bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 6
Judges 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
1
Abayisirayeli baakola bubi mu maaso g'Omukama, n'abawaayo mu mikono gy'Abamidiyaani okumala emyaka musanvu.
2
Midiyaani bwe yabanyigiriza ennyo, ne beekolera obwekwekero mu nsozi, empuku n'obufo obwesiifu.
3
Yisirayeli bwe yamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abaamaleki n'abalala abantu ab'ebuvanjuba nga babalumba.
4
Baasiisira mu bo ne boonoona ebirime by'ensi okutuukira ddala e Gaza, nga tebalekaawo kaliibwa n'akamu mu Yisirayeli, si ndiga, si nte, si ndogoyi;
5
kubanga bajjanga n'amagana gaabwe, ne weema zaabwe, nga bakutte ng'enzige, akeesedde k'abantu n'eŋŋamiya; baazindanga ensi okugizikiriza.
6
Yisirayeli n'adooba nnyo olwa Midiyaani; Abayisirayeli ne balaajanira Omukama.
7
Abayisirayeli bwe baalaajanira Omukama olwa Midiyaani,
8
Omukama n'abatumira omusajja omulanzi eyabagamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba nti: ‘Nze nabaggya mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba y'obuddu,
9
nabawonya mu mikono gya Misiri n'egy'abo bonna abaababonyaabonyanga; nabagobawo mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe.
10
Nabagamba nti: “Nze Mukama Katonda wammwe; temusinzanga balubaale b'Abaamori bannannyini nsi mwe muli.” Naye mwagaana okuwulira eddoboozi lyange.’ ”
11
Malayika w'Omukama n'ajja, n'atuula mu muvule ogwali e Ofura, ogwa Yowasi ow'omu nyumba ya Abiyezeri. Mutabani we Gidewoni yali awuula ŋŋano mu ssogolero ly'evviini, atere agikweke Abamidiyaani.
12
Malayika w'Omukama n'amulabikira, n'amugamba nti: “Omukama ali naawe, ggwe omutabaazi omuzira!”
13
Gidewoni n'amuddamu nti: “Naye, ssebo, oba Omukama ali naffe, lwaki bino byonna bitugwiridde? Ebyewuunyisa bye byonna biruwa bajjajjaffe bye baatunyumizaako, ne bagamba nti: ‘Omukama si ye yatuggya mu Misiri?’ Naye kati Omukama atwabulidde, atuwaddeyo mu mikono gy'Abamidiyaani.”
14
Omukama n'akyukira gy'ali n'amugamba nti: “Genda n'amaanyi g'olina ago owonye Yisirayeli mu mikono gya Midiyaani. Si nze nkutumye?”
15
Gidewoni n'amwanukula nti: “Mukama, Yisirayeli nnaamulokola ntya? Ennyumba mwe nva y'esembayo mu Manasse; nange nze nsembayo mu maka ga kitange.”
16
Omukama n'amugamba nti: “Nzija kubeera naawe. Ojja kuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.”
17
Gidewoni n'amuddamu nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso go, mpa akabonero akakakasa nti ggwe oyogera nange.
18
Tova wano okutuusa lwe nnadda gy'oli nkuleetere ekitambiro, nkikuweereze.” Ye n'amuddamu nti: “Nzija kulindirira okutuusa lw'onodda.”
19
Gidewoni n'ayingira, n'afumba akabuzi, n'addira n'efa y'eŋŋano n'afumba emigaati egitazimbulukuse. Ennyama n'agissa mu kisero, omucuuzi n'agussa mu katamu, byonna n'abitwala n'abimuweereza wansi w'omuvule.
20
Malayika wa Katonda n'amugamba nti: “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuse obisse ku jjinja liri, n'omucuuzi ogufuke kuli.” Bwe yakola.
21
Malayika w'Omukama n'agolola omuggo gwe gwe yali akutte mu ngalo, n'akoona n'akasongezo ku nnyama n'emigaati egitazimbuluse. Omuliro ne guva mu lwazi ne gusenkenya ennyama n'emigaati egitazimbulukuse. Malayika w'Omukama n'abula.
22
Gidewoni bwe yalaba nti abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti: “Nga ndabye! Kubanga ndabye malayika w'Omukama maaso ku maaso.”
