bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 20
Judges 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
1
Abayisirayeli bonna, okuva e Daani okutuuka e Beeriseba ko ne mu Gileyaadi, ne bavaayo kyenkana ng'omuntu omu, ne beekuŋŋaanya mu maaso g'Omukama e Mizupa.
2
Abakulembeze b'ebika byonna eby'abantu bonna aba Yisirayeli ne beetaba mu lukuŋŋaana lw'abantu ba Katonda; baali obusiriivu buna obw'abatabaazi ab'ebigere abakwasi b'ebitala.
3
Ababenyamiini ne bawulira nti Abayisirayeli bambuse e Mizupa. Bo Abayisirayeli ne babuuza nti: “Ekibi kino kyakolebwa kitya?”
4
Omusajja Omuleevi, bba w'omukazi eyatemulibwa, n'ayanukula nti: “Najja mu Gibewa ekya Benyamiini nga ndi n'omuzaana wange nsule eyo.
5
Abasajja ab'omu kibuga ne bannumba, ekiro ne beebungulula ennyumba mwe nali nga baagala okunzita, era n'omuzaana wange ne bamugwagwawaza, oluvannyuma n'afa.
6
Nakwata omuzaana wange ne mmusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza wonna mu busika bwa Yisirayeli, kubanga baakola ekibi kino, ekikolwa eky'obugwagwa, mu Yisirayeli.
7
Kati mwenna Abayisirayeli, muwe ebirowoozo byammwe n'ennamula yammwe.”
8
Abantu bonna ne bayimirira ng'omuntu omu ne bagamba nti: “Tetujja kudda mu weema zaffe, tetujja kudda mu nnyumba zaffe, mpaawo n'omu mu ffe,
9
wabula kino kye tujja okukola Gibewa: tujja kumulumba nga twesigama ku kalulu:
10
Tujja kulonda abasajja kkumi mu buli kikumi mu buli kika kya Yisirayeli, ate mu buli lukumi kikumi, ne mu buli mutwalo lukumi; bano baleetere eggye emmere nga lituuse e Gibewa mu Benyamiini lisobole okuwoolera eggwanga olw'okubeera eby'obugwagwa byonna bye baakola mu Yisirayeli.”
11
Abasajja bonna mu Yisirayeli ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu okulumba ekibuga.
12
Ebika bya Yisirayeli ne bituma ababaka wonna mu kika kya Benyamiini, ne bababuuza nti: “Kibi ki kino ekyakolebwa mu mmwe?
13
Muleete abantu abo abagwagwa ab'omu Gibewa tubatte, Yisirayeli tuginaazeeko ekibi kino.” Naye Ababenyamiini tebaawuliriza baganda baabwe Abayisirayeli.
14
Olwo Ababenyamiini ne bava mu bibuga byonna ne bakuŋŋaanira e Gibewa okulwanyisa Abayisirayeli.
15
Ku olwo Ababenyamiini ne bakunga mu bibuga abasajja emitwalo ebiri mu kakaaga abakwasi b'ebitala, nga tobaze olusanvu abalondobe mu batuuze b'omu Gibewa.
16
Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja lusanvu abalondobe, ab'enkonokono, nga bwe baweereza oluviiri envuumuulo y'ejjinja, terubalema kuteeba.
17
Ne Yisirayeli, ng'oggyeeko Ababenyamiini, yakunga emitwalo amakumi ana abakwata ebitala, bonna nga basajja batabaazi.
18
Abayisirayeli bajja mu Beteli ne beebuuza ku Katonda, ne bagamba nti: “Ani mu ffe anaasooka okwambuka okulwanyisa Ababenyamiini?” Omukama n'abaanukula nti: “Yuda y'anaasooka okwambuka.”
19
Ku makya Abayisirayeli ne basiisira emitala wa Gibewa.
20
Ne bagenda okulumba Ababenyamiini; abasajja ba Yisirayeli ne bataza eggye okulumba Gibewa.
21
Ku olwo Ababenyamiini ne bava mu Gibewa, ne batta mu ddwaniro abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu Bayisirayeli.
22
Naye Abayisirayeli ne baguma, ne baddamu okutaza eggye mu bifo byabwe bye baalimu ku lukulembedde.
23
Abayisirayeli ne bambuka ne bakaabira mu maaso g'Omukama okutuusa akawungeezi; ne bamwebuuzaako, ne bamugamba nti: “Tuddemu okulumba Ababenyamiini baganda baffe?” Omukama n'abaanukula nti: “Mubalumbe.”
24
Enkeera Abayisirayeli ne basemberera Ababenyamiini.
25
Ababenyamiini ne bava mu Gibewa okubasisinkana, ne batta mu Bayisirayeli abasajja omutwalo gumu mu kanaana; bonna baali batabaazi abakwasi b'ebitala.
26
Olwo Abayisirayeli n'abantu bonna ne bajja e Beteli, ne bakaabira mu maaso g'Omukama. Ne basiiba olunaku lwonna okutuusa akawungeezi, ne baweereza Omukama ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu.
27
Abayisirayeli ne beebuuza ku Mukama. Mu budde obwo Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama yali ebeera eyo;
28
Finekasi mutabani wa Eleyazari mutabani wa Aroni ye yaweerezanga mu maaso gaayo. Ne beebuuza nti: “Tuddemu okulumba Ababenyamiini baganda baffe?” Omukama n'abagamba nti: “Mulumbe, kubanga enkya nzija kubabawa mu mikono gyammwe.”
29
Abayisirayeli ne bazingiza ekibuga Gibewa okukyetooloola.
30
Ku lunaku olwokusatu ne balumba Ababenyamiini, ne bataza eggye okulumba Gibewa mu bifo bye baalimu ku mirundi egyasooka.
31
N'Ababenyamiini ne bavaayo okubasisinkana, ne batwalirizibwa okuleka ekibuga emabega; ne basooka okutta mu Bayisirayeli nga bwe baakola ku mirundi egyasooka; abantu bangi abaafiira ku makubo, eriraga e Beteli n'eriraga e Gibewa, n'abandi ku ttale; baawera abasajja amakumi asatu okuva mu Yisirayeli.
32
Ababenyamiini baali balowooza nti: “Tubagobye nga bwe gwali mu kusooka,” nga n'Abayisirayeli bagamba nti: “Mugire tukube akaddannyuma tubaggye mu kibuga bajje eno mu nguudo.”
33
Bonna abasajja ba Yisirayeli ne basituka mu bifo byabwe ne bagenda balindira e Baali-Tamari. Awo Abayisirayeli abaali beekwese ne bafubutukayo mu bifo byabwe, ne balumba ebugwanjuba wa Gibewa.
34
Abasajja mutwalo mulamba abalondobe mu Yisirayeli yenna ne bajja balumba Gibewa, olutalo ne lunyiinyittira. Ababenyamiini tebaamanya kabi kabatuukiridde.
35
Omukama n'abatta mu maaso g'Abayisirayeli. Ku olwo Yisirayeli n'atta emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi mu Benyamiini, abaali abasajja abambalira ebitala.
36
Ababenyamiini ne balaba nga bagobeddwa. Abayisirayeli baasooka kudduka Benyamiini, kubanga baali beesiga bali be baali balese beekwekeredde Gibewa.
37
Abaali beekwese baafubutuka ne bayingira Gibewa, ne basaasaana wonna mu kibuga, kyonna ne bakitta n'ekitala.
38
Abasajja ba Yisirayeli baali bagambye abaakola ogw'okwekwekerera nti bwe banaanyoosa omukka okuva mu kibuga,
39
olwo abasajja ba Yisirayeli nga bakomawo mu ddwaniro. Ababenyamiini baali basoose okukuba Abayisirayeli, nga basse ng'amakumi asatu, ne balowooza nti: “Tubagobye nga bwe gwali mu lutalo olwasooka.”
40
Naye omukka mu kibuga bwe gwasooka okunyooka, Ababenyamiini ne bakebuka, ne balaba ng'ekibuga kittunka, omukka nga gwambuka ku ggulu.
41
Abayisirayeli ne babakyukira; Ababenyamiini ne batengera, kubanga baalaba ng'akabi kabatuukiridde.
42
Ababenyamiini ne badduka abasajja ba Yisirayeli nga badda mu ddungu, naye era olutalo ne lubagobererayo, anti Abayisirayeli abaava mu bibuga baabasangayo ne babakubirayo.
43
Baazingiza Ababenyamiini ne babamerako obutabaweeza, ne babalinnyirira okutuusiza ddala kumpi ne Gibewa ebuvanjuba.
44
Mu Benyamiini ne muttibwamu abasajja omutwalo gumu mu kanaana, bonna baali basajja abeesobola.
45
Abaasigalawo bwe baali badduka nga badda mu ddungu okulaga ku lwazi lw'e Rimmoni, Abayisirayeli ne babattiramu eyo ku makubo enkumi ttaano. Ne bongera okubagoba obutabaweeza okutuukira ddala e Gidomu, ne babattamu abalala enkumi bbiri.
46
Bonna abaafa ku olwo mu Benyamiini baawera emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, abasajja abambalira ebitala, bonna abaali abasajja abeesobola.
47
Naye abasajja lukaaga ne baddukira mu ddungu ku lwazi lw'e Rimmoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena.
48
Abayisirayeli ne bakyukira Ababenyamiini, ne batta n'ekitala abasajja bonna mu bibuga, n'ebisolo, na buli kintu kye baasangirizanga; buli kibuga kye baatuukangako nga bakiteekera omuliro.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21