bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 15
Judges 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
1
Bwe waayitawo akabanga, ng'obudde obw'okukungula eŋŋano butuuse, Samusoni n'akyalira mukazi we, n'amuleetera akabuzi. N'agamba nti: “Njagala kugenda wa mukyala wange mu kisenge kye.” Naye kitaawe w'omukazi n'atamuganya.
2
N'amugamba nti: “Nalowooza nti wamukyawa, kyennava mmuwa mukwano gwo. Naye muto we si y'amusinga obulungi? Gw'oba otwala mu kifo ky'oli.”
3
Samusoni n'amugamba nti: “Ku mulundi guno siriiko musango Abafilisitiini bwe mbakola akabi; nzija kubabonereza.”
4
Awo Samusoni kwe kugenda, n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'abisiba bibiri bibiri emikira, n'addira emimuli buli gumu n'agusiba wakati w'emikira ebiri.
5
Emimuli n'agikoleeza omuliro, ebibe n'abigobera mu makungula g'Abafilisitiini, n'ayokya eŋŋano eyali ekunguddwa n'eyali ekyayimiridde, n'emizabbibu n'oliva.
6
Abafilisitiini bwe baabuuza nti: “Ani akoze kino?” Ne babagamba nti: “Samusoni, mukoddomi w'omusajja w'e Timuna, kubanga omusajja yaddira mukazi we n'amufumbiza mukwano gwe.” Abafilisitiini ne bagenda, ne bookya omukazi ne kitaawe.
7
Samusoni n'abagamba nti: “Mugidde mukole n'ekyo, sijja kuwummula nga sinnawoolera ggwanga.”
8
N'abakuba bubi nnyo, n'abattamu bangi. N'aserengeta n'abeeranga mu mpampagama y'olwazi lw'e Etamu.
9
Awo Abafilisitiini ne bambuka, ne basiisira mu nsi ya Yuda, eggye lyabwe ne libuna wonna mu Leki.
10
Abantu b'omu Yuda ne babuuza nti: “Lwaki muzze okutulumba?” Ne babaanukula nti: “Tuzze kusiba Samusoni, tumukole nga bwe yatukola.”
11
Abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne baserengeta ku mpampagama y'olwazi lw'e Etamu, ne bagamba Samusoni nti: “Tomanyi nti Abafilisitiini be batufuga? Kiki kino ky'otukoze?” Ye n'abagamba nti: “Nabakola nga nze bwe bankola.”
12
Ne bagamba nti: “Tuzze kukusiba, tukuweeyo mu mikono gy'Abafilisitiini.” Samusoni n'ayanukula nti: “Mulayire nga mmwe mwennyini temunzite.”
13
Ne bamugamba nti: “Tukukakasa tetujja kukutta, wabula tujja kukusiba busibi miguwa tukuweeyo ng'oli mulamu.” Ne bamusibisa emiguwa ebiri emiggya, ne bamuggyayo mu lwazi.
14
Bwe baatuuka mu Leki, Abafilisitiini ne bajja okumusisinkana nga baleekaana. Omwoyo gw'Omukama ne gumujjako, emiguwa egyali gimusibye ne gita ng'egy'obugoogwa obwokeddwa omuliro, n'ebyali bisibye emikono gye ne bita.
15
N'abaka akaba k'endogoyi akabisi, n'akassisa abasajja lukumi.
16
Samusoni n'agamba nti: “N'akaba k'endogoyi, nabafuula ntuumu; n'akaba k'endogoyi natta lukumi.”
17
Bwe yamala okwogera, akaba n'akakasuka eri; ekifo ekyo ne kiyitibwa Ramati-Leki.
18
Ennyonta n'emuluma nnyo; n'akoowoola Omukama nti: “Ggwe otadde mu mikono gy'omuweereza wo obuwanguzi obw'amaanyi, kati nfe ennyonta, ngwe mu mikono gy'abatali batayirire?”
19
Katonda n'aggulawo ekinnya mu Leki, amazzi ne gafumbukuka. N'anywa, amaanyi ge ne gadda, n'addamu ensa. Oluzzi olwo kyeruva luyitibwa Eni-Akkore. Lukyaliyo mu Leki n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
20
Samusoni yalamula Yisirayeli emyaka amakumi abiri mu budde bw'Abafilisitiini.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21