bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 22
Isaiah 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 23 →
1
Bino bye byalangibwa nga bifa ku kiwonvu ky'Okulabikirwa: Kiki ekibatuuseeko, ekibalinnyisizza ku busolya bw'ennyumba?
2
Ggwe ekibuga ekijjudde okuleekaana, ekikyankalanye, ekiri mu kwesiima, abantu bo abattiddwa tebattiddwa kitala, wadde okufiira mu lutalo.
3
Abakulembeze bo bonna, baddukira wamu ne bawambibwa nga tebalasizza na kasaale, bonna abasangiddwa mu ggwe bawambiddwa wamu, wadde baali baddukidde wala.
4
Kyenva ŋŋamba nti: Muveewo, temuntunuulira! Mundeke ndire, nkungubage. N'okunkubagiza temutegana olw'abantu bange be nfiiriddwa.
5
Kino kiseera kya kwaziirana era kya kunyigirizibwa; kiseera kya kusoberwa, Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye ky'atutuusizzaako mu Kiwonvu ky'Okulabikirwa! Ebisenge by'ekibuga kyaffe bimenyeddwa, emiranga gy'abasaba obuyambi ne giwulirwa mu nsozi.
6
Abaserikale ab'omu nsi Elamu bajjira ku magaali wamu n'abeebagadde embalaasi nga bambalidde emitego n'obusaale. N'abaserikale ab'e Kiiri, engabo, bajja na nsabuukulule.
7
Awo ebiwonvu bya Buyudaaya ebisingayo obugimu, amagaali ne gabijjulamu. Abeebagadde embalaasi ne batalira mu miryango gy'Ekibuga Yerusaalemu.
8
Eby'okwerinda kwa Buyudaaya ne biba nga biggyiddwawo. Kale ebyo bwe byaba bityo, olwo ne mukyukira ebyokulwanyisa ebyali mu luyitibwa Olubiri lw'ekibira.
9
Mwalaba ebituli ebingi ebyakubwa mu Kibuga kya Dawudi, era ne mukuŋŋaanyiza wamu amazzi ag'omu Kidiba Ekyawansi.
10
Ne mubala mu Yerusaalemu amayumba gaamu gonna agalimu, ne mumenyaamenya ku gamu, mugafunemu bye mukozesa okuziba buli awaabomoka.
11
Ne musima oluzzi mu kibuga wakati, mwe muba mukuumira amazzi agava mu kidiba kye mwalinawo edda. Naye ne mutafa ku Oyo eyategeka bino obw'edda, era eyasalawo nti bibeewo.
12
Era mu kiseera ekyo, Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye yali abayita mmwe mukaabe amaziga mukungubage, mwemwe emitwe, mwambale ebikutiya.
13
Naye mu kifo ky'ebyo, mmwe muzze mu ssanyu na kujaguza, kwettira nte na ndiga ne mulya ennyama, ne munywa omwenge, nga mugamba nti: “Ka tulye era tunywe kubanga enkya tujja kufa.”
14
Mukama Nnannyinimagye yennyini yaŋŋamba nti: “Mazima ekyonoono ekyo tekiribasonyiyibwa mmwe, okutuusa lwe mulifa.” Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye bw'atyo bw'agamba.
15
Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye agamba nti: “Genda eri Sebuna oyo omuwanika akulira abakungu mu Ggwanga, omugambe nti:
16
‘Wano olinawo ki era olinawo ani otuuke n'okwesimira entaana mu lwazi?
17
Kale Mukama alikuvumbagira wadde wafuna obukulu, n'akukasuka lwa maanyi.
18
Ddala alikyuka n'akuwuuba n'akukasuka ng'omupiira n'akusuula mu nsi engazi. Eyo gy'olifiira, era eyo ye walisigala amagaali ge weenyumirizaamu. Olikwasa ensonyi ab'ennyumba ya mukama wo.
19
Mukama alikuggya ku bukulu bwo, n'akuwanula mu kifo kyo ekyawaggulu.’ ”
20
Mukama yagamba Sebuna nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka ndiyita omuweereza wange Eliyakimu mutabani wa Hilukiya,
21
ne mmwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo ne mmuwa obuyinza bwonna bw'obadde olina. Aliba nga kitaawe w'abo ababeera mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya.
22
Ndimuwa obuyinza obujjuvu okulabirira eby'omu bwakabaka bwa Dawudi, ne mmuwa ebisumuluzo, nga bw'aggulawo tewaba mulala aggalawo, era nga bw'aggalawo tewaba mulala aggulawo.
23
Ndimukomerera ng'enkondo n'anywera mu kifo kye, era aliweesa ekitiibwa ab'ennyumba ya kitaawe.
24
“Naye baganda be bonna na buli wa lulyo lwe, balimutikka buli kizibu eky'ab'ennyumba ya kitaawe. Bonna balyerippa ku ye ng'obuleku n'ennyendo era n'ebita byonna bwe biwanikibwa ku nkondo.”
25
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, enkondo eyali ekomereddwa mu kifo kyayo n'enywera, erisimbukayo n'egwa, era eyo ye eriba enkomerero y'ebyo ebigiwanikiddwako.” Mukama ye ayogedde.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66