bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 10
Judges 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
1
Abimeleki ng'avuddewo, ne wasitukawo Tola okuwonya Yisirayeli. Yali musajja wa mu Yissakari, mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo. Yabeeranga Samiri mu nsozi za Efurayimu.
2
Yalamula Yisirayeli okumala emyaka abiri mu esatu; n'afa, n'aziikibwa e Samiri.
3
Ng'avuddewo, waasitukawo Yayiri Omugileyaadi. Yalamula Yisirayeli okumala emyaka abiri mu ebiri.
4
Yalina batabani be makumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu. Baalina ebibuga amakumi asatu mu Gileyaadi, n'okutuusa ku lunaku lwa leero ebiyitibwa Kavvoti-Yayiri.
5
Yayiri n'afa n'aziikibwa e Kamoni.
6
Abayisirayeli ne baddamu okweyisa obubi mu maaso g'Omukama, ne baweereza Babaali ne Baasutoreti, ne balubaale b'omu Aramu ne Sidoni, ne balubaale b'omu Mowabu, n'ab'Abammoni n'ab'Abafilisitiini; ne bava ku Mukama nga tebakyamusinza.
7
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gy'Abafilisitiini n'egy'Abammoni,
8
abaababetenta ne babamerengula omwaka ogwo. Ate ne banyigiriza Abayisirayeli abaali emitala wa Yorudani mu nsi y'Abaamori mu Gileyaadi okumala emyaka kkumi na munaana.
9
N'Abammoni ne basomoka Yorudani balwanyise Yuda ne Benyamiini n'ennyumba ya Efurayimu. Yisirayeli n'alaba nnyo ennaku.
10
Abayisirayeli ne balaajanira Omukama, ne bagamba nti: “Twayonoona gy'oli, kubanga twaleka Katonda waffe ne tuweereza Babaali.”
11
Omukama n'abaddamu nti: “Abamisiri, Abaamori, Abammoni, Abafilisitiini,
12
Abasidoni, Abaamaleki, n'Abamawoni bwe baabalabya ennaku ne mulaajanira gye ndi, saabasikaayo mu mikono gyabwe?
13
Naye era mwandekawo, ne musinza balubaale. Nange nno sijja kuddayo kubawonya.
14
Mugende, mulaajanire balubaale be mwerondedde, babadduukirire mu biseera byammwe eby'ennaku.”
15
Abayisirayeli ne bagamba Omukama nti: “Twayonoona. Tuyise nga ggwe bw'oyagala; naye olwa leero, tukwegayiridde tuwonye.”
16
Olwo ne basuula eri ebifaananyi byonna ebya balubaale abagwira, ne baweereza Omukama. N'Omukama naye nga takyasobola kugumiikiriza nnaku ya Yisirayeli.
17
Abammoni ne beekuŋŋaanya mu Gileyaadi ne basiisira. Abayisirayeli nabo ne beekuŋŋaanya ne basiisira e Mizupa.
18
Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagambagana nti: “Oyo anaasooka okulwanyisa Abammoni, oyo y'anaabeera omufuzi w'abantu b'omu Gileyaadi.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21