bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 11
Judges 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
1
Yefuta Omugileyaadi yali musajja muzira, kitaawe nga ye Gileyaadi. Nnyina yali mukazi malaaya.
2
Mukazi wa Gileyaadi yennyini naye yamuzaalira abaana ab'obulenzi. Bo bwe baakula ne bagoba Yefuta, nga bagamba nti: “Tojja kugabana ku busika mu nnyumba ya kitaffe, kubanga oli mwana wa mukazi mulala.”
3
Yafuta n'adduka baganda be, n'agenda abeera mu nsi y'e Tovu. Abasajja endalagge ne bamukuŋŋaanirako, ne bagendanga naye okwaya.
4
Ebbanga nga liyiseewo, Abammoni ne balwanyisa Yisirayeli.
5
Abakadde b'omu Gileyaadi ne bagenda okuzza Yefuta okuva mu nsi y'e Tovu.
6
Ne bagamba Yefuta nti: “Jjangu, obeere omugabe waffe, lwe tunaasobola Abammoni.”
7
Yefuta n'ayanukula abakadde b'omu Gileyaadi nti: “Si mwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Lwaki kati nga mugudde mu bizibu mujja gye ndi?”
8
Abakadde b'omu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Ekyo kye kituleese gy'oli; jjangu naffe olwanyise Abammoni; olifuuka mukulembeze waffe, n'abo bonna ab'omu Gileyaadi.”
9
Ne Yefuta n'agamba abakadde b'omu Gileyaadi nti: “Oba mumpita mbalwanirire mu lutalo n'Abammoni, Omukama amala abampa mu mikono gyange, ndibafuga?”
10
Abakadde b'omu Gileyaadi ne baanukula Yefuta nti: “Omukama ye mujulirwa waffe; tujja kukola nga bw'ogambye.”
11
Yefuta n'agenda wamu n'abakadde b'omu Gileyaadi; abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omugabe waabwe. Yefuta n'addamu mu maaso g'Omukama e Mizupa obukalu bwonna bwe yali ataddewo.
12
Yefuta n'atuma ababaka eri kabaka w'Abammoni nti: “Kiki kye nakukola olyoke ojje okulumba ensi yange?”
13
Kabaka w'Abammoni n'ayanukula ababaka ba Yefuta nti: “Kubanga Yisirayeli bwe yava e Misiri, yanyaga ensi yange, okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yorudani. Kale nno ginzirize mu ddembe.”
14
Yefuta n'addamu okutuma ababaka ewa kabaka w'Abammoni
15
ne bamugamba nti: “Bino Yefuta by'agamba: ‘Yisirayeli teyatwala nsi y'e Mowabu, wadde ey'Abammoni.
16
Naye bwe yava e Misiri, yayita mu ddungu ery'Ennyanja ey'Ebiwuuwa, n'ajja e Kadesi.
17
Awo Yisirayeli n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'asaba nti: “Nzikiriza nkutulire mu nsi yo.” Naye kabaka wa Edomu teyawuliriza. N'atuma n'ewa kabaka w'e Mowabu; naye era teyamuganya. Awo Yisirayeli kwe kusigala mu Kadesi.
18
Yisirayeli n'ayita mu ddungu, n'abalaamiriza ensi ya Edomu n'ensi y'e Mowabu, n'ayitira ku ludda lw'ebuvanjuba obw'ensi y'e Mowabu, n'asiisira emitala wa Arunoni. Teyayingira mu nsi y'e Mowabu, kubanga Arunoni ye yali ensalo y'e Mowabu.
19
Yisirayeli yatuma ababaka eri Sikoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga e Kesuboni nti: “Ndeka, mpite mu nsi yo, ndage mu kifo kyange.”
20
Kyokka Sikoni teyeesiga Yisirayeli kuyita mu nsi ye; wabula yakuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira e Yawazi, n'alwanyisa Yisirayeli.
