bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 21
Judges 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
1
Abayisirayeli baali balayidde e Mizupa nti: “Mu ffe tewaba awa Mubenyamiini muwala we abeere mukazi we.”
2
Abantu ne bajja e Beteli ne batuula mu maaso ga Katonda okutuusa akawungeezi; ne basitula amaloboozi gaabwe ne bakaaba nnyo nga bagamba nti:
3
“Ayi Mukama Katonda wa Yisirayeli, lwaki kino kiguddewo mu bantu bo olwa leero, ekika ekimu mu Yisirayeli ne kisalibwako?”
4
Enkeera, mu matulutulu ne bazimba omwaliiro ne baweererezaako ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu.
5
Abayisirayeli ne bagamba nti: “Ani mu bika bya Yisirayeli byonna atazze mu lukuŋŋaana wa Mukama?” Baali balayidde nti: “Buli yenna atajje mu lukuŋŋaana wa Mukama mu Mizupa wa kuttibwa.”
6
Abayisirayeli ne banyolwa olwa baganda baabwe ab'omu Benyamiini, ne bagamba nti: “Olwa leero ekika kimu kisaliddwako ku Yisirayeli.
7
Tukole tutya abasigaddewo okubafunira abakazi, anti twalayira dda ffenna ew'Omukama nti tetugenda kubafumbiza bawala baffe.”
8
Awo ne bagamba nti: “Mu bika byonna ebya Yisirayeli, ani atazze mu lukuŋŋaana wa Mukama mu Mizupa?” Ne bazuula nga mu lusiisira tewaali n'omu yali azze mu lukuŋŋaana okuva mu Yabesi-Gileyaadi,
9
kubanga bwe baabala abantu, tebaasangamu n'omu yali avudde Yabesi-Gileyaadi.
10
Ekibiina ne kituma abasajja abeesobola omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ne babalagira nti: “Mugende mutte n'ekitala abatuuze b'omu Yabesi-Gileyaadi, n'abakazi n'abaana.
11
Kino kye muba mukola: Mutte kiisi musajja na buli mukazi atakyali mbeerera.”
12
Basanga mu batuuze b'omu Yabesi-Gileyaadi abawala embeerera ebikumi bina, abaali bateebakanga na musajja, ne babaleeta mu lusiisira e Silo mu Kanaani.
13
Ekibiina kyonna ne kituma ababaka, ne boogera eri Ababenyamiini abaali ku lwazi lw'e Rimmoni, ne babatuusaako obubaka obw'okutabagana.
14
Ababenyamiini ne bajja mu budde obwo, ne baweebwa bawala b'e Yabesi-Gileyaadi abaali bataliziddwawo; naye baali tebabamala bonna.
15
Abantu ne banyolwa olwa Benyamiini, kubanga Omukama yali ayawudde mu bika bya Yisirayeli.
16
Abakadde b'ekibiina ne bagamba nti: “Abakazi bonna mu Benyamiini bamaze ne battibwa, tuggye wa abakazi okuwa abasajja abasigaddewo?”
17
Ne bagamba nti: “Abaawonawo mu Benyamiini balina okufuna abasika, ekika ekimu kireme kusaanawo mu Yisirayeli.
18
Bawala baffe tetuyinza kubabawa olw'ekirayiro kye twakola nti: ‘Avumirirwe oyo aliwa Benyamiini omukazi.’ ”
19
Ne bagamba nti: “Laba, mu Silo eriyo olunaku olukulu olw'Omukama olwa buli mwaka; Silo ekiri mu mambuka ga Beteli mu buvanjuba bw'oluguudo oluva e Beteli okulaga e Sekemu mu maserengeta g'ekibuga Lebona.”
20
Awo ne balagira Ababenyamiini nti: “Mugende mwekweke mu mizabbibu.
21
Mutunule; bawala b'e Silo bwe bavaayo okwetaba mu mazina, nga mufubutuka mu mizabbibu, buli omu nga yeenyagiramu omukazi mu bawala ba Silo, nga muddayo mu nsi ya Benyamiini.
22
Bakitaabwe ne bannyinaabwe bwe banajja gye tuli okutuyombesa, tunaabagamba nti: ‘Mutusaasire, nabo mumale gabasonyiwa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, nammwe temwazza musango kubanga bawala bammwe temubabawadde buwi.’ ”
23
Ababenyamiini ne bakola kye baabalagira; buli omu mu Babenyamiini n'agenda ne yeenyagirayo omukazi mu bawala abaali bazina. Ne badda ku busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne babisengamu.
24
N'Abayisirayeli ne bava eyo mu budde obwo, ne baddayo buli omu mu kika kye ne mu ssiga lye ne ku busika bwe.
25
Mu nnaku ezo mu Yisirayeli temwali kabaka, wabula buli omu kye yatwalanga okuba ekituufu nga ky'akola.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21