bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 5
Judges 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
1
Ku olwo Debora ne Baraki mutabani wa Abinowamu ne bayimba oluyimba luno nti:
2
“Abagabe bwe beesowolayo mu Yisirayeli, abantu bwe beewaayo kyeyagalire, mutendereze Omukama.
3
“Muwulire, bakabaka, mutege amatu, mmwe abakungu; nze, nzija kuyimbira Omukama, nnaamutendereza mu nnyimba Katonda wa Yisirayeli.
4
Mukama, bwe wajja ng'ova mu Seyiri, bwe wasimbula ekigere okuva mu nsi y'e Edomu, ensi yakankana, n'eggulu ne litonnya, n'ebire ne bitonnya amazzi.
5
“Ensozi ne zikankana mu maaso g'Omukama, Omukama ono ow'oku Sinayi, mu maaso g'Omukama Katonda wa Yisirayeli.
6
“Mu budde bwa Samugari mutabani wa Anati, mu budde bwa Yayeli, amakubo nga makalu; abatambuze nga bakwata bukubo busaliikiriza.
7
“Abatuuze mu byalo baggwaamu; ddala baggwaamu mu Yisirayeli, okutuusa lwe nasituka, nze Debora, okutuusa lwe nasituka, omuzadde mu Yisirayeli.
8
“Bwe baalonda balubaale abaggya, olutalo ne lubajjira ku mulyango gw'ekibuga. Naye ani yalaba ku ngabo oba effumu mu mitwalo ena egya Yisirayeli?
9
“Omutima gwange guli n'abafuga Yisirayeli, guli n'abo abeewaayo kyeyagalire; mutendereze Omukama.
10
“Mmwe abeebagadde endogoyi enjeru, nammwe abatudde ku biwempe byammwe, nammwe abali ku bigere, muwulirize:
11
amaloboozi g'abalasi b'obusaale abatudde ku kyesero; batontoma ebikolwa by'Omukama ebituukirivu, ebikolwa by'abafuga Yisirayeli eby'obutuukirivu. “Olwo eggye ly'Omukama ne likkirira ku miryango gy'ekibuga.
12
“Situka, situka, Debora; situka, situka, yimba oluyimba! Situka, Baraki, owambe abasibe bo, mutabani wa Abinowamu!
13
“Abaasigalawo ne bakkirira eri abakungu; abatabaazi b'Omukama ne bakkirira gye ndi ng'abazira.
14
“Baava mu Efurayimu ne bakkirira mu kiwonvu; Benyamiini ng'akuva mabega n'abantu bo. Abagabe baava mu Makiri ne bakkirira, ne mu Zebuluni abo abakutte omuggo gw'obuduumizi.
15
“Abalangira ba Yissakari baali ne Debora, ye Yissakari yali ne Baraki, n'amukkiriza mu kiwonvu. “Mu kika kya Rubeni mwalimu okwerowooza nnyo.
16
Lwaki ggwe wasigala mu bisibo, okuwuliriza abafuuyira amagana emirere? Mu kika kya Rubeni mwalimu okwerowooza ennyo.
17
“Gileyaadi yasigala mitala wa Yorudani. Ate Daani, lwaki yasigala ku byombo? Aseeri yasigala ku lubalama nga yeewummulidde mu myalo gye.
18
“Abantu ba Zebuluni baawaayo obulamu bwabwe, ne Nafutali bwe yakola, gy'ali waggulu ku nsozi z'ensi.
19
“Bakabaka ne bajja, ne balwana; bakabaka b'e Kanaani baalwanira e Taanaki ku Mazzi g'e Megiddo, naye tebaatwala munyago gwa ffeeza.
20
“Zaalwana emmunyeenye nga ziyima mu ggulu, Zaayima mu mukumbo gwazo ne zirwanyisa Sisera.
21
“Engezi y'e Kisoni yabakuluggusa; engezi ey'edda, engezi y'e Kisoni. Simbula ekigere, mwoyo gwange. Guma!
22
“Olwo ebiganja by'embalaasi ne bikuba omusinde, nga bwe zigenda ziguluka, bwe ziguluka embalaasi ze ez'amaanyi.
23
“Malayika w'Omukama n'agamba: ‘Vumirira Merozi, vumirira ne ssekuvumirira abakisulamu, kubanga tebajja kuyamba Mukama, kuyamba Mukama kulwanyisa ba maanyi.’
24
“Yayeli, oli nnamukisa mu bakazi bonna; muka Keberi Omukeni, oli nnamukisa mu bakazi bonna abasula mu weema.
25
“Yasaba mazzi, n'amuwa mata; Yamuwa bbongo mu kibya ky'abakungu.
26
“Omukono gwe gwakunuukiriza enkondo, omukono gwe ogwa ddyo ne gubaka ennyondo y'abafundi; yakuba Sisera n'amubetenta omutwe, n'amwasa oluba, n'aluwummula.
27
“Yakka ku bigere bye n'agwa awo, yakka, n'agalamira; yakka ku bigere bye n'agwa awo; we yakka we yagwa, nga mufu.
28
“Ayima mu ddirisa n'atunula wansi; Nnyina Sisera n'ayisa mu katimba n'aleekaana: ‘Lwaki ekigaali kye kiruddeyo? Lwaki emisinde gy'ekigaali kye gikeereye?’
29
“N'amuddamu asinga obugezi mu bambejja be, ate naye nga bwe yeddamu:
30
‘Kati tebakuŋŋaanya na kugabana munyago? Buli mutabaazi omwandu gwe: omuwala omu oba babiri; omunyago gwa Sisera ze ngoye eza langi entobeke, ogwange: kitambaala ekya langi entobeke, oba bibiri olw'obulago bwange.’
31
“Mukama, bonna abalabe bo bazikirire! Naye abo abakwagala babeere ng'enjuba bw'evaayo n'amaanyi gaayo gonna.” Awo ensi n'eweerako okumala emyaka amakumi ana.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21