bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 19
Judges 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
1
Mu nnaku ezo mu Yisirayeli temwali kabaka. Waaliwo omusajja Omuleevi, ng'abeera eyo mu masosso g'ensozi za Efurayimu; n'awasa omukazi omuzaana gwe yaggya e Beteleemu ekya Yuda.
2
Naye omuzaana yakola obwamalaaya n'amulekawo. Yanoba n'addayo ewa kitaawe e Beteleemu n'abeerayo emyezi ena.
3
Olumu bba yamugoberera ng'ayagala amuwooyewooye akomewo. Yagenda n'omuweereza we n'obulogoyi bubiri. Omuwala n'amutwala mu nnyumba ya kitaawe; mukoddomi we n'amwaniriza n'essanyu.
4
Mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amusibaasiba, naye n'asigala naye. N'asigala ennaku ssatu ewa mukoddomi we, nga balya, banywa bonna; n'asula eyo.
5
Ku lunaku olwokuna, bwe baazuukuka ku makya, n'ategeka okugenda; kitaawe w'omukazi n'agamba mukoddomi we nti: “Wezzeemu ku ndasi n'akatundu k'omugaati olyoke ogende.”
6
Ne batuula bombi, ne balya ne banywa. Kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Kkiriza, sula osanyukemu.”
7
Naye bwe yasituka okugenda, kitaawe w'omukazi n'amusindirira, bw'atyo n'asula.
8
Ku makya ku lunaku olwookutaano bwe yasituka okugenda, kitaawe w'omuwala n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, gira wezzeemu ku ndasi; Linda okutuusa akawungeezi.” Bombi ne balya wamu.
9
Omusajja bwe yasituka agende n'omuzaana we n'omuweereza we, era mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amugamba nti: “Kati laba obudde bugenda kuwungeera, musule; sula osanyukemu, munaasitula enkya ku makya ne mugenda, n'odda mu weema yo.”
10
Naye omusajja n'atasiima kya kusula; n'asitula, n'agenda ng'ayolekedde Yebusi, kwe kugamba Yeruzaalemu; yali n'endogoyi ze bbiri ezeetisse n'omuzaana we.
11
Ne batuuka e Yebusi; olunaku nga lweyezeewo nnyo, omuweereza n'agamba mukama we nti: “Nkwegayiridde, gira, tukyame mu kibuga ky'Abayebusi kino tusule eyo.”
12
Mukama we n'amwanukula nti: “Tetujja kukyama mu kibuga ky'abagwira, ekitali ky'Abayisirayeli. Tuyite buyisi tulage e Gibewa.”
13
Era n'agamba omuweereza we nti: “Tuluubirire okutuuka ku kimu ku bifo ebyo, tusule e Gibewa oba Rama.”
14
Ne bongera olugendo lwabwe mu maaso; enjuba yagwa basemberedde Gibewa eky'omu Benyamiini.
15
Ne bakyama eyo gye baba basula. Ne bagenda, ne batuula mu mbuga y'ekibuga; kyokka ne wabulawo abatwala okubasuza.
16
Akawungeezi ne wajjawo omukadde eyali ava mu nnimiro ye okukola: naye yali azaalibwa mu nsozi za Efurayimu, naye nga yasenga mu Gibewa. Ab'omu kitundu bo baali Babenyamiini.
17
Omukadde bwe yasitula amaaso, n'alaba omuntu omutambuze mu mbuga y'ekibuga, n'amugamba nti: “Ate ogenda wa? Ova wa?”
18
N'amwanukula nti: “Tuvudde Beteleemu ekya Yuda, tugenda eyo mu masosso g'e Efurayimu gye mbeera. Eyo gye nava ne ŋŋenda e Beteleemu mu Yuda, kati ŋŋenda ku kiggwa ky'Omukama; tewali n'omu atututte kutusuza.
19
Tulina omuddo n'essubi eby'endogoyi zaffe; tulina omugaati n'evviini ebyaffe abaweereza bo, nze omuzaana wo n'omulenzi gwe tuli naye. Byonna bye twetaaga tubirina; tetujula kantu.”
20
Omukadde n'amwanukula nti: “Mirembe. Byonna bye weetaaga mbirina; nkusaba kimu, tosula mu mbuga.”
21
N'amuyingiza mu nnyumba ye; endogoyi n'aziwa emmere yaazo; nabo ne banaaba ku bigere, oluvannyuma ne balya, ne banywa.
22
Baali bakyali mu kusanyuka, abasajja b'omu kibuga ekyo abagwagwa, ne bajja ne beetooloola ennyumba, ne bakuba enzigi nga baleekaana, nga bwe bagamba nnannyinimu nti: “Fulumya omusajja eyayingidde omumwo twebake naye.”
23
Nnannyinimu n'afuluma gye bali n'abagamba nti: “Nedda, bannange, muleme kukola kibi ekyo; kubanga omusajja ono mugenyi wange; mbeegayiridde muleke kukola kya bugwagwa kityo.
24
Mulabe, nnina wano muwala wange embeerera n'omuzaana w'omusajja ono; ka abo be mba nfulumya; muyinza okubeeyambisa n'okubakolako byonna bye mwagala; kyokka mbeegayiridde, omusajja ono temumukolako kya bugwagwa kityo.”
25
Naye abasajja nga tebamuwuliriza. Omusajja kwe kukwata omuzaana we n'amufulumya gye bali, bo ne bamusobyako n'okumujolonga ekiro kyonna; mmambya ng'asala ne bamuta.
26
Nga bukedde omukazi n'akomawo ku nnyumba ya bba mwe yali, n'agwa awo ku mulyango, n'asigala awo okutuusa ng'enjuba evuddeyo.
27
Ku makya omusajja n'azuukuka, n'aggulawo oluggi, n'afuluma ayongere olugendo lwe. Gye yakuba amaaso, nga ku mukazi omuzaana we, agudde mu mulyango, emikono gigudde ku mwango.
28
N'amugamba nti: “Situka, tutambule.” Teyayanukula kantu. Awo n'amussa ku ndogoyi ye, n'adda ewaabwe.
29
Bwe yatuuka awaka, n'addira akambe, omuzaana we n'amusalaasalamu kitundu ku kitundu ebitundu kkumi na bibiri, n'abiweereza wonna mu Yisirayeli.
30
Buli eyakirabanga ng'agamba nti: “Ekifaanana kiti tekirabwangako era tekikolwangako bukya bajjajjaffe bambuka kuva mu Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero. Mukyekkaanye, musale amagezi, mutubuulire eky'okukola.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21