lwa nnyabo. Singa omutwe gwange gumwebwa, amaanyi nga ganzigwamu, nga mba ng'abantu abalala bonna.”
18
Delila bwe yalaba ng'amubuulidde byonna, n'atumira abafuzi b'Abafilisitiini nti: “Mukomeewo, kubanga kati ammaliddeyo byonna.” Ne bajja nga baleese ne ffeeza.
19
N'amwebasa ku maviivi ge, n'ayita omusajja n'amwako emivumbo omusanvu egy'enviiri ze, n'amumala amaanyi. Amaanyi ge ne gamuggwaamu.
20
Delila n'alekaana nti: “Samusoni, Abafilisitiini bakuliko.” N'awawamuka; yali alowooza nti: “Nzija kudduka nga bwe mbadde nkola, nzija kwesumattula.” Yali tamanyi nti Omukama yali amuvuddeko.
21
Abafilisitiini ne bamukwata amangu ago, ne bamutungulamu amaaso, ne bamutwala e Gaza. Ne bamusiba enjegere bbiri ez'ekikomo, n'akolanga ku lubengo olusa obuwunga mu kkomera.
22
Enviiri z'oku mutwe gwe ne zitandika nate okumera oluvannyuma lw'okumwebwa.
23
Abafuzi b'Abafilisitiini ne bakuŋŋaana okutambirira lubaale waabwe Dagoni, ne bakola embaga; ne bagamba nti: “Katonda waffe awadde mu mikono gyaffe Samusoni, omulabe waffe.”
24
N'abantu bwe baamulaba, ne batendereza lubaale waabwe nga baleekaana nti: “Lubaale waffe awaddeyo omulabe waffe mu mikono gyaffe; oyo eyaleka amatongo ensi yaffe, eyaweza omuwendo gw'abafu baffe.”
25
Bwe baacamuka, ne bagamba nti: “Muyite Samusoni atuzannyiremu.” Ne bayita Samusoni mu kkomera n'abazannyiramu. Baali bamuyimirizza wakati w'empagi bbiri.
26
Samusoni kwe kugamba omuweereza eyali amukutte omukono nti: “Nteeka we nsobolera okukwata ku mpagi eziwaniridde ennyumba, neesigameko.”
27
Ennyumba yali ejjudde abasajja n'abakazi, n'abafuzi b'Abafilisitiini bonna; ate ku kasolya nga wayimiriddeyo abasajja n'abakazi ng'enkumi ssatu nga batunuulira Samusoni bw'azannya.
28
Samusoni n'akoowoola Omukama nti: “Ayi Mukama Omuyinza, nzijukira. Nkwegayiridde waakiri ku lwa leero nziriza amaanyi, ayi Katonda, mpoolere eggwanga ku Bafilisitiini olw'amaaso gange gombi.”
29
Samusoni n'akwata empagi zombi ez'omu makkati ennyumba kwe yali enyweredde, ne yeenyweza kuli, emu n'agissaako ogwa ddyo endala ogwa kkono.
30
Samusoni n'agamba nti: “Ka nfe wamu n'Abafilisitiini.” N'asindika empagi zombi n'amaanyi ge gonna; ennyumba n'egwa ku bafuzi bonna ne ku bantu bonna abaalimu. Mu kufa n'atta bangi n'okusinga be yali asse nga mulamu.
31
Baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna ne baserengeta, ne bamuggyayo, ne bamuleeta ne bamuziika wakati wa Zora ne Esutawoli, mu ntaana ya kitaawe Manowa. Yali alamulidde Yisirayeli emyaka amakumi abiri.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21