bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Judges 8
Judges 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
1
Abasajja aba Efurayimu ne banenya Gidewoni nti: “Watukola ki kino, n'ototuyita ng'ogenda okulwanyisa Midiyaani?” Ne bamuyombesa n'amaanyi.
2
Ye n'abaddamu nti: “Nkoze ki nno okulabira ku mmwe kye mwakola? Emizabbibu Efurayimu gy'anoze tegisinga egya Abiyezeri gy'akungudde?
3
Abakungu ba Midiyaani, Orebi ne Zeebi, Katonda abawaddeyo mu mikono gyammwe; nze nkoze ki ng'okigeraageranyizza n'ekyammwe?” Bwe yayogera ebyo, obusungu bwe baamulinako ne bukkakkana.
4
Gidewoni bwe yatuuka ku Yorudani, n'amusomoka wamu n'abasajja ebikumi ebisatu, naye ng'okuwondera abadduka kubakooyezza.
5
N'asaba abasajja b'e Sukkoti nti: “Mbeegayiridde, abantu be ndi nabo mubawe ku migaati egy'oluwewere, kubanga bakooye, ate nkyawondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”
6
Abakungu b'omu Sukkoti ne baanukula nti: “Emikono gya Zeba ne Zalumunna gikuli mu ngalo tulyoke tuwe eggye lyo emigaati?”
7
Gidewoni n'abagamba nti: “Kale, Katonda bw'anampa Zeba ne Zalumunna ne mbakwata, emibiri gyammwe nzija kugitaagulataagula n'amaggwa ag'omu ddungu ne kirobo.”
8
Bwe yava eyo n'ayambuka e Penuweli, abaayo n'abagamba kye kimu, nabo ne bamwanukula ng'abasajja be Sukkoti bwe baali baanukudde.
9
Kwe kugamba abasajja b'e Penuweli nti: “Bwe nkomawo n'obuwanguzi, omunaala guno nzija kugumenyawo.”
10
Zeba ne Zalumunna baali bawummuddeko mu Karukori n'eggye lyabwe lyonna, abasajja ng'omutwalo gumu mu enkumi ttaano, abaali basigaddewo ku ggye ly'abantu b'ebuvanjuba; abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri abakwasi b'ebitala baali battiddwa.
11
Gidewoni yayambukira mu kkubo ly'abalunzi ku ludda lw'ebuvanjuba wa Noba ne Yogubewa n'azinduukiriza eggye nga teririndiridde.
12
Zeba ne Zalumunna ne badduka; Gidewoni n'abagoba, bakabaka bombi aba Midiyaani, Zeba ne Zalumunna, n'abawamba; eggye lyonna ne libuna emiwabo.
13
Gidewoni mutabani wa Yowasi n'akomawo ng'ava mu lutalo, n'ayitira ku kasozi k'e Eresi.
14
Yakwata omuvubuka omu ow'omu basajja b'e Sukkoti n'abaako by'amubuuza. Omuvubuka n'amuwandiikira amannya g'abasajja nsanvu mu musanvu abakungu era abakadde b'ekibuga Sukkoti.
15
N'ajja eri abasajja b'e Sukkoti n'abagamba nti: “Zeba ne Zalumunna baabano be mwankiinira nga mugamba nti: ‘Omaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tuwe emigaati abasajja bo abakooye?’ ”
16
N'akwata abakadde b'omu kibuga, n'ataagulataagula abasajja b'e Sukkoti n'amaggwa g'omu ddungu ne kirobo.
17
Yamenyawo era omunaala gw'e Penuweli abasajja b'omu kibuga n'abatta.
18
N'abuuza Zeba ne Zalumunna nti: “Abantu be mwattira e Tabori baali ba ngeri ki?” Ne baddamu nti: “Baali bakufaanana; buli omu ku bo ng'ali nga mutabani wa kabaka.”
19
N'abagamba nti: “Baali baganda bange, baana ba nnyabo. Mazima Omukama nga mulamu, singa mwabaleka, nange sandibasse.”
20
N'alagira Yeteri mutabani we omuggulanda nti: “Situka, obatte.” Naye omulenzi teyasowola kitala kubanga yali atya; yali akyali mwana bwana.
21
Zeba ne Zalumunna ne bamugamba nti: “Jjangu, ggwe otwettire wennyini, anti ng'omusajja bw'ali, n'amaanyi ge.” Gidewoni n'asituka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala n'obulege obuweese ng'omwezi obwalinga mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe.
22
Abayisirayeli ne bagamba Gidewoni nti: “Tufuge ggwe, mutabani wo, ne muzzukulu wo, kubanga otuwonyezza mu mikono gya Midiyaani.”
23
Gidewoni n'abaddamu nti: “Sijja kubafuga, ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y'anaabafuga.”
24
Gidewoni n'abagamba era nti: “Kimu kyokka kye mbasaba: buli omu annondere mu munyago gwe empeta.” Engeri gye baali Abayisimayeli, baali bamanyidde okwambala empeta eza zaabu.
25
Ne bamuddamu nti: “Tujja kuziwa.” Ne baaliira olugoye, buli omu n'asuulako empeta okuva mu munyago gwe.
26
Empeta ze yasaba ne ziweza sekeli eza zaabu lukumi mu lusanvu, nga togasseeko bulege obuweese ng'omwezi, n'empeta ez'oku matu, n'eminagiro gya bakabaka b'e Midiyaani gye bambala, era nga tobaliddeeko mikuufu egy'omu bulago bw'eŋŋamiya.
27
Gidewoni n'akolamu efodi n'agiteeka mu kibuga kye e Ofura; Yisirayeli yenna n'akola obwamalaaya nayo eyo; efodi n'efuukira Gidewoni n'amaka ge gonna omutego.
28
Midiyaani n'atoowazibwa mu maaso g'Abayisirayeli; tebaasobola kuddayo kwejugumula; ensi n'eweerako okumala emyaka ana ebbanga lyonna Gidewoni lye yamala ng'akyali mulamu.
29
Yerubbaali mutabani wa Yowasi n'adda ewaabwe abeere eyo.
30
Gidewoni yalina abaana be kennyini nsanvu, kubanga yalina abakazi bangi.
31
Mukazi we eyabeeranga e Sekemu naye yamuzaalira omwana n'amutuuma Abimeleki.
32
Gidewoni mutabani wa Yowasi n'afa ng'akaddiyidde ddala, n'aziikibwa ku kiggya kya kitaawe Yowasi e Ofura ekya bazzukulu ba Abiyezeri.
33
Gidewoni olwamala luti okufa, Abayisirayeli ne baddamu okukola obwamalaaya ne Babaali. Beeteerawo Baali-Beriti nga lubaale waabwe,
34
nga tebakyajjukira Mukama Katonda waabwe eyali abawonyezza mu mikono gy'abalabe baabwe abaabali ku njuyi zonna.
35
Era tebaagirira kisa nnyumba ya Yerubbaali, oba Gidewoni, olw'ebirungi byonna bye yali akoledde Yisirayeli.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21