bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 2
Judges 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
1
Malayika w'Omukama yava e Gilugali n'ayambuka e Bokimu, n'agamba nti: “Nabaggya mu Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe. Nagamba nti: ‘Sigenda kumenya ndagaano yange nammwe emirembe gyonna,
2
nammwe temukolanga endagaano n'abantu b'ensi eno, naye mumenyangawo emyaliiro gyabwe.’ Naye mmwe temwampulira. Kiki ekyabakozesa ekyo?
3
Nange nno mbagamba nti sijja kubabagoberawo. Bajja kubakaluubiririza obulamu ne balubaale baabwe babafuukire omutego.”
4
Malayika w'Omukama bwe yamala okwogera bino byonna eri Abayisirayeli bonna, bo ne bakuba ebiwoobe.
5
Ekifo ne bakituuma Bokimu, ne baweererezaawo Omukama ebitambiro.
6
Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, Abayisirayeli ne badda buli omu mu busika bwe, ensi bagitwale.
7
Abantu baaweerezanga Omukama ebbanga lyonna Yoswa ng'akyali mulamu, ne mu biseera by'abakadde abaawangaala okumusinga, abaamanya byonna Omukama bye yali akoledde Yisirayeli.
8
Yoswa mutabani wa Nuunu, omuweereza w'Omukama, yafa nga wa myaka kikumi mu kkumi egy'obukulu.
9
Baamuziika mu busika bwe e Timunati-Eresi, mu nsozi za Efurayimu, mu mambuka g'olusozi Gaasi.
10
Ezzadde eryo lyonna nga limaze okugattibwa ku bajjajja baalyo, ne wasitukawo ezzadde eritaamanya ku Mukama ne bye yali akoledde Yisirayeli.
11
Abayisirayeli ne bakola bubi mu maaso g'Omukama, ne baweereza Babaali.
12
Baayabulira Omukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera balubaale ab'amawanga agabetoolodde, ne babavunnamira, ne banyiiza Omukama.
13
Baayabulira Omukama ne baweereza Baali ne Baasutoreti.
14
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gy'abanyazi ne babanyagulula, ne mu mikono gy'abalabe baabwe ababeetoolodde nga tebakyasobola kubagumira.
15
Yisirayeli buli lwe yagendanga okulwana, ng'Omukama abalemesa bawangulwe, nga bwe yali ayogedde era nga ne bwe yali alayidde okubakola; ne balaba nnyo ennaku.
16
Olwo Omukama n'asitusa abalanzi abaabaggyanga mu mikono gy'abaabanyaganga.
17
Naye tebaawuliriza balamuzi baabwe, wabula ate badda mu kukola bwamalaaya ne balubaale n'okubavunnamira. Obuwulize eri ebiragiro by'Omukama bajjajjaabwe bwe baalaga, bo baabusuula mangu; tebaakola nga bajjajjaabwe.
18
Omukama bwe yabateekerangawo omulamuzi, nga Omukama abeera n'omulamuzi n'abanunula mu mikono gy'abalabe baabwe mu bbanga lye yamalanga ng'alamula. Anti Omukama yabakwatirwanga ekisa ng'alabye bwe basinda ennaku olw'abaabayigganyanga n'abaabanyigirizanga.
19
Naye omulamuzi bwe yafanga, nga baddayo mu nsobi, nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe mu ngeri gye baagobererangamu balubaale n'okubavunnamira. Ne bagaana okuleka empisa zaabwe embi n'obukakanyavu bwabwe.
20
Awo obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'agamba nti: “Kubanga eggwanga lino limenye endagaano gye nateekerawo bajjajjaabwe, ne batampulira,
21
sikyagobyewo mu maaso gaabwe mawanga Yoswa ge yafa tagobyewo,
22
ngeyambise okugeza Yisirayeli, ndabe oba banaakwata amakubo g'Omukama, bagagoberere nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.”
23
Omukama yali alese amawanga ago ne gasigalira; teyagagobaawo mangu era teyagawaayo mu mikono gya Yoswa.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21