bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 43
Isaiah 43
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 44 →
1
Naye kaakano ggwe Yisirayeli Mukama eyakutonda, agamba nti: “Totya, kubanga nakununula Nakuyita erinnya lyo, oli wange.
2
Bw'oliba oyita mu mazzi amangi ndiba wamu naawe, n'emigga gy'oyitamu tegirikusaanyaawo. Ne bw'oliyita mu muliro, nagwo tegulikwokya. Tolituusibwako kabi,
3
kubanga Nze Mukama Katonda wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, Omulokozi wo. Nawaayo Misiri okuba omusingo ogw'okununula ggwe, ne mpaayo Kuusi ne Seeba mu kifo kyo.
4
Ndiwaayo abantu n'amawanga okuwonya obulamu bwo, kubanga ku Nze oli wa muwendo nnyo era waakitiibwa, era nkwagala nnyo.
5
“Totya, kubanga Nze ndi wamu naawe. Ndikuŋŋaanya abantu bo, ne mbaleeta okubaggya ebuvanjuba n'ebugwanjuba.
6
Ndigamba obukiikakkono okubata, n'obukiikaddyo obutabalemera; abantu bange abasajja n'abakazi balekebwe badde mu nsi yaabwe okuva mu nsi ez'ewala ne mu buli kasonda ak'ensi.
7
Buli omu ku bo namuwa erinnya, wange, namutondera kumpa kitiibwa. Ddala ekyo kye namubumbira ne mussaawo.”
8
Mukama agamba nti: “Muleete abantu bange bawozesebwe Balina amaaso, naye bamuzibe; balina amatu, naye bakiggala.
9
Muyite ab'amawanga gonna, abantu bakuŋŋaane wamu. Ani mu balubaale baabwe ayinza okutubuulira ebyo ebigenda okubaawo, n'atubuulira n'ebyo ebyabaawo edda? Baleete abajulizi baabwe okubakakasa nti batuufu. Boogere nti bye baawulira, ddala byali bya mazima.
10
“Mmwe Abayisirayeli, muli bajulizi bange era mmwe Muweereza wange gwe neeroboza, mulyoke mummanye era munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo Katonda nzekka. Tewabangawo Katonda mulala yansooka kubaawo, era tewaliba anziririra.
11
“Nze nzekka, Nze Mukama era Nze nzekka, Nze Mulokozi.
12
Nayogera ebiribaawo era ne mbayamba, ne nkirangirira nga tewali lubaale yali akikoze. Mmwe bajulizi bange. Nze Mukama njogedde. Nze Katonda,
13
era bulijjo, bwe ntyo bwe nnaabeeranga. Tewali ayinza kweggya mu buyinza bwange. Kye mba nkoze tewali ayinza kukijjulula.”
14
Mukama Omununuzi wammwe, era Omutuukirivu wa Yisirayeli agamba nti: “Okubawonya mmwe ndisindika eggye okulumba Babilooni. Ndimenya ebisiba emiryango gy'ekibuga, era n'okuleekaana kw'Abakaludaaya okubadde okw'essanyu, ndikufuula kutema miranga.
15
Nze Mukama, Omutuukirivu wammwe, Omulokozi wa Yisirayeli, era Kabaka wammwe.”
16
Edda Mukama yatema oluguudo mu nnyanja, n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi.
17
Yasaanyaawo eggye eddene ery'abaserikale abalina amagaali n'embalaasi. Baagwa ne bagaŋŋalama obutakyaddayo kuyimukawo, nga bonna bazikidde, ddala bazikidde ng'olutambi lw'ettaala.
18
Mukama oyo agamba nti: “Temutunuulira bya dda, ebyaliwo mu mirembe egiyise.
19
Kati mutunule mulabe: ŋŋenda kukolawo ekiggya, era nakitandiseeko dda. Nja kutema oluguudo mu nkoola, ndeete n'amazzi mu ddungu.
20
N'ensolo ez'omu ttale zinanzisaamu ekitiibwa; ebibe ne bimmaaya bintendereze nga ndeese emigga mu ddungu, okuwa amazzi abantu bange abalondemu.
21
Be bantu bange, Nze Nzennyini be nategeka boolesenga ettendo lyange.”
22
Mukama agamba nti: “Naye mwanneetamwa mmwe, bazzukulu ba Yakobo. Mmwe Abayisirayeli, temwansinza!
23
Temwandeetera ndiga zammwe ez'ebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa nga mumpa ebitambiro. Sibakaluubiriranga nga mbasaba ebiweebwayo, era sibakooyanga nga mbapeeka obubaane obw'okunnyookereza.
24
Temwawaayo ssente kungulira bikajjo ebiwoomu, era temwanzikusa na masavu ga nsolo zammwe. Naye mu kifo ky'ebyo, mwantikka mugugu gwa bibi byammwe, mwankooya na nsobi zammwe.
25
Nze Nzennyini, Nze nsonyiwa ebibi byammwe ku lwange, siriddayo kubibavunaana.
26
“Twejjukanye, tukubaganye ensonga. Mwewozeeko mulage nga bwe muli abatuufu.
27
Jjajjammwe eyasooka yayonoona, n'abayigiriza bammwe baakola ebibi, ne bannyiiza.
28
Kyendiva mmalamu ekitiibwa abalabirira Ekifo Ekitukuvu. Bazzukulu ba Yakobo ndibawaayo okuzikirira; ndireka Abayisirayeli okuvumibwa.”
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66