bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 3
Judges 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 4 →
1
Gano ge mawanga Omukama ge yalekawo okugagezesa Abayisirayeli abaali batabaddeeko mu ntalo z'omu Kanaani;
2
kino yakikola amazadde g'Abayisirayeli abaali batafunye bumanyirivu mu ntalo ezaasooka agayigirize okulwana:
3
abafuzi abataano ab'Abafilisitiini, Abakanaani bonna, Abasidoni n'Abakivi ababeeranga mu nsozi za Lebanoni okuva ku lusozi Baali-Kerumoni okutuuka ku Lebo-Kamati.
4
Gaali ga kugezesa Yisirayeli okulaba oba banaawulira ebiragiro Omukama bye yali awadde bajjajjaabwe ng'ayita mu Musa.
5
Abayisirayeli baabeera wamu n'Abakanaani, Abakitti, Abaamori, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi.
6
Baawasa bawala baabwe, n'abaabwe ne babafumbiza batabani baabwe, ne baweereza ne balubaale baabwe.
7
Abayisirayeli baakola bubi mu maaso g'Omukama; beerabira Omukama Katonda waabwe ne baweereza Babaali ne Baasera.
8
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gya Kasani-Risatayimu, kabaka wa Aramu Nakarayimu. Abayisirayeli ne baweereza buddu Kusani-Risatayimu emyaka munaana.
9
Naye Abayisirayeli ne bawanjagira Omukama, Omukama n'ateerawo Abayisirayeli omununuzi eyabanunula, Otunyeli mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu.
10
Omwoyo gw'Omukama ne gumujjako, n'alamula Yisirayeli. Otunyeli bwe yagenda okutabaala, Omukama n'amuwa Kusani-Risatayimu kabaka wa Aramu mu mikono gye, n'amuwangula.
11
Awo ensi n'eweerako okumala emyaka amakumi ana. Otunyeli mutabani wa Kenazi n'afa.
12
Abayisirayeli ne baddamu okweyisa obubi mu maaso g'Omukama. Omukama kwe kuwaayo Yisirayeli mu buyinza bwa Eguloni kabaka wa Mowabu olw'okweyisa obubi mu maaso ge.
13
Eguloni yagatta eggye n'Abammoni ne Amaleki, n'alumba Yisirayeli n'awamba Ekibuga ky'Enkindu.
14
Abayisirayeli ne baweereza buddu Eguloni kabaka wa Mowabu okumala emyaka kkumi na munaana.
15
Abayisirayeli ne bawanjagira Omukama, n'abawa omununuzi, Ewudi mutabani wa Gera Omubenyamiini. Yali wa nkonokono. Abayisirayeli ne bamutuma ewa Eguloni abatwalireyo ekirabo kyabwe.
16
Ewudi ne yeeweeseza empiima ng'esala ku njuyi zombi, nga ya mukono gumu obuwanvu, n'agyesiba ku kisambi ekya ddyo mu ngoye ze.
17
N'atuusa ekirabo ewa kabaka Eguloni owa Mowabu. Eguloni yali yagejja nnyo.
18
Ewudi bwe yamala okwanjula ekirabo n'asiibula abasajja abaakyetikka.
19
Naye ye bwe yatuuka ku bifaananyi bya balubaale eby'amayinja, okumpi ne Gilugali, n'afunyamu, n'agamba kabaka nti: “Nnina obubaka bwo, ssebo kabaka, bwa kyama.” Awo kabaka n'alagira nti: “Musirike!” Abaweereza be bonna ne bamuviira.
20
Ewudi n'asembera we yali. Yali yekka ng'atudde mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba ye mw'awummulira. Ewudi n'amugamba nti: “Nnina obubaka bwo obuvudde ewa Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye.
21
Awo Ewudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'asowolayo empiima ku kisambi kye ekya kkono n'agimusogga mu lubuto.
22
Empiima n'eggweera mu lubuto n'ekiti kyayo kyonna n'efulumira mu mugongo. Amasavu gaagibikkira yonna mu lubuto kubanga teyagisikaamu.
23
Ye Ewudi n'agenda ebweru ku kifugi, n'aggala enzigi z'ekisenge ekya waggulu, n'azisiba.
24
Ng'amaze okugenda, abaweereza ne badda, ne basanga ng'enzigi z'omu kisenge ekya waggulu nsibe. Ne bagamba nti: “Ndowooza yeewunguddeko munda mu nnyumba ye ey'okuwummuliramu.”
25
Nga balinze akabanga okutuusa nga basobeddwa, bwe baalaba taggulawo nzigi za kisenge waggulu, ne bakwata ekisumuluzo ne baggulawo. Gye baakuba amaaso, nga ku mukama waabwe, agudde awo ku ttaka, mufu.
26
Baali bakyalinze, Ewudi n'adduka, n'ayitira ku bifaananyi eby'amayinja, n'addukira e Seyira.
27
Bwe yatuuka eyo n'afuuwa eŋŋombe mu nsozi za Efurayimu, Abayisirayeli ne bakkirira naye okuva mu nsozi, ye ng'abakulembedde.
28
N'abagamba nti “Mungoberere, kubanga Omukama awaddeyo mu mikono gyammwe Mowabu omulabe wammwe.” Ne bakkirira naye, ne bawamba emisomoko gya Yorudani awasomokerwa okulaga mu Mowabu, nga tebakyaganya muntu n'omu kusomoka.
29
Mu budde obwo ne bakuba Abamowabu ng'omutwalo mulamba, abasajja nno ab'amaanyi ate abeesobola; mu bonna tewaali yasumattuka.
30
Ku olwo Yisirayeli n'atoowaza Mowabu, ensi n'eweerako okumala emyaka kinaana.
31
Ewudi yaddirirwa Samugari, mutabani wa Anati, eyakuba Abafilisitiini lukaaga n'omuwunda ogugoba ente. Naye yanunula Yisirayeli.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21