bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 36
Isaiah 36
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 37 →
1
Awo olwatuuka, mu mwaka ogw'ekkumi n'ena nga Heezeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Sennakeribu kabaka wa Assiriya n'alumba ebibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo ebigumu, n'abiwangula.
2
Awo kabaka wa Assiriya oyo n'alagira omukungu we omukulu, ave e Lakisi ng'alina eggye eddene, agende e Yerusaalemu eri Kabaka Heezeekiya. Omukungu oyo bwe yatuukayo, n'agumba mu luguudo ku mabbali g'omukutu gw'ekidiba eky'engulu, awali ekifo ky'omwozi w'engoye.
3
Awo abakungu basatu Abayudaaya, Eliyakimu mutabani wa Hilukiya eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi mu lubiri, ne Yoowa, mutabani wa Asafu, eyali omukuumi w'ebiwandiiko, ne bajja okumusisinkana.
4
Omukungu oyo Omussiriya n'abagamba nti: “Kaakano mugambe Heezeekiya nti: ‘Kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya akubuuza nti kiki kye weesiga?
5
Okwogera obwogezi kwe kunadda mu kifo ky'amagezi n'amaanyi ag'okulwana olutalo? Ani kale gwe weesiga n'okutuuka okunjeemera?
6
Laba Misiri gwe weesiga lwe lumuli olwatifu, olufumita ebibatu by'oyo alwesimbaggirizaako ng'omuggo. Bw'atyo kabaka wa Misiri bw'ali eri bonna abamwesiga.’
7
“Naye bw'oŋŋamba nti: ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye wuuyo Heezeekiya gwe yaggyako ebifo bye bamusinzizaamu, era ne zaalutaari ze, Heezeekiya oyo n'agamba abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari eno yokka.’
8
Kale kaakano ka mbasoomoze ku lwa mukama wange kabaka wa Assiriya: nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe bw'onooyinza okuzuulayo abazeebagala.
9
Ggwe atasobola na kwaŋŋanga wadde omu ku bakungu asembayo obunafu mu ggye lya mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi!
10
Era kaakano olowooza nga nnumbye ensi eno okugizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti: ‘Lumba ensi eyo ogizikirize.’ ”
11
Awo Eliyakimu ne Sebuna, ne Yoowa, ne bagamba omukungu Omussiriya nti: “Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi Olwaramayika, kubanga tulumanyi, naye toyogera naffe mu lwaffe Olwebureeyi ng'abantu abali ku kisenge bawulira.”
12
Kyokka omukungu Omussiriya n'addamu nti: “Mulowooza nga mukama wange antumye kubuulira mukama wammwe, nammwe mwekka ebigambo bino? Antumye kubuulira n'abasajja abo abali ku kigo ky'ekibuga, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe, n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.”
13
Awo omukungu oyo n'ayimirira n'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olwebureeyi nti: “Muwulire kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya ky'agamba.
14
Kabaka oyo abalabula nti: ‘Heezeekiya aleme kubalimbalimba kubanga tayinza kubawonya.
15
Era aleme kubasendasenda kwesiga Mukama, ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya, n'ekibuga kino tekiiweebweyo mu mikono gya kabaka wa Assiriya.’
16
Temuwuliriza Heezeekiya, kubanga kabaka wa Assiriya agamba nti: ‘Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi. Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye n'eby'emitiini gye, era munaanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe,
17
okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi erimu eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu, ensi erimu emigaati, n'ennimiro z'emizabbibu.’
18
Mwegendereze, Heezeekiya aleme kubaguyaaguya ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya. Waliwo lubaale n'omu mu balubaale b'amawanga, eyali asobodde okuwonya ensi ye, n'agiggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya?
19
Bali ludda wa balubaale ba Hamati ne Arupaadi? Bali ludda wa balubaale b'e Sefarivayimu? Balubaale ba Samariya baakiwonya ne bakiggya mu mikono gyange?
20
Baani ku balubaale bonna ab'ensi ezo, abaali bawonyezza ensi yaabwe okugiggya mu mikono gyange, Mukama alyoke asobole okuwonya Yerusaalemu okukiggya mu mikono gyange?”
21
Naye ne basirika, ne batamuddamu kigambo, kubanga kabaka yali alagidde nti: “Temubaako kye mumuddamu.”
22
Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya era eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoowa mutabani wa Asafu, era eyali omukuumi w'ebiwandiiko ebitongole, ne bajja eri Heezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne bamubuulira ebigambo omukungu wa Assiriya by'ayogedde.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66