bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 10
Isaiah 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 11 →
1
Zibasanze mmwe abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, ne muwandiika ebinyigiriza abantu,
2
ne mulemesa abanaku okusalirwa amazima, era abaavu ababeera mu bantu bange ne mu banyagako ebyabwe, ebya bannamwandu n'ebya bamulekwa ne mu bifuula omunyago gwammwe.
3
Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira w'ani okufuna obuyambi? Era mulikweka wa obugagga bwammwe?
4
Temuliba na kirala kya kukola wabula okubeera awamu n'abasibe, oba okuttirwa mu lutalo ng'abalala. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, Mukama era aliba akyabasunguwalidde, era aliba akyagolodde omukono okubonereza.
5
“Ggwe Assiriya, oli luga lwe nkwata nga nsuguwadde. Omuggo oguli mu ngalo zo, gwe mbonerezesa be nninako ekiruyi.
6
Ndituma Assiriya okulumba eggwanga eritanzisaamu kitiibwa, alumbe abantu be nsunguwalidde. Ndimutuma okunyaga ebintu by'abantu abo, okubatulugunya, n'okubalinnyirira ng'ebitoomi eby'omu nguudo.”
7
“Kyokka Assiriya tagenderera kukola Nze kye njagala, era ye takirowoozanako, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga amangi.
8
Yeewaana nti: ‘Abakulu b'amagye gange bonna, bakabaka.
9
Nawangula Ekibuga Kalino, nga bwe nawangula Karukemisi, n'Ekibuga Hamati, nga bwe nawangula Arupaadi. Nawangula ne Samariya nga bwe nawangula Damasiko,
10
era nagolola omukono gwange ne nfufuggaza ensi za bakabaka ezisinza ebifaananyi ebibajje, ebisinga n'ebyo ebiri mu Yerusaalemu ne mu Samariya.
11
Nga bwe nazikiriza Samariya n'ebifaananyi byamu bye basinza, era bwe ntyo bwe ndizikiriza Yerusaalemu n'ebifaananyi byamu bye basinza.’ ”
12
Afugabyonna agamba nti: “Bwe ndimaliriza kye nkola ku Lusozi Siyooni ne ku Yerusaalemu, ne ndyoka mbonereza kabaka w'Assiriya olw'okwewaana n'okwekuza kwe.
13
Kubanga agamba nti: ‘Ekyo nze nakikola. Ndi wa maanyi, ndi mugezi, era ndi mukalabakalaba. Naggyawo ensalo z'amawanga, ne nnyaga ebyobugagga byago, era ng'omusajja kirimaanyi, ne nninnyirira abatuuze baayo.
14
Amawanga mu nsi yonna nasanga gali ng'ekisu ky'ekinyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro, wadde ekyasamya kamwa okukaaba okukanga!’
15
Embazzi eyinza okwewaana nti ye esinga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza ku muntu agusazisa? N'oluga si lwe luwuuba oyo alukwata, wadde omuggo okusitula omuntu.”
16
N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye alisindika obulwadde obukozza mu basajja abagevvu aba kabaka w'Assiriya. Era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya.
17
Mukama oyo ekitangaala kya Yisirayeli, aliba omuliro. Katonda Omutuukirivu wa Yisirayeli aliba ennimi z'omuliro, ogulyokya ne gumalawo mu lunaku lumu abo abali ng'amaggwa n'emyeramannyo.
18
Alizikiriza eggye eriri ng'ekibira n'ennimiro eŋŋimu, ebiweesa Assiriya ekitiibwa, n'asaanyaawo obulamu n'omubiri, ng'ekirwadde kattira bwe kizikiriza omuntu.
19
Emiti egirisigalawo mu kibira ekyo ekya Assiriya, giriba gyamunaganwa, n'omwana omuto ng'ayinza okugibala.
20
Ekiseera kirituuka, abo abaliba basigaddewo ku Bayisirayeli, abawonyeewo ku bazzukulu ba Yakobo, ng'obwesige bwabwe tebakyabuteeka mu ggwanga eryo eryabawangula, wabula nga mu mazima babuteeka mu Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli.
21
Abatonotono abaliwonawo ku bazzukulu ba Yakobo, balidda eri Katonda ow'amaanyi.
22
Newaakubadde nga kaakano Abayisirayeli bangi ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja, naye kitundu butundu ekiriwonawo ku bo kye kirikomawo. Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde.
23
Ddala Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye ajja kuleeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga bwe yategeka okukikola.
24
N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye agamba nti: “Mmwe abantu bange, ababeera mu Siyooni, temutya Bassiriya, newaakubadde nga babanyigiriza ne babatulugunya, ng'Abamisiri bwe baakolanga.
25
Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, ndekere awo okubasunguwalira mmwe, olwo bo obusungu bwange bulyoke bubazikirize.
26
Nze Mukama Nnannyinimagye ndibakuba bo ne mbabonereza, nga bwe nattira Abamidiyaani ku Lwazi lw'e Orebu. Ndibatta nga bwe nattira Abamisiri mu nnyanja.
27
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ndibatikkula mmwe omugugu, Abassiriya gwe baabatikka ku kibegabega, n'ekikoligo kye baabambika mu bulago. Ekikoligo kirizikirizibwa olw'obugevvu bwammwe.”
28
Omulabe atuuse e Ayi, ayise mu Migironi, ebintu bye abiterese e Mikumasi.
29
Bayisizza awavvuunukirwa, ne basula e Geba. Ab'omu Kibuga Raama bakankana olw'okutya, ab'omu Kibuga kya Kabaka Sawulo eky'e Gibeya badduse.
30
Muleekaane mmwe ab'e Gallimu! Mutege amatu mmwe ab'e Layisa! Nga zibasanze mmwe ab'e Anatooti!
31
Ab'e Madumenna badduse, n'ab'omu Gebimu banoonya gye banaddukira.
32
Olwaleero omulabe anaasula Noobu. Yeewerera Olusozi Siyooni, aluubirira Ekibuga Yerusaalemu.
33
Laba, Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye alibawanulayo ng'ettabi eritemwa ku muti ne ligwa. Abawanvu abawagguufu, balitemebwa ne bagwa, n'abagulumivu balitoowazibwa.
34
Mukama alibatema n'embazzi, ng'atema emiti mu kibira wakati, Lebanooni ne kisuulibwa ow'amaanyi.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66