21
Omukama n'awaayo Sikoni n'eggye lye lyonna mu mikono gya Yisirayeli. Yisirayeli n'abawangula, ne yezza ensi ye yonna ey'Abaamori ababeera mu kitundu ekyo.
22
Bezza ensi yonna ey'Abaamori okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Yorudani.
23
Oba nno Omukama Katonda wa Yisirayeli amaze okugoberawo abantu be Yisirayeli Abaamori, kati ggwe olina buyinza ki okwagala okugyezza?
24
Ggwe lubaale wo Cemosi bw'abaako ky'akuwadde otwale, tokitwala? Naffe bwe tutyo Omukama Katonda waffe bye yatugoberawo tutwale, twabitwala.
25
Ggwe osinga Baraki, mutabani wa Zippori, kabaka w'e Mowabu? Yali ayombyeko ne Yisirayeli wadde okumulumba?
26
Yisirayeli bwe yasenga mu Kesuboni n'ebibuga byakyo, ne mu Aroweri n'ebibuga byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku Arunoni okumala emyaka ebisatu, mu budde obwo lwaki tewagezaako kubyezza?
27
Awo nno si nze nkukola akabi, wabula ggwe onkola akabi ng'onnangirirako entalo. Omukama omulamuzi atusalirewo ekituufu wakati w'Abayisirayeli n'Abammoni.’ ”
28
Naye kabaka w'Abammoni teyassaayo mwoyo ku bigambo Yefuta bye yamugamba.
29
Omwoyo gw'Omukama ne gukka ku Yefuta, n'ayita mu Gileyaadi ne mu Manasse, n'akutulira e Mizupa ekya Gileyaadi, gye yava n'alumba Abammoni.
30
Yefuta n'alayira ew'Omukama nti: “Bw'onompa Abammoni ne mbawangula,
31
kyonna ekinaasooka okufuluma mu nnyumba yange okunsisinkana nga nkomawo n'obuwanguzi nga nva eri Abammoni, nzija kukiweereza Omukama ng'ekitambiro ekyokye.”
32
Yefuta n'akutula, n'alumba Abammoni, Katonda n'amuwa n'abawangula.
33
Yabakuba okuva ku Aroweri okutuukira ddala ng'ojja e Minniti, bye bibuga amakumi abiri; ate n'okutuukira ddala e Abeli-Keramimu; yabakuba bubi nnyo. Abammoni ne batoowazibwa mu maaso g'Abayisirayeli.
34
Yefuta bwe yali akomawo ewaabwe e Mizupa, laba, muwala we n'ajja okumusisinkana nga bw'azinira ku bugoma. Omwana yalina ono yekka, teyalina baana balala ba bulenzi wadde ab'obuwala.
35
Bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye n'agamba nti: “O, Mwana wange onzise! Ondeetedde emitawaana! Naye nalagaanya Omukama, sikyayinza kukola bulala.”
36
Omuwala n'amwanukula nti: “Taata, oba walagaanya Omukama, nkola nga bwe wasuubiza, anti Omukama akuyambye n'owoolera eggwanga ku balabe bo Abammoni.”
37
N'agamba kitaawe nti: “Kino kyokka kye nkusaba, ky'oba ompa. Ndeka emyezi ebiri, ŋŋende mmungeete mu nsozi, nkaabire obubeererevu bwange, nze ne bannange.”
38
N'amwanukula nti: “Genda.” N'amuleka emyezi ebiri, n'agenda ne banne eyo mu nsozi, ne bakaabira obubeererevu bwe.
39
Emyezi ebiri bwe gyaggwaako n'akomawo eri kitaawe, n'amukola nga bwe yali yeeyamye. Yali akyali mbeerera. Ne kifuuka mpisa mu Yisirayeli
40
buli mwaka abawala ba Yisirayeli okujjukira muwala wa Yefuta Omugileyaadi nga bamukaabira okumala ennaku nnya.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21