bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 49
Isaiah 49
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 50 →
1
Muwulirize kye ŋŋamba, mmwe ebizinga, mutege amatu, mmwe amawanga, gye muli eyo ewala. Mukama yampita nga sinnazaalibwa, yampita erinnya nga nkyali mu lubuto lwa mmange.
2
Yafuula ebigambo byange ekitala eky'obwogi, yankweka mu kisiikirize ky'omukono gwe. Yanfuula akasaale akawagale k'aterese mu nsawo ye.
3
Era yaŋŋamba nti: “Ggwe Yisirayeli, ggwe muweereza wange gwe ndiweerwamu ekitiibwa.”
4
Naye nze ne ŋŋamba nti: “Nateganira bwereere, amaanyi gange gaafa busa. Kyokka mazima Mukama ye amanyi ebyange, era Katonda wange ye alimpa empeera.”
5
Kaakano Mukama alina ky'agamba. Mukama oyo ye yammumbira mu lubuto lwa mmange n'antegeka okuba omuweereza we, mmukomezeewo ab'ezzadde lya Yakobo: be bantu be Abayisirayeli, abaasaasaanyizibwa. Anfuula waakitiibwa, era ye Katonda wange, ensibuko y'amaanyi gange.
6
Kale Mukama oyo agamba nti: “Ggwe eky'okuba omuweereza wange okuzzaawo ekitiibwa ky'Ebika by'aba Yakobo, n'okukomyawo Abayisirayeli abawonyeewo, tekimala, naye era ndikufuula ekitangaala eri amawanga, nkukozese okununula ensi yonna.”
7
Mukama Omununuzi era Omutuukirivu wa Yisirayeli ayogera n'oyo abantu gwe banyooma, n'amawanga gwe gakyawa, era omuweereza w'abafuzi. Amugamba nti: “Bakabaka balikulaba ne bayimirira okukussaamu ekitiibwa, n'abakungu balikulaba ne bakuvuunamira, kubanga Mukama omwesigwa, era Omutuukirivu wa Yisirayeli ye yakulonda.”
8
Mukama agamba nti: “Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasiriramu, ne nkuyamba ku lunaku olw'okununulirako. Ndikukuuma ne nkutaasa, era ndiyita mu ggwe okukola endagaano n'abantu bonna. Olibbulula ensi, n'oddamu okugaba ebitundu byayo, ebyalekebwa awo ettayo
9
n'ogamba abasibe nti: ‘Mufulume ekkomera,’ n'abo abali mu kizikiza nti: ‘Mujje mu kitangaala.’ Baliba ng'endiga ezifuna kye zirya ne mu makubo mwe ziyita, era ezirina amalundiro gaazo ku nsozi nnyingi ezeetadde.
10
Tebaalumwenga njala wadde ennyonta. Omusana n'olubugumu tebiibakolenga kabi, kubanga Oyo abakwatirwa ekisa, alibakulembera, n'abatuusa ku nsulo z'amazzi.
11
“Ensozi zange zonna ndizitemamu amakubo, ne nnima enguudo, abantu bange mwe balitambulira.
12
Mulabe, abantu bange abo baliva wala: abamu baliva ebukiikakkono n'ebugwanjuba, n'abamu mu nsi y'e Sinimu.”
13
Yimba, ggwe eggulu era sanyuka, ggwe ensi. Mubaguke muyimbe, mmwe ensozi, kubanga Mukama agumizza abantu be. Alikwatirwa ekisa ababe ababonyaabonyezebwa.
14
Naye Ekibuga Siyooni kigamba nti: “Mukama anjabulidde era Mukama anneerabidde.
15
Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, n'atakwatirwa kisa omwana we gw'azaala? Weewaawo abakazi bayinza okwerabira abaana baabwe naye Nze siikwerabirenga ggwe.
16
Ggwe ekibuga Siyooni laba nkoze ekifaananyi kyo mu bibatu by'emikono gyange, ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo.
17
“Abantu bo abalikuzimba obuggya banguwa okujja; abo abaakuzikiriza ne bakufuula amatongo, balikuvaamu ne bagenda.
18
Yimusa amaaso go otunule ku njuyi zonna, olabe. Abo bonna beekuŋŋaanya wamu ne bajja gy'oli. Nze Mukama, nga bwe ndi omulamu, tolirema kubeeyagaliramu ne weenyumiriza ng'omugole ayambadde eby'obuyonjo ebiteŋŋeenya.
19
“Weewaawo ensi yo yali ezise, ng'efuuse matongo, naye kaakano eriba nfunda etegyamu balijja kugibeeramu. Era abo abaaleka bakuzikirizza, balikwesamba ne babeera wala.
20
Abantu bo abaazaalirwa mu buwaŋŋanguse balikugamba nti: ‘Ensi mwe tuli efunze nnyo, tuwe we tunaabeera.’
21
Olwo n'oyogerera mu mutima gwo, nti: ‘Ani yanzaalira bano bonna? Kubanga nafiirwa abaana, ne nsigalawo bwomu. Nali mu buwaŋŋanguse nga mbungeeta eno n'eri. Kale ani yakuza abaana bano? Ddala, nasigala bwomu, bano baali ludda wa?’ ”
22
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndiwenya ku b'amawanga n'omukono gwange, ne mbateerawo bbendera yange. Balireeta batabani bammwe nga babawambaatidde mu bifuba byabwe, ne bawala bammwe balikongojjerwa ku bibegabega.
23
Bakabaka balibalabirira mmwe nga bakitammwe, ne bannaabakyala baabwe ne babalabirira mmwe nga bannyammwe. Balivuunama mu maaso gammwe, ne babeetoowaliza nnyo, ne bakomba enfuufu eri wansi w'ebigere byammwe. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, era nga buli annindirira okumuyamba, talikwatibwa nsonyi.”
24
Ow'amaanyi oyinza okumuggyako omunyago, oba okuta abawambiddwa omukambwe?
25
Kyokka Mukama agamba nti: “Ekyo kyennyini kye kigenda okubaawo. Ow'amaanyi be yawamba baliggyibwayo, n'abo abaanyagibwa ow'entiisa, baliteebwa. Ndilwanyisa oyo abalwanyisa mmwe era ndinunula abaana bammwe.
26
Abakujoonyesa ggwe Siyooni, ndibaleetera okwetta bokka nga batamidde ettemu n'obusungu. Olwo abantu bonna balimanya nga Nze Mukama, Omulokozi, era Omununuzi wammwe, nga Nze Katonda ow'amaanyi owa Yakobo.”
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 50 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66