bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 7
Judges 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
1
Ku makya Yerubbaali (ye Gidewoni) bwe yazuukuka, n'abantu bonna abaali naye, n'asiisira kumpi ne Eni-Karodi; lwo olusiisira lwa Midiyaani nga lubali mu kiwonvu, kumpi n'olusozi More.
2
Omukama n'agamba Gidewoni nti: “Abantu bo bayitiridde obungi nze okubawa Midiyaani mu mikono gyabwe, sikulwa nga Yisirayeli anneewaanirako nti: ‘Maanyi gange ge gannunudde.’
3
Kale nno langirira nga bonna bawulira nti: ‘Atidde n'eyeekanzeemu addeyo, ave ku lusozi Gileyaadi.’ ” Abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne badda eka, ne wasigalawo omutwalo gumu gwokka.
4
Omukama n'agamba Gidewoni nti: “Era abantu bakyali bangi. Batwale ku mugga, eyo gye nzija okubalondoberamu. Bwe nnaagamba nti: ‘Ono agende naawe,’ oyo anaagenda; bwe nnaagamba nti: ‘Oyo tagenda naawe,’ tajja kugenda.”
5
Awo Gidewoni abantu n'abakkiriza ku mugga; Omukama n'amugamba nti: “Abanaakomba obukombi amazzi ng'embwa basse ku luuyi olumu, ate abo abanaafukamira ne banywa basse ku luuyi olulala.”
6
Abaakomba amazzi ng'ekibatu kigatuusa mu kamwa, baali abasajja ebikumi bisatu; abantu bonna abalala baanywa bafukamidde.
7
Omukama n'agamba Gidewoni nti: “N'abasajja ebikumi ebisatu abakombye obukombi amazzi nzija kukununula, nkuwe Abamidiyaani mu mikono gyo. Abalala bonna buli omu addeyo ewuwe.”
8
Gidewoni n'asigazaawo abasajja bikumi bisatu bokka, ne batwala emmere n'eŋŋombe ebibadde ebya bali; abalala bonna n'abalagira baddeyo mu weema zaabwe. Olusiisira lwa Midiyaani lwamuli awo wammanga mu kiwonvu.
9
Ekiro ekyo kyennyini Omukama n'agamba Gidewoni nti: “Situka, serengeta olumbe olusiisira, kubanga nduwadde mu mikono gyo. 1
10
Bw'oba otidde okulumba, kkirira n'omuweereza wo Pura.
11
Bw'onoowulira bye boogera, ojja kuguma olumbe olusiisira.” N'aserengeta n'omuweereza we Pura ku njegooyego z'olusiisira awaali abakuumi abalwetoolodde.
12
Abamidiyaani n'Abaamaleki n'abantu ab'ebuvanjuba baali bagumbye awo mu kiwonvu nga bali ng'enzige obungi; eŋŋamiya zaabwe nazo nga butabala, obungi nga ziri ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
13
Gidewoni we yatuukira nga waliwo eyali anyumiza munne ekirooto nti: “Naloose ekirooto; nalabye omugaati gwa sayiri nga guyiringita, ne gukka mu lusiisira lw'Abamidiyaani. Bwe gwatuuse ku weema, ne gugikoona, n'egwa ne yeevuunika n'esaanawo.”
14
Munne kwe kuddamu nti: “Ekyo si kirala, wabula kitala kya Gidewoni, mutabani wa Yowasi Omuyisirayeli. Katonda awaddeyo Midiyaani n'ensiisira yonna mu mikono gye.”
15
Gidewoni bwe yawulira ekirooto n'endootolola yaakyo, n'asinza, n'addayo mu lusiisira lwa Yisirayeli n'agamba nti: “Musituke, kubanga Omukama awaddeyo olusiisira lwa Midiyaani mu mikono gyammwe.”
16
Abasajja ebikumi ebisatu n'abagabanyaamu ebibinja bisatu, n'abawa eŋŋombe n'ensuwa enkalu nga zirimu ebitawuliro by'omuliro.
17
N'abagamba nti: “Mutunule, kye mulaba nkola, nammwe kye muba mukola. Bwe nnaatuuka ku njegooyego z'olusiisira, kye nnaakola, nammwe kye munaakola.
18
Bwe nnaafuuwa eŋŋombe era n'abo abali nange, nammwe eyo yonna okwetooloola olusiisira mufuuwe eŋŋombe nga bwe muleekaanira kumu nti: ‘Ku lwa Katonda ne Gidewoni!’ ”
19
Gidewoni n'abasajja ebikumi ebisatu abaali naye ne batuuka ku njegooyego z'olusiisira ekisisimuka ekya wakati nga kitandika, ng'abakuumi kye bajje bakyusibwe. Ne bafuuwa eŋŋombe n'okwasa ensuwa ze baali bakutte.
20
Ebibinja ebisatu ne bifuuwa eŋŋombe, ne baasa n'ensuwa, ne bakwata ebitawuliro ne kkono, mu ddyo nga bakutte eŋŋombe ez'okufuuwa. Ne baleekaana nti: “Ekitala ku lwa Mukama ne Gidewoni!”
21
Buli omu yasigala mu kifo kye okwetooloola olusiisira lw'abalabe. Bonna abaali mu lusiisira ne baduma nga bwe baleekaana, ne badduka.
22
Abasajja ebikumi ebisatu bwe baafuuwa eŋŋombe, Omukama n'aleeta okutabuka mu lusiisira; buli omu n'akyukira munne n'ekitala, ne badduka nga bwe baleekaana. Ne badduka okutuuka e Beti-Sitta ng'alaga e Zereda okutuukira ddala ku nsalo ya Abeli-Mekola e Tabbati.
23
Abasajja Abayisirayeli ne bayitibwa okuva mu Nafutali, Aseeri ne Manasse yenna, ne bawondera Midiyaani.
24
Gidewoni n'atuma ababaka wonna mu nsozi za Efurayimu ng'agamba nti: “Mukkirire, mulumbe Midiyaani mubawambeko enzizi okutuuka e Beti-Bera ko ne Yorudani.” N'akoowoola abasajja bonna aba Efurayimu, ne babawambako enzizi okutuuka e Beti-Bera ko ne Yorudani.
25
Ne bawamba abakungu babiri ab'omu Midiyaani, Orebi ne Zeebi. Orebi ne bamuttira ku Jjinja lya Orebi; Zeebi ne bamuttira ku ssogolero lya Zeebi. Ne bawondera Midiyaani, ne batwalira Gidewoni emitala wa Yorudani gye yali emitwe ogwa Orebi n'ogwa Zeebi.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21