bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 9
Judges 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
1
Abimeleki mutabani wa Yerubbaali n'agenda mu baganda ba nnyina e Sekemu, n'abagamba, ko n'ab'ekika kya nnyina bonna, nti:
2
“Mubuuze abantu bonna ab'e Sekemu nti: ‘Kiruwa kye musinga okwagala, bazzukulu ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuga oba omu okubafuga?’ Mujjukire nti nze ndi musaayi gwammwe ddala.”
3
Bakojjaabe ne bamwogerako eri abantu bonna ab'e Sekemu, omutima gwabwe ne gwewunzikira ku Abimeleki, nga bagamba nti: “Muganda waffe.”
4
Ne bamuwa sekeli za ffeeza nsanvu okuva mu kiggwa kya Baali-Beriti; Abimeleki n'azeyamba okugulirira abasajja endalagge, ne bamugobereranga.
5
N'ajja mu nnyumba ya kitaawe e Ofura n'atta baganda be ensanvu, batabani ba Yerubbaali, ku jjinja limu. Naye Yotamu, mutabani wa Yerubbaali asinga obuto, n'awonawo kubanga yeekweka.
6
Abatuuze b'omu Sekemu bonna n'ab'e Beti-Millo ne bakuŋŋaana, ne bagenda bassa Abimeleki ku bwakabaka, ku muvule ogwabeeranga e Sekemu.
7
Bwe baakibuulira Yotamu, n'agenda ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'ayogerera waggulu gye bali nti: “Mumpulirize mmwe abantu b'omu Sekemu, ne Katonda alyoke abawulirize.
8
“Olumu emiti gyagenda gisiige omuzigo kabaka anaagifuga; ne gigamba omuti gwa oliva nti: ‘Tufuge.’
9
Omuti gwa oliva ne gugiddamu nti: ‘Ndeke eri omuzigo gwange, oguweesa ekitiibwa balubaale n'abantu, ŋŋende nkulire emiti?’
10
“Emiti ne gigamba omukunyu nti: ‘Jjangu ggwe otufuge.’
11
Omukunyu ne gugiddamu nti: ‘Ndeke eri obuwoomi bwange n'ebibala byange ebiwooma, ŋŋende nkulire emiti?’
12
“Emiti ne gigamba omuzabbibu nti: ‘Jjangu ggwe otufuge.’
13
Omuzabbibu ne gugiddamu nti: ‘Ndeke eri evviini yange ecamula balubaale n'abantu, ŋŋende nkulire emiti?’
14
“Emiti gyonna ne gigamba omukula nti: ‘Jjangu ggwe, otufuge.’
15
Omukula ne guddamu emiti nti: ‘Oba mu mazima munansiiga omuzigo ne nfuuka kabaka wammwe, mujje mweggame mu kisiikirize kyange. Oba si ekyo, omuliro gujja kuva mu mukula guwemmente entolookyo za Lebanoni.’
16
“Bwe muba nga Abimeleki mwamufuula kabaka wammwe nga mugoba nsonga era mu bwesimbu, nga mwakolera bulungi Yerubbaali n'ennyumba ye ne mumuyisa ng'ebikolwa bye bwe bisaanidde,
17
oyo kitange eyabalwanirira, n'ayaŋŋanga obubenje abawonye mu mikono gya Midiyaani,
18
naye mmwe kati ennyumba ye gye mujeemedde ne mutta batabani be ensanvu ku jjinja limu, ne muddira Abimeleki, mutabani w'omuzaana obuzaana, ne mumufuula kabaka w'abantu b'e Sekemu mbu kubanga muganda wammwe,
19
kale, obanga ekyo mukikoze nga mugoba nsonga era mu bwesimbu eri Yerubbaali n'ennyumba ye olwa leero, mwesiimire mu Abimeleki, naye yeesiimire mu mmwe.
20
Naye obanga si bwe mukoze, omuliro guve mu Abimeleki gusaanyeewo ab'omu Sekemu ne mu Beti-Millo, n'omuliro guve mu bantu b'e Sekemu ne mu Beti-Millo gusaanyeewo Abimeleki.”
21
Yotamu n'adduka n'agenda e Beera n'abeeranga eyo olw'okutya Abimeleki muganda we.
22
Abimeleki nga yaakafugira Yisirayeli emyaka esatu,
23
Katonda n'aleetawo omwoyo omubi wakati wa Abimeleki n'abantu b'omu Sekemu, ne bamukolera enkwe,
24
ekibi kye baakola okutta abaana ensanvu aba Yerubbaali, n'okuyiwa omusaayi gwabwe biddire Abimeleki muganda waabwe eyabatta n'abantu b'e Sekemu abaamuyambako okutta baganda be.
25
Olw'okumulemesa, abantu b'e Sekemu bassa ku ntikko z'ensozi abanyazi abaanyaganga buli eyayitanga mu kkubo eryo. Abimeleki kino n'akimanyaako.
26
Olumu Gaali mutabani wa Ebedi yajja ne baganda be, n'agenda e Sekemu, ab'omu Sekemu ne bamwagala.
27
Ne bagenda mu nnimiro, ne banoga emizabbibu, ne bagisogola, ne bakola ekinyumu, ne bayingira mu kiggwa kya lubaale waabwe, ne balya ne banywa nga bwe bavumirira Abimeleki.
