bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 60
Isaiah 60
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 59
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 61 →
1
Ggwe Yerusaalemu, situka oyakaayakane ng'enjuba; kubanga ekitangaala kyo kituuse n'ekitiibwa kya Mukama kyakaayakanira ku ggwe.
2
Manya ng'ekizikiza kiribikka ku nsi, ekizikiza ekikutte kiribikka ab'amawanga; naye Mukama alivaayo ng'enjuba mu ggwe, n'ekitiibwa kye kirirabikira mu ggwe.
3
Amawanga galijja eri ekitangaala kyo, ne bakabaka balisikirizibwa okwakaayakana kwo.
4
Yimusa amaaso go otunule eno n'eri olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu bajje gy'oli. Batabani bo baliva ewala ne bajja, ne bawala bo balisitulibwa ng'abaana abato.
5
Oliraba ekyo n'ojjula essanyu, olibuguumirira olw'okusanyuka, kubanga obugagga bw'amawanga bulireetebwa gy'oli, era bulikutuukako nga buyita ku nnyanja.
6
Amagana g'eŋŋamiya galikujjulamu nga gava e Midiyaani n'e Efa, era galiva n'e Seeba nga galeeta zaabu n'obubaane. Abantu balirangirira amatendo ga Mukama.
7
Endiga zonna ez'e Kedari n'endiga ennume ez'e Nebayooti zirikuleeterwa, n'ozikozesa ky'oyagala. Zinaaleetebwanga ku alutaari yange ne nzikkiriza. Era Essinzizo lyange ndyongera okulifuula eryekitiibwa.
8
Ebyo biki ebiseeyeeya ng'ebire era ng'enjiibwa ezikomawo mu bisu byazo?
9
Ebyo bye byombo ebiva mu nsi ez'ewala, ebikulembeddwa ebyombo by'e Tarusiisi, nga bireeta abantu bo okuva eyo ewala. Baleese ffeeza waabwe ne zaabu waabwe, okussaamu ekitiibwa Mukama Katonda Omutuukirivu wa Yisirayeli, assisaamu abantu be ekitiibwa.
10
Mukama agamba Yerusaalemu nti: “Ab'amawanga amalala balizimba ebigo byo ne bakabaka baabwe balikuweereza. Nakubonereza nga nkwatiddwa obusungu, naye kaakano nkuddiddemu nga nkwatiddwa ekisa.
11
Era enzigi zo zinaabanga nzigule bulijjo: emisana n'ekiro teziggalwengawo, abantu bakuleeterenga obugagga bw'amawanga gaabwe, nga bakabaka baabwe be bakulembeddemu ennyiriri.
12
Kubanga eggwanga n'obwakabaka ebirigaana