bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 30
Isaiah 30
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 31 →
1
Mukama agamba nti: “Zibasanze abaana abajeemu, abagoberera entegeka ze sikoze, era abakola endagaano ey'enkolagana n'abalala nga Nze sikkirizza, ne bongera ekibi ku kibi.
2
Bagenda basabe obuyambi e Misiri nga tebanneebuuzizzaako. Beesize amaanyi ga Misiri, ne bagenda eri Kabaka waayo okumusaba abakuume.
3
Amaanyi ga kabaka w'e Misiri kyegaliva gabafuukira ensonyi, n'okwesiga okukuumibwa Misiri, ne kubaleetera okuswala.
4
Newaakubadde ababaka baabwe bamaze okutuuka mu bibuga Zowani ne Hanesi ebya Misiri,
5
abantu ba Buyudaaya balikwatibwa ensonyi, olw'okwesiga abantu abatayinza kubagasa wadde okubayamba, naye ab'okubaswaza n'okubaleetera okunenyezebwa.”
6
Kino kye kyalangibwa nga kifa ku nsolo ez'omu bukiikaddyo: ababaka bayita mu nsi ey'emitawaana n'obubenje, erimu empologoma ensajja n'enkazi, n'emisota egy'obusagwa, n'egibuuka era egiwandula omuliro. Batikka ebyobugagga byabwe ku ndogoyi n'ebintu byabwe eby'omuwendo ennyo ku mabango g'eŋŋamiya, babitwalire abantu abo abatagenda ku bagasa.
7
Obuyambi bwe banaafuna e Misiri bujja kubafa bwereere, tebuliiko kye bugasa. Kyenvudde mpita Misiri Ekikulejje Rahabu ekitaluma.
8
“Kale genda okiwandiike ku kipande nga balaba, era okiwandiike ne mu kitabo, kibe obujulizi obw'olubeerera obukakasa obujeemu bw'abantu bano.
9
Bulijjo abantu bano bajeemu, abakolera ku bulimba. Bulijjo tebakkiriza kugondera Mateeka ga Mukama.
10
Bagamba abalabikirwa era n'abalanzi nti: ‘Mukomye okulabikirwa Temulanga bituufu bye mulaba. Temutubuulira bya mazima wabula ebyo ebitunyumira. Mulange ebitulimba.
11
Temutwekiika mu maaso, kuziba kkubo lyaffe. Mulekere awo okutulaga Omutuukirivu wa Yisirayeli.’ ”
12
Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Nga bwe munyoomye ebyange ne musiima okujooga n'okukola eby'effujjo, ne mweyinula ebyo,
13
muzzizza musango ogubafudde ekisenge ekigulumivu ekizzeemu olwatika. Mujja kubomoka mugwe mangwago.
14
Mulyatika ng'ekintu eky'ebbumba ne mumenyekamenyeka, obutasigalawo katundu ka luggyo kayinza kusena muliro mu kyoto, wadde amazzi mu kidiba.”
15
Mukama Afugabyonna Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Mudde gye ndi, muweere, olwo Nze ndyoke mbayambe. Mutereere, munneesige, mulyoke mube ba maanyi.” Naye mmwe mugaanye!
16
Mugamba nti: “Nedda! Tujja kwebagala embalaasi tudduke abalabe baffe.” Kituufu mujja kudduka. Embalaasi zammwe mulowooza nga zidduka nnyo. Naye ez'abo ababawondera ze zisinga okuba n'embiro.
17
Omu bw'alibaboggolera, mmwe mulidduka lukumi. Bwe muliboggolerwa abataano, olwo mwenna mulidduka, ne musigala kinnoomu ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, ne bbendera eri ku kasozi.
18
Wabula Ye Mukama alinze ng'ayagala abakwatirwe ekisa. Yeetegese okubasaasira, kubanga Mukama Katonda bulijjo by'akola byonna bituufu. Beesiimye wamma bonna abamwesiga.
19
Mmwe abantu ba Siyooni ababeera mu Yerusaalemu, temukyaddamu kukaaba maziga. Mukama alibakwatirwa ekisa: alibawa kye mumusaba oluliwulira nga mukaaba.
20
Newaakubadde Mukama alibaleka okulaba ennaku n'okubonaabona, kyokka ye yennyini alibayigiriza. Era Ye, Omuyigiriza wammwe, mulimulaba, talibeekweka.
21
Bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, munaawuliranga eddoboozi lye eribava emabega nga ligamba nti: “Lino lye kkubo, lye muba mutambuliramu.”
22
Olwo mulizikiriza ebifaananyi ebyole ebibikkiddwako ffeeza, n'ebifaananyi ebiweese ebya zaabu, ne mubyeggyako ne mubisuula ng'ebintu ebitali birongoofu, nga mugamba nti: “Mugende butadda!”
23
Olwo buli lwe munaasiganga ensigo zammwe, Mukama anaatonnyesanga enkuba, zikule, abawe okukungula ebirime ebigimu era eby'ekyengera ekingi. N'amagana gammwe ganaaliiranga mu malundiro amagazi.
24
Era ente zammwe n'endogoyi ze mulimisa mu nnimiro, zinaalyanga birimu omunnyo nga bimaze na kuwewebwa ne mutaba bisusunku.
25
Ebigo by'abalabe bammwe bwe birigwa era ne battibwa bangi, amazzi mangi amalungi galikulukuta nga gava mu nsozi empanvu, ne mu busozi obugulumivu.
26
Ku lunaku Mukama lw'alisibirako ebinuubule n'ebiwundu by'abantu be n'abawonya obulumi bwabwe, omwezi gulyaka nga njuba, n'ekitangaala ky'enjuba kiryeyongera emirundi musanvu: eky'omu lunaku olumu, kibe ng'eky'ennaku omusanvu.
27
Obuyinza bwa Mukama n'ekitiibwa kye birengererwa wala, omuliro n'omukka ne biraga obusungu bwe obwokya. Ebigambo by'ayogera biba muliro ogwaka.
28
Akulembezaamu kibuyaga w'omukka gwe gw'assa, ali ng'omugga ogwanjaala amazzi ne gakoma mu bulago, n'ayerawo buli ggwanga ly'alumbye n'alizikiririza wamu n'entegeka zaalyo eziwabya.
29
Naye mmwe muliyimba oluyimba, ng'oluyimbibwa mu kiro ky'embaga entukuvu. Muliba basanyufu ng'abo abatambulira ku luyimba lw'endere, nga bambuka Olusozi lwa Mukama, Olwazi Yisirayeli mwe yeewogoma.
30
Mukama aliwuliza bonna eddoboozi lye eryekitiibwa, era aliraga amaanyi g'obusungu bwe. Walibaawo ennimi ez'omuliro ezookya buli kye zisanga ebimyanso by'omu bire n'okubwatuka ne kibuyaga ne nkuba omuli omuzira.
31
Abassiriya balitya bwe baliwulira eddoboozi lya Mukama ng'ababonereza n'amaanyi ag'obusungu bwe.
32
Mukama aliba abakuba n'emiggo okubabonereza, nga bo abantu be bacacanca na nnyimba ku bitaasa n'ennanga. Mukama yennyini ye alirwanyisa abalabe abo Abassiriya, ng'akozesa ebyokulwanyisa ebitiisa.
33
Ettambiro eddene Tofeti lyategekebwa kuva dda. Lya kyoto ekiwanvu ekinene nga mulimu n'enku nnyingi. Mwe mulyokerwa kabaka w'Assiriya. Mukama alifuuwa omukka oguli ng'obuganga bw'ebibiriiti, ne gukikoleezaako omuliro.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66