28
Gaali mutabani wa Ebedi n'aleekaana nti: “Abimeleki kye ki? Ne Sekemu ye ani ffe okumuweereza? Si mutabani wa Yerubbaali, ne Zebuli si mukungu we? Muweereze abasajja ba Kamori, kitaawe wa Sekemu. Lwaki twandiweerezza Abimeleki?
29
Singa nno abantu bano baali mu mikono gyange, nandiggyeewo Abimeleki. Nandisoomozezza Abimeleki nti: ‘Weza eggye lyo weesowoleyo.’ ”
30
Zebuli eyali omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo ebyo ebya Gaali mutabani wa Ebedi, obusungu bwe ne bwesera.
31
N'atumira Abimeleki ababaka mu mankwetu, n'amugamba nti: “Gaali, mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu ne batabangula ekibuga kikukyawe.
32
Jjangu ekiro n'eggye lyo, weekweke mu nnimiro.
33
Ku makya, ng'enjuba yaakavaayo, zinda ekibuga. Gaali n'abantu be bw'anaafuluma okulumba, mukole ky'osobola.”
34
Abimeleki n'asitula n'eggye lyonna ekiro, ne beekweka okumpi ne Sekemu mu bibinja bina.
35
Kati nno Gaali mutabani wa Ebedi bwe yali afulumye, ng'ayimiridde ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga, Abimeleki we yasitukira wamu n'eggye lye okuva gye baali beekwese.
36
Gaali bwe yalaba abantu, n'agamba Zebuli nti: “Laba, abantu bakkirira nga bava waggulu ku nsozi.” Ye n'amwanukula nti: “Olaba ebisiikirize by'ensozi n'obiyita abantu.”
37
Gaali n'addamu n'agamba nti: “Abasajja baabo baserengeta nga bava mu makkati g'ensi, ate ekibinja ekimu kijja kigoba ekkubo ly'omuvule gw'omulaguzi.”
38
Zebuli n'amugamba nti: “Aluwa, si ggwe wagambye nti: ‘Abimeleki ye ani oyo gwe tuweereza?’ Abo si be bantu b'obadde ogaya? Kale nno balumbe obalwanyise.”
39
Gaali n'afuluma n'abantu b'e Sekemu, n'alwana ne Abimeleki.
40
Abimeleki n'amugoba, Gaali n'abadduka. Bangi ne battibwa okutuukira ddala ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga.
41
Abimeleki n'addayo e Aruma; Zebuli n'agoba Gaali ne baganda be, n'atabaganya kubeera mu Sekemu.
42
Enkeera, abantu ne bafulumako ebweru mu nnimiro; Abimeleki n'akimanyaako.
43
N'addira eggye lye n'aligabanyaamu ebibinja bisatu, ne babeekwekerera mu nnimiro. Yalaba abantu bava mu kibuga, n'asituka n'abalumba.
44
Abimeleki n'ebibinja ebyali naye, n'azinda n'ateega ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga. Ebibinja ebibiri byo ne birumba abaali bagenze mu nnimiro ne babatta.
45
Abimeleki n'alwanyisa ekibuga ekyo olunaku olwo lwonna, n'akikwata. Yatta bonna abaakirimu, nakyo n'akisaanyaawo, n'akimansaako omunnyo.
46
Abaali bali mu kigo ky'e Sekemu bwe baawulira, ne bayingira mu mpuku y'ekiggwa kya Eli-Beriti.
47
Abimeleki bwe baamutegeeza nti abantu b'omu kigo ky'e Sekemu beekuŋŋaanyizza,
48
n'alinnya ku lusozi Zalumoni n'abantu be bonna, n'akwata embazzi, n'atema ettabi ly'omuti, n'alisitula n'alissa ku kibegabega, n'agamba abaali naye nti: “Kye mulabye nkola, nammwe mukikole mangu.”
49
Abantu amangu ago ne batema amatabi ku miti, ne bagoberera Abimeleki, ne bagatuuma ku mpuku, ne bagiteekera omuliro; abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu, abantu nga lukumi, abasajja n'abakazi, nabo ne bafa.
50
Ate Abimeleki n'agenda e Tebezi, n'akizingiza, oluvannyuma n'akiwamba.
51
Mu kibuga mwalimu ekigo; abantu bonna ab'omu kibuga, abasajja n'abakazi, ne baddukira omwo, ne beesibiramu, ne balinnya waggulu ku munaala.
52
Abimeleki n'ajja ku munaala, n'agulumba, n'asembera ku mulyango ng'ayagala okuguteekera omuliro.
53
Naye omukazi omu n'ayima waggulu, n'akasuka enso, ne yekkata ku mutwe gwa Abimeleki n'emubetenta akawanga.
54
N'ayita mangu omuvubuka amusitulira eby'okulwanyisa bye n'amugamba nti: “Sowola ekitala kyo onzite, sikulwa nga bagamba nti: ‘Omukazi ye yamutta.’ ” Omuvubuka n'amufumita, n'afa.
55
Abantu bonna ab'omu Yisirayeli bwe baalaba nga Abimeleki afudde, buli omu n'addayo ewuwe.
56
Katonda bwe yaweera bw'atyo ekibi Abimeleki kye yakola ku kitaawe ng'atta baganda be ensanvu;
57
era yaweera n'ekibi ab'e Sekemu kye baali bakoze; ekikolimo kya Yotamu, mutabani wa Yerubbaali ne kituukirira ku bo.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21