bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 66
Isaiah 66
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 65
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
1
Mukama agamba nti: “Eggulu ye ntebe yange ey'obwakabaka, n'ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Kale nnyumba ya ngeri ki gye mulinzimbira? Era kifo kya ngeri ki mwe ndiwummulira?
2
Ebintu byonna okubaawo nga bwe biriwo, byonna Nze nabitonda. Naye omuntu gwe nzisaako omwoyo ye mwetoowaze era aboneredde, anzisaamu ekitiibwa era akola nga bwe ndagira.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
3
“Abantu bye baagala, bye beekolera. Tebalina bye baggyamu njawulo! Oli bw'atambira ente, aba kimu n'oyo atambidde omuntu. Oyo awaayo ekitambiro eky'endiga ento, tabaako njawulo n'oyo amenya obulago bw'embwa. Oyo aleeta ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, aba kimu n'oyo aleeta omusaayi gw'embizzi. Oyo anyookeza obubaane, abeera kimu n'oyo asaba ekifaananyi kya lubaale omukisa. Kye baagala kye beekolera, era basanyukira ebyenyinyalwa bye bakola.
4
Kale nange ndibatuusaako ebyo byennyini ebibakosa era bye batya, kubanga bwe nakoowoola, tewaali n'omu yayitaba. Bwe nayogera, tewaali yafaayo kuwulira, naye ne bakola bye mbagaana, ne balondawo ebitansanyusa.”
5
Muwulire Mukama ky'agamba mmwe abassaayo omwoyo okukola by'alagira: “Bannammwe ababakyawa era ababagobaganya mmwe olw'okuba abeesigwa gye ndi, babakudaalira nga bagamba nti: ‘Mukama abataase mmwe, alage bw'ali omukulu, tulyoke tulabe bwe musanyuka.’ Naye bo bennyini be baliswala.
6
Muwulire okuyoogaana okuva eri mu kibuga, eddoboozi eriva mu Ssinzizo, eddoboozi lya Mukama ng'abonereza abamukyawa.
7
“Ekibuga kyange Siyooni kiri ng'omukazi azaala nga tannaba kulumwa kuzaala. Ebisa biba tebinnamuluma, n'akubawo omwana ow'obulenzi.
8
Ani yali akiwuliddeko ekyo? Ani yali alabye ekiri ng'ekyo? Eggwanga litandikawo mu lunaku lumu, ne lizaalibwa omulundi gumu? Ye Siyooni yali kyajje alumwe, n'azaala abaana be.
9
Ndituusa abantu bange mu kaseera ak'okuzaalibwa, ne sibaleka kuzaalibwa ne mbalekayo mu nda?” Mukama Katonda wammwe bw'atyo bw'agamba.
10
Musanyukire wamu ne Yerusaalemu, musagambize ku lulwe, mmwe mwenna abamwagala. Mwetabe wamu mu ssanyu lye mmwe mwenna abamulumirwa,
11
mulyoke muyonke mukkute amabeere ge agajjudde; mulyoke muwulire essanyu mu kitiibwa kye ekisukkirivu.
12
Kubanga Mukama agamba nti: “Ndijjuza ebirungi mu Yerusaalemu bikulukute ng'omugga, n'obugagga bw'amawanga buliyiika mu kyo ng'omugga ogwanjaala. Olwo nammwe muliyisibwa ng'omwana omuwere ayonsebwa nnyina: muliwambaatirwa, ne mubuusibwabuusibwa ku maviivi ge.
13
Ndibabudaabudira mmwe mu Yerusaalemu, nga nnyina w'omwana bw'abudaabuda omwana we.
14
Ekyo mulikiraba ne musanyuka, ne kibazzaamu amaanyi n'obulamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, nnyamba abo abampulira, era nsunguwalira abalabe bange.”
15
Kale mulabe: Mukama alijja n'omuliro, nga yeebagadde amagaali agali nga kibuyaga ng'ajja okulaga obusungu bwe obuliko n'ekiruyi, n'okubonereza ng'akozesa ennimi ez'omuliro.
16
Kubanga Mukama abantu bonna alibabonereza na muliro era na kitala, era b'alitta, baliba bangi.
17
Mukama agamba nti: “Abo abeetukuza ne beerongoosa, okugenda ku mikolo mu nnimiro nga basimbye ennyiriri, ne balya ennyama y'embizzi, n'emmese, n'ebirala ebyenyinyalwa, balisaanyizibwawo wamu.
18
Nze bye bakola mbimanyi ne bye balowooza. Ekiseera kijja kutuuka lwe ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna n'aboogera ennimi eza buli ngeri. Kale bwe balijja, baliraba ekitiibwa kyange,
19
ne mbaako kye ndibakolako. Abo abaliwonawo ku bo, ndibatuma mu mawanga, ne mu bizinga ebiri ewala gye batawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. Baligenda e Tarusiisi, e Puuli n'e Luudi eri abaleega emitego gy'obusaale; e Tubali n'e Yavani, ne balangirira ekitiibwa kyange mu mawanga ago.
20
Balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna, okubantonera Nze Mukama, ku Lusozi lwayo Olutukuvu Yerusaalemu. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali, ne ku nnyinyo, ne ku nnyumbu, ne ku nsolo ezidduka embiro, ng'Abayisirayeli bwe baleeta ebiweebwayo mu Ssinzizo, nga biri mu bintu ebirongoofu.
21
Abamu ku bo ndibafuula bakabona n'Abaleevi.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
22
“Ng'eggulu eppya n'ensi empya bye ndikola, bwe birisigalawo mu maaso gange, bwe lityo n'ezzadde lyammwe era n'erinnya lyammwe bwe lirisigalawo.
23
Buli omwezi lwe guboneka, ne ku buli Sabbaato, abantu bonna banajjanga okusinza mu maaso gange.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
24
“Bwe banaabanga bavaayo, banaalabanga emirambo egy'abantu abanjeemera. Envunyu ezibalya tezirifa, n'omuliro ogubookya tegulizikizibwa, era baliba kyenyinyalwa eri abantu bonna.”
← Chapter 65
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66
Recommended Reading
Commentary
Isaiah Commentaries
→
Devotional
Isaiah Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→