bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 8
Isaiah 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
1
Mukama n'aŋŋamba nti: “Kwata ekipande ekinene, okiwandiikeko mu ganyukuta aganene, nti: KUNYAGA MU BWANGU, KUTWALA MU BWANGU.
2
Nze nja kuleeta Wuriya kabona, ne Zekariya mutabani wa Yeberekiya, babe abajulizi bange abeesigwa, okukikakasa.”
3
Awo ne neegatta ne mukyala wange, n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti: “Mutuume erinnya Kunyagamubwangukutwalamangu,
4
kubanga omwana oyo aliba tannamanya kuyita nti ‘Taata’ oba nti ‘Maama’, obugagga bw'e Damasiko, n'ebyo byonna Samariya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka wa Assiriya.”
5
Mukama era n'ayogera nange omulundi omulala, n'aŋŋamba nti:
6
“Abantu bano nga bwe bagaanye amazzi g'akagga Silowa agakulukuta empola, ne basanyukira Rezini ne Peka mutabani wa Remaaliya bajje babayambe,
7
kale Nze Afugabyonna nja kuleeta ku bo amazzi amangi era ag'amaanyi ag'Omugga Ewufuraate, ye kabaka wa Assiriya n'ekitiibwa kye kyonna. Amazzi ago galijja ne gajjuza emikutu gya Buyudaaya gyonna, ne gaalaala ku mbalama zaayo zonna.
8
Galyeyongera ne gakulukuta okutuuka mu Buyudaaya. Galyalaala ne gasituka ne gakoma mu bulago, ne gatuuka eyo n'eyo, ne gajjuza ensi yo yonna gy'ekoma obugazi, ggwe Emmanweli.”
9
Mwekuŋŋaanye mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka.
10
Mukolere wamu olukwe, naye lujja kugwa butaka; mukkaanye ku kye munaakola, naye tekijja kutuukirira, kubanga Mukama ali wamu naffe.
11
Mukama yayogera nange n'obuyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme kugoberera mpisa za bantu bano. Yagamba nti:
12
“Ekyo abantu bano kye bayita okwekobaana, ggwe tokiyita kwekobaana, era totya bye batya, era totekemuka.
13
Mumanye nga Nze Mukama Nnannyinimagye, ndi mutuukirivu. Nze mubanga mutya, era munzisengamu ekitiibwa.
14
Nze kifo ekitukuvu mwe muliwonera. Naye ab'omu bwakabaka bwombi: obwa Yisirayeli n'obwa Buyudaaya, era n'abatuuze b'omu Yerusaalemu nga bwe batakkirizza Nze kubalabirira, ndibafuukira ejjinja kwe beesittala, n'olwazi kwe beekoona ne bagwa, era ndibafuukira omutego n'ekyambika ebibakwasa.
15
Ddala bangi abalinneesittalako ne bagwa, ne bamenyeka. Balitegebwa, ne bakwasibwa.”
16
Mmwe abayigirizwa bange, mukuumire ddala bye mbategeezezza, era munyweze bye mbayigirizza.
17
Nja kulindirira Mukama atuyambe, newaakubadde kaakano akyekwese ab'ennyumba ya Yakobo, kyokka era mu ye mwe nnassa essuubi lyange.
18
Tuutuno, nze n'abaana bange Mukama be yampa. Mukama Nnannyinimagye atuula ku ntebe ye ku Lusozi Siyooni, yatuteekawo tube obubonero n'ebyamagero mu Yisirayeli.
19
Kale bwe babagambanga nti: “Mwebuuze ku basamize n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinyonyi era aboogera obwama,” temumanyi ng'abantu basaana kwebuuza ku Katonda waabwe? Ebifa ku bulamu ate byebuuzibwa ku bafu?
20
Mubaddangamu nti: “Tunywerere ku Mateeka n'ebyokulabirako Katonda bye yatuwa.” Abo aboogera ne batajuliza ebyo nga bwe biri, mazima balifiira mu kizikiza nga tebunnakya.
21
Era banaabungeeteranga mu nsi nga beeraliikirira nnyo, era nga balumwa enjala. Nga bali mu kulumwa enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe. Wadde balitunula waggulu,
22
oba ne batunula wansi ku ttaka, naye tebalibaako kirala kye balaba wabula ennaku n'ekizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66