bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 5
Isaiah 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 6 →
1
Kaakano ka nnyimbire muganzi wange oluyimba olufa ku nnimiro ye ey'emizabbibu. Muganzi wange yalina ennimiro ey'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo.
2
Yagikabala bulungi n'alondalondamu amayinja agaalimu, n'agisimbamu emizabbibu emirungi ddala. N'azimba wakati mu yo omunaala ogw'okukuumiramu, n'asimamu essogolero. N'asuubira ng'eneemubalira emizabbibu emirungi, kyokka n'emubalira gikaawa ng'egy'omu nsiko.
3
Muganzi wange oyo agamba nti: “Kale mmwe abatuuze b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya bwonna, mbasaba musale omusango wakati wange n'ennimiro yange ey'emizabbibu.
4
Kiki ekirala kye nandikoledde ennimiro yange eyo ey'emizabbibu kye saagikolera? Kale lwaki bwe nasuubira ebale emizabbibu emirungi, ate yabala gikaawa ng'egy'omu nsiko?
5
“Kaakano ka mbategeeze kye nnaakolera ennimiro yange eyo: nja kuggyawo olukomera lwayo mmenyewo ekigo ekigikuuma ebisolo biriiremu era bigirinnyirire.
6
Era nja kugizisa: emizabbibu tegiisalirwenga, n'omuddo tebaagulimenga. Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa, era ndiziyiza n'ebire okugitonnyesangako enkuba.”
7
Eggwanga lya Yisirayeli ye nnimiro y'emizabbibu eya Mukama Nnannyinimagye, n'abantu b'omu Buyudaaya, kye kirime kye yalima ekimusanyusa. Yabasuubiramu okukola eby'obwenkanya, naye bo baakola bya butemu. Yabasuubiramu okukola ebituufu naye baakola bya kukaabya bantu.
8
Zibasanze mmwe abagula ennyumba ne muzongera ku ezo ze mulina, era abongera ennimiro ku ezo ze mubadde nazo, okutuusa lwe munaamalawo buli kafo, ensi ne mugibeeramu mwekka.
9
Mpulidde Mukama Nnannyinimagye ng'agamba nti: “Ennyumba zino zonna ennyingi, zirifuuka bifulukwa. Ezo ennene era ennungi, tewaliba azibeeramu.
10
Ennimiro y'emizabbibu eya yiika ekkumi, eneevangamu ekibbo kimu. N'ekisero ky'ensigo, kinaavangamu akabbo kamu.”
11
Zibasanze abo abazuukuka ku makya ne bakeera okunoonya ebyokunywa ebitamiiza. Banywa omwenge okuzibya obudde, ne gubalalusa.
12
Embaga zaabwe zibaako ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere n'omwenge. Naye tebalowooza ku ebyo Mukama by'akola era tebabifaako.
13
Kale abantu bange kyebavudde batwalibwa mu buwaŋŋanguse olw'obutabaako kye bamanyi. Abakungu baabwe balifa enjala, n'abantu baabwe bonna ne battibwa ennyonta.
14
Amagombe kye galiva gabeegomba, ne gaasamya akamwa okubamira, abakungu baabwe n'abantu baabwe abangi ababadde bakuba embeekuulo nga basanyuka mu bo, bonna ne bakkirira omwo.
15
Buli muntu aliswazibwa, n'abeekulumbaza balitoowazibwa.
16
Naye Mukama Nnannyinimagye agulumizibwa mu kusalira abantu omusango, era alaga obutuukirivu bwe, ng'akola ebituufu.
17
Endiga ento ziriira mu bifo ebyazika, nga bwe ziriira mu malundiro; era ebifo ebyo eby'abagevvu, abagwira balibyefunira.
18
Zibasanze abo abalemwa okuva mu bibi byabwe, ne bakulula ebibi nga bwe bakulula ekigaali kye basibyemu emiguwa.
19
Bagamba nti: “Mukama ayanguyeeko by'akola tubirabe, Omutuukirivu wa Yisirayeli asambyeko, by'ateesa okutuukiriza tubimanye.”
20
Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n'ekirungi ne bakiyita ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'ekitangaala, n'ekitangaala mu kifo ky'ekizikiza, era abateeka ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa.
21
Zibasanze abo abeemanyi bwe bali abagezi, abeetenda obutegeevu.
22
Zibasanze abo ab'amaanyi mu kunywa omwenge, abazira mu kutabula ebitamiiza.
23
Baggya omusango ku babi olw'enguzi, omutuufu ne batamuwa kimusaanidde.
24
Kale ng'omuliro bwe gwokya ensambu n'essubi ekkalu, bwe bityo ne bye beesigamyeko bwe birivunda, ne bye bakola bwe birifuumuuka ng'enfuufu, kubanga baagaana amateeka ga Mukama Nnannyinimagye; banyooma ekigambo ky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
25
N'olwekyo Mukama asunguwalidde abantu be, era agolodde omukono gwe okubabonereza. Ensozi zijja kukankana, n'emirambo gy'abo abattiddwa gisigale ng'ebisasiro mu nguudo. N'ebyo byonna nga bimaze okubaawo, era obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo.
26
Alitemya ku b'omu mawanga agali ewala. Alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi, ne banguwa mangu okujja.
27
Mu bo tewaliba akoowa, era tewaliba yeesittala kugwa. Tewaliba abongoota, wadde eyeebaka. Enkoba ze beesiba teziriddirira, wadde obuwuzi bw'engatto okukutuka.
28
Obusaale bwabwe bwogi, n'emitego gyabwo gyonna mireege. Ebinuulo by'embalaasi zaabwe, bigumu nga mayinja; ne nnamuziga z'amagaali gaabwe, zidduka nga mbuyaga.
29
Bawuluguma nga mpologoma ekutte ensolo gy'eyizze, n'egyetwalira kyere, ne watabaawo agiwonya.
30
Olunaku olwo bwe lulituuka, baliwuumira ku Yisirayeli, ng'ennyanja bwewuuma. Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo, aliraba kizikiza na buyinike, ng'ebire biziyizizza omusana okwaka.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66