23
Naye Omukama n'amugamba nti: “Emirembe gibeere naawe! Totya, tojja kufa!”
24
Gidewoni awo n'azimbirawo Omukama omwaliiro, n'agutuuma 'Omukama Ddembe'. N'okutuusa ku lunaku lwa leero gukyali mu Ofura eky'abazzukulu ba Abiyezeri.
25
Ekiro ekyo, Omukama n'amugamba nti: “Kwata ente ya kitaawo ennume, enkulu obulungi, eweza emyaka omusanvu. Menyawo omwaliiro gwa Baali kitaawo gwe yamuzimbira, n'empagi eriraanye omwaliiro ogitemewo.
26
Zimbira Omukama Katonda awo ku lwazi olwo omwaliiro, oddire ente ennume enkulu obulungi ogiweereze ku ntuumu y'enku z'empagi gye watemye, ng'ekitambiro ekyokye.”
27
Gidewoni n'alonda abasajja kkumi mu baweereza be, n'akola ng'Omukama bwe yali amulagidde. Yalondawo kubikola kiro, si misana, olw'okutya ennyumba ya kitaawe n'abasajja b'ekibuga ekyo.
28
Abasajja b'ekibuga ekyo bwe baazuukuka ku makya, ne kibabuukako okulaba ng'omwaliiro gwa Baali gwamenyeddwa n'empagi ya Asera eyali eguliraanye ng'etemeddwa, ate ng'ente ennume enkulu obulungi eweerezeddwa ng'ekitambiro ekyokye ku mwaliro ogwakazimbwawo.
29
Ne beebuuza nti: “Ani akoze kino?” Bwe baabuuliriza ne babagamba nti: “Gidewoni mutabani wa Yowasi ye yakoze bino byonna.”
30
Ne bagamba Yowasi nti: “Mutabani wo muleete; asaanira kufa, kubanga yamenyeewo omwaliiro gwa Baali n'atema n'empagi ya Asera ebadde eriranyeewo.”
31
Yowasi n'abaddamu bonna abaali bamwebunguludde nti: “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kumuwonya? Anaalwanirira Baali we bunaakeerera anaaba attiddwa. Oba Baali lubaale, ajja kwerwanako nga waliwo amenya omwaliiro gwe.”
32
Okuva ku olwo Gidewoni ne bamutuuma Yerubbaali, nga bagamba nti: “Ka Baali amulwanyise, kubanga yamenyawo omwaliiro gwe.”
33
Olumu Abamidiyaani bonna n'Abaamaleki n'abantu ab'ebuvanjuba, beekuŋŋaanya ne basomoka Yorudani, ne basiisira mu kiwonvu kya Yezureeli.
34
Naye omwoyo gw'Omukama ne gujja ku Gidewoni, n'afuuwa eŋŋombe, n'akunga Abiyezeri amugoberere.
35
Era yatuma ababaka wonna mu Manasse n'abakunga bamugoberere; naye n'amugoberera; n'atuma n'ababaka abalala mu Aseeri, Zebuluni, Nafutali; nabo ne bajja okumusisinkana.
36
Gidewoni n'agamba Katonda nti: “Oba onoonunula Yisirayeli n'omukono gwange nga bwe wagamba,
37
laba, nzija kussa eddiba ly'endiga mu gguuliro. Omusulo bwe gunaaba ku ddiba kwokka, ettaka okwetooloola nga kkalu, nnaamanya ng'onoowonya Yisirayeli n'omukono gwange nga bwe wagamba.”
38
Era bwe kyaba. Bwe yazuukuka, eddiba, n'alikamulamu omusulo ekikopo kiramba.
39
N'ayongera n'agamba Katonda nti: “Toleka busungu bwo kunneesererako; nzikiriza nziremu nkusabe, ku mulundi guno ngezeeko omulundi omulala gumu gwokka n'eddiba. Ku luno, eddiba lyokka lye liba libeera ekkalu, ettaka lyo litobe omusulo.”
40
Katonda n'akola atyo ekiro ekyo nga bwe yali asabye; eddiba lyokka lye lyali ekkalu, naye nga ku ttaka awalala wonna wabisse omusulo.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21