bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 63
Isaiah 63
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 62
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 64 →
1
“Ani ono ava mu Kibuga Bozira eky'omu nsi Edomu? Ani ono ayambadde ebyambalo ebinnyike mu ddagala, ali mu ngoye ezeekitiibwa ng'atambuza maanyi ge amangi?” 1:11-12; Ob 1-14; Mal 1:2-5 “Ye Nze Mukama alina obuyinza okununula, era azze okulangirira obuwanguzi bwange.”
2
“Lwaki engoye zo zimyuse ng'ez'oyo asamba emizabbibu mu ssogolero?”
3
Mukama n'addamu nti: “Nsambye amawanga ng'asamba essogolero obwomu nzekka, nga mu bantu tewali annyamba. Ddala nagasamba ne ngalinnyirira mu busungu bwange n'ekiruyi, omusaayi gwago ne gummansukira, engoye zange zonna ne zijjula amabala.
4
Nasalawo nti ekiseera eky'okununula abantu bange n'okubonereza abalabe baabwe, kituuse.
5
Bwe namagamaga, neewuunya okulaba nga tewali annyamba. Naye obusungu bwange ne bumpa amaanyi, ekiruyi kyange ne kinsobozesa okuwangula.
6
Ne nninnyirira amawanga mu busungu bwange, ne ngabetenta mu kiruyi kyange, ne njiwa ku ttaka omusaayi ogubawa obulamu.”
7
Ka nnombojje eby'ekisa Mukama by'akoze. Ka ntendereze Mukama olw'ebyo byonna by'atukoledde, era olw'ekisa ekingi ky'alaze ab'ennyumba ya Yisirayeli ne by'abakoledde, olw'okusaasira kwe n'olw'ekisa kye ekijjudde okwagala okungi.
8
Mukama yagamba nti: “Mazima bano be bantu bange, abatalifuuka bakuusa.” Kale n'aba Omulokozi waabwe.
9
Yabalumirwa mu kubonaabona kwabwe kwonna, Ye yennyini, sso si malayika we, n'abawonya. Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula, n'abalabiriranga, n'abakwatirangako mu nnaku zaabwe zonna okuva edda.
10
Kyokka bo ne bajeema, ne banakuwaza Mwoyo we Omutuukirivu, kyeyava akyuka n'afuuka omulabe waabwe, ye yennyini n'abalwanyisa.
11
Awo abantu be ne bajjukira ebyaliwo edda, mu biseera bya Musa, ne bagamba nti: “Mukama ali ludda wa eyabasomosa ennyanja, wamu n'abakulembeze b'abantu be? Ali ludda wa oyo eyateeka Mwoyo we Omutuukirivu wakati mu bo?
12
Mukama ali ludda wa eyakozesa obuyinza bwe, n'akola eby'amaanyi ng'ayita mu Musa, n'ayawulamu amazzi g'ennyanja nga balaba, okwekolera erinnya eritalyerabirwa?”
13
Yabayisa mu nnyanja wakati nga tebeesittala, ng'embalaasi bw'eyita mu ddungu.
14
Ng'ente ezitwaliddwa mu kiwonvu ekigimu, ne Mwoyo wa Mukama bwe yawa bw'atyo abantu be okuwummula. Yabakulembera okuweesa erinnya lye ekitiibwa.
15
Ayi Mukama, tutunuulire ng'osinziira mu ggulu, olabe ng'osinziira eyo gy'oli mu butuukirivu bwo ne mu kitiibwa kyo. Obunyiikivu bwo mu kutuyamba buli ludda wa? N'ebikolwa byo eby'amaanyi biri ludda wa? Otuggyeeko okwagala kwo n'okusaasira kwo?
16
Ddala Ggwe Kitaffe. Aburahamu jjajjaffe ne bw'aba nga tatumanyi, ne Yisirayeli ng'atwegaana, Ggwe, ayi Mukama, Ggwe Kitaffe, Omununuzi waffe, okuva ddi na ddi.
17
Ayi Mukama, lwaki otuleka okuwaba ne tuva mu kkubo ly'otulaga? Lwaki okakanyaza emitima gyaffe ne tukuvaako? Ddayo ku nkola yo ey'edda ku lw'abaweereza bo, abantu ababo ku bubwo, ab'omu bika bya Yisirayeli.
18
Ffe ab'eggwanga lyo ettukuvu, ekifo kyo ekitukuvu twakirina kaseera buseera, abalabe baffe ne bakirinnyirira.
19
Tufuuse ng'abo b'otobeerangako mufuzi waabwe, ng'abatabeerangako bantu bo.
← Chapter 62
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 64 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66