bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 4
Judges 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
1
Ewudi ng'amaze okufa, Abayisirayeli baddamu okweyisa obubi mu maaso g'Omukama.
2
Omukama n'abawaayo mu mikono gya Yabini kabaka wa Kanaani eyafugiranga e Kazori. Omuduumizi w'eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Karoseti-Aggoyimu.
3
Abasajja ba Yisirayeli ne balaajanira Omukama, kubanga Eguloni yalina ebigaali eby'ekyuma lwenda ate ng'abatulugunyizza n'amaanyi okumala emyaka amakumi abiri.
4
Mu budde obwo omukazi omulanzi, Debora, muka Lappidoti, ye yali akulembera Yisirayeli.
5
Yatuulanga wansi w'Olukindu lwa Debora, wakati wa Rama ne Beteli mu nsozi za Efurayimu. Awo abantu we bajjanga okubasalirawo ensonga zaabwe.
6
Yatumya Baraki mutabani wa Abinowamu ow'e Kedesi mu Nafutali, n'amugamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli si yalagidde? Genda okunge abasajja lukumi okuva mu bantu ba Nafutali ne mu bantu ba Zebuluni ogende nabo ku lusozi Tabori.
7
Nze nzija kuseemyaseemya Sisera omuduumizi w'eggye lya Yabini ajje ku Kiwonvu Kisoni n'ebigaali bye n'abatabaazi be, mmuweeyo mu mikono gyo.”
8
Baraki n'amuddamu nti: “Bw'ogenda nange, nnaagenda; bw'otogenda nange, nange sijja kugenda.”
9
Debora n'amuddamu nti: “Kale nzija kugenda naawe; naye manya nti ku lutalo luno lw'ogendako anaafuna ettendo taabe ggwe, kubanga omukazi Omukama gw'anaawa okuwangula Sisera.” Debora n'asitula n'agenda ne Baraki e Kedesi.
10
Baraki n'akunga Zebuluni ne Nafutali e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera, ne Debora n'agenda naye.
11
Kati nno Keberi Omukeni yali ayawukanye ku banne bwe bava mu Kayini, ne ku bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa, ng'asimbye weema ye ku muti omunene ogw'e Zaanannimu ekiri mu Kedesi.
12
Bwe baabuulira Sisera nti Baraki mutabani wa Abinowamu ayambuse ku lusozi Tabori,
13
n'akuŋŋaanya ebigaali bye byonna olwenda eby'ekyuma, n'abantu be bonna okuva e Karoseti-Aggoyimu bagende ku Kiwonvu Kisoni.
14
Debora awo n'agamba Baraki nti: “Situka olumbe, kubanga olwa leero Omukama lw'akuwadde Sisera mu mikono gyo. Omukama si y'akukulembeddemu?” Baraki n'akkirira okuva ku lusozi Tabori n'abasajja omutwalo gumu nga bamugoberera.
15
Baraki bwe yalumba, Omukama n'atta n'obwogi bw'ekitala Sisera, eggye lye lyonna n'ebigaali bye byonna. Sisera n'abuuka ku kigaali kye n'addukira ku bigere.
16
Baraki n'agoba ebigaali n'eggye okutuukira ddala e Karoseti-Aggoyimu. Eggye lya Sisera lyonna ne littibwa n'ekitala; tewaali yawonawo.
17
Sisera n'addukira ku bigere n'agenda ku weema ya Yayeli muka Keberi Omukeni, kubanga Yabini kabaka w'e Kazori baali bategeeragana bulungi ne Keberi Omukeni.
18
Yayeli n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti: “Kyama Mukama wange, kyama ewange, totya.” N'ayingira mu weema ye, Yayeli n'amubikkako olugoye.
19
N'agamba Yayeli nti: “Mpaayo ku tuzzi, ennyonta ennuma.” Yayeli n'asumulula endyanga y'amata n'amuwa n'anywa, n'addamu okumubikkako.
20
Sisera n'amugamba nti: “Yimirira awo mu mulyango gwa weema, bwe wajjawo abuuza nti: ‘Muno mulimu omuntu?’ mugambe nti: ‘Nedda.’ ”
21
Naye Yayeli muka Keberi n'akwata enkondo ya weema, n'abaka n'ennyondo, n'asooba n'agenda we yali nga yeebase olw'obukoowu, n'amukomerera enkondo mu luba n'emuyitamu n'egukka mu ttaka, n'afa.
22
Baraki naye n'atuuka ng'anoonya Sisera. Yayeli n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti: “Jjangu nkulage omuntu gw'onoonya.” N'ayingira naye. Gye yakuba amaaso, nga ku Sisera agalamidde awo mufu, ng'enkondo ya weema emuyise mu luba.
23
Ku olwo Katonda n'atoowaza Yabini kabaka wa Kanaani mu maaso g'Abayisirayeli. Abayisirayeli ne beeyongeranga okunyigiriza n'amaanyi Yabini kabaka wa
24
Kanaani okutuusa lwe baasaanyaawo Yabini kabaka wa Kanaani.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21