bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 14
Isaiah 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
1
Mukama aliddamu okukwatirwa ekisa aba Yakobo, addemu okulonda Abayisirayeli babe bantu be, era alibazzaayo mu nsi yaabwe, mwe baba babeera. N'abagwira balijja ne babeeranga wamu ne bazzukulu ba Yakobo abo, ne babeekwatirako ddala.
2
Amawanga mangi galiyamba Abayisirayeli okuddayo mu nsi yaabwe, Mukama gye yabawa, era ab'amawanga amalala baliba abaddu n'abazaana okubaweerezanga. Abayisirayeli baliwamba abo abaabawambanga, era banaafuganga abo abaabajoonyesanga.
3
Ekiseera kirituuka, Mukama n'abawa mmwe okuwummula mu kubonaabona ne mu kutegana, ne mu mirimu emikakali gye mwawalirizibwanga okukola.
4
Mulikudaalira kabaka wa Babilooniya, nga mugamba nti: “Omufuzi kalibukambwe akomye? N'obukambwe bwe kati lufumo?
5
Mukama akomezza obuyinza bw'ab'effugabbi, amenye omuggo gw'obwakabaka bwabwe
6
abaatulugunyanga n'obukambwe amawanga olutata, abaafuganga n'ekiruyi amawanga nga bafuuse bannantagambwako?
7
Ensi yonna kaakano ewummudde, eteredde ntende. Abantu babaguka ne bayimba.
8
Ddala emisizi gijaganya olw'okugwa kwo, n'emivule gy'oku Lebanooni gigamba nti: ‘Kasookedde ofa, tewakyali atutema!’
9
“Ab'emagombe wansi, bagugumuse ku lulwo, okukwaniriza ng'ojja. Bagolokosa bonna abaliyo, abaali abafuzi ku nsi. Bonna abaali bakabaka, basituse ku ntebe zaabwe.
10
Bonna abo balisaakaanya ne bakugamba nti: ‘Leero naawe ofuuse munafu nga ffe? Ofaananira ddala nga ffe?
11
Ekitiibwa kyo n'ennyimba ze bakuyimbira, bisse, biri magombe! Weeyalidde nvunyu, era nvunyu ze weebisse!’
12
“Ggwe emmunyeenye y'oku makya, ayaka ennyo n'omyansa, owanuse ku ggulu n'ogwa! Ggwe eyafufuggazanga amawanga, oli ku ttaka omeggeddwa!
13
“Mu mutima gwo walowoozanga ng'olirinnya mu ggulu, osse entebe yo waggulu w'emmunyeenye za Katonda, era ng'olituula ku lusozi balubaale lwe bakuŋŋaanirako, ewala eyo mu bukiikakkono.
14
Wagamba nti olirinnya n'otumbiira era n'ebire n'obiyisa, n'obeerera ddala ng'Oli Atenkanika.
15
Naye ossiddwa magombe, wansi ku ntobo y'obunnya.
16
“Eyo abakulaba, baneewuunyanga ne bagamba nti: ‘Ono ye wuuyo eyakankanyanga ensi, obwakabaka ne buyuuguuma?
17
Ye ono eyazikirizanga ebibuga, ensi n'agifuula eddungu? Ye wuuno ataatanga basibe, kubaleka badde ewaabwe?’
18
“Bakabaka bonna ab'ensi, baziikibwa mu kitiibwa mu masiro ge babazimbidde.
19
Naye ggwe toliiko malaalo, osuuliddwa kuvundira bweru. Obikkiddwa mirambo gy'abo abattiddwa mu lutalo, ng'osuuliddwa wamu nabo mu kinnya ky'amayinja, n'oba omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere.
20
Nga bwe wazikiriza ensi yo, abantu bo n'obatta, toliziikibwa nga bakabaka banno. Ezzadde ly'abakozi b'ebibi liryerabirwa ennaku zonna.
21
Mutegekere abaana be okuttibwa olw'ebibi bya bajjajjaabwe, baleme kuyimuka ne balya ensi, ne bagijjuza yonna ebibuga.”
22
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndirumba Babilooni ne nkizikiriza, kibuleko erinnya n'abawonyeewo, kibuleko omwana n'omuzzukulu. Nze Mukama, bwe ntyo bwe ŋŋambye.
23
Ndifuula Babilooni amaka ga nnamunnungu n'ebidiba by'amazzi, era ndikyera n'olweyo oluzikiriza. Nze Mukama Nnannyinimagye, bwe ntyo bwe ŋŋambye.”
24
Mukama Nnannyinimagye alayidde nti: “Mazima nga bwe ntegese, bwe kinaatuukirira; era nga bwe nsazeewo, bwe kinaakolebwa.
25
Ndittira Abassiriya mu nsi yange, ne mbalinnyirira n'ebigere ku nsozi zange. Olwo ekikoligo kiribavaako mmwe, kye babasibye; n'omugugu gwe babatisse, guliva ku bibegabega byammwe.
26
Ekyo kye ntegekedde ensi, era ngolodde omukono gwange, mbonereze amawanga gonna.”
27
Mukama Nnannyinimagye ky'ateesezza, tewali ayinza kukijjulula, n'omukono gwe ogugoloddwa, tewali ayinza kuguzzaayo.
28
Bino byalangwa mu mwaka, Kabaka Ahazi mwe yafiira.
29
“Mmwe Abafilistiya, temusanyuka wadde ng'omuggo ogwabakuba mwenna gumenyese. Awabadde omusota ogwa nnawandagala waliddawo ssalambwa! Ne mu ggi lyalyo mulivaamu musota ogubuuka mu bbanga, era oguwandula omuliro. 2:4-7; Zek 9:5-7
30
Mukama ye aliba omusumba aliisa abantu be abanaku ennyo; n'abatalina kantu, balibeera mirembe. Kyokka mmwe Abafilistiya, Mukama alibassa enjala. N'abaliba bawonyeewo nabo balittibwa.
31
Muwowoggane, mukaabe mmwe ababeera mu bibuga! Mujja kusaanawo mmwe, Abafilistiya mwenna! Kubanga ekire eky'enfuufu ekiva ebukiikakkono kijja. Eryo lye ggye ly'abalabe, omutali mutiitiizi!
32
Kale ababaka b'eggwanga eryo balyanukulwa batya? Nti ‘Mukama yateekawo Siyooni era mu kyo abantu be abateeyamba mwe baliddukira.’ ”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66