bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 13
Judges 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
1
Abayisirayeli ne baddamu okweyisa obubi mu maaso g'Omukama; Omukama n'abawaayo mu mikono gy'Abafilisitiini okumala emyaka ana.
2
Waaliwo omusajja omu ow'omu Zora, ow'omu kika ky'Abadaani, erinnya lye nga ye Manowa. Yalina omukazi nga mugumba, nga talina mwana.
3
Malayika w'Omukama n'alabikira omukazi oyo n'amugamba nti: “Kati oli mugumba, tolina mwana; naye ojja kufuna olubuto, ozaale omwana wa bulenzi.
4
Weegendereze, tonywanga evviini oba ekitamiiza ekirala, era tolyanga kintu kitali kirongoofu;
5
kubanga ojja kufuna olubuto ozaale omwana mulenzi. Akamwano tekamuyitanga mu mutwe, kubanga aliba mwana munazireewo wa Katonda okuva mu lubuto lwa nnyina; oyo y'aliwonya Yisirayeli mu mikono gw'Abafilisitiini.”
6
Omukazi n'agenda eri bba n'amugamba nti: “Omuntu wa Katonda yazze gye ndi, enfaanana ye ng'ali nga malayika w'Omukama, ng'atiisa nnyo. Saamubuuzizza gye yavudde, naye teyambuulidde linnya lye.
7
Naye yaŋŋambye nti: ‘Ojja kufuna olubuto ozaale omwana mulenzi. Wekkaanye, tonywanga evviini oba ekitamiiza ekirala; tolyanga ekitali kirongoofu, kubanga omwana alibeera munazireewo wa Katonda, okuva lw'aligwa mu lubuto okutuusa ku lunaku lw'alifa.’ ”
8
Manowa n'awanjagira Omukama nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, kkiriza omuntu wa Katonda gwe watumye akomewo gye tuli atubuulire kye tunaakolera omwana anaazaalibwa.”
9
Katonda n'awuliriza okwegayirira kwa Manowa; malayika wa Katonda n'akomawo eri omukazi ng'ali mu nnimiro. Bbaawe Manowa teyali naye.
10
N'adduka mangu n'abuulira bba nti: “Omusajja eyajja luli gye ndi, andabikidde.”
11
Manowa n'asituka n'agoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja n'amugamba nti: “Ggwe wayogedde ne mukazi wange?” N'addamu nti: “Ye nze.”
12
Manowa n'amugamba nti: “Ebigambo byo bwe binaatuukirira, omwana asaanye ayisenga atya era anaakolanga ki?”
13
Malayika w'Omukama n'agamba Manowa nti: “Omukazi yeetangire ku ebyo byonna bye namugambye.
14
Talyanga kintu kyonna ekiva ku mizabbibu, tanywanga evviini oba ekitamiiza; talyanga ekitali kirongoofu. Ebyo byonna bye namugambye, abituukirizanga.”
15
Manowa n'agamba Malayika w'Omukama nti: “Nkwegayiridde, ogira osigala naffe, tukuttire akabuzi.”
16
Malayika w'Omukama n'ayanukula nti: “Ne bwe munansigaza wano, sijja kulya migaati gyo; naye oba oyagala okukola ekitambiro ekyokye, kiweereze Mukama.” Manowa yali tamanyi nti yali Malayika wa Mukama.
17
Manowa n'abuuza malayika w'Omukama nti: “Erinnya lyo ggwe ani, ebigambo bwe binaatuukirira tulyoke tukusseemu ekitiibwa?”
18
Ye n'ayanukula nti: “Lwaki obuuza erinnya lyange eryewuunyisa?”
19
Manowa n'akwata akabuzi, n'ekitone eky'obuwunga, n'abissa ku lwazi, n'abiweereza Omukama oyo akola ebyewuunyisa. Manowa ne mukazi we ne batunula balabe.
20
Omuliro bwe gwava ku mwaliiro ne gwambuka mu ggulu, Malayika w'Omukama naye n'alinnyira muli. Manowa ne mukazi we bwe baakiraba, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe ku ttaka.
21
Malayika w'Omukama teyaddamu kulabikira Manowa ne mukazi we. Amangu ago Manowa n'amanya nti yali malayika wa Mukama.
22
N'agamba mukazi we nti: “Tujja kufa, kubanga tulabye Katonda.”
23
Mukazi we n'amwanukula nti: “Singa Omukama yayagadde kututta, teyandikkirizza kitambiro ekyokye n'ekitone eky'obuwunga ebivudde mu ngalo zaffe; teyanditulaze ku bino byonna; teyanditutegeezezza na bino.”
24
Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma Samusoni. Omwana n'akula, Omukama n'amuwa omukisa.
25
Omwoyo gw'Omukama ne gutandika okumuwujja mu Makane-Daani, wakati wa Zora ne Esutawoli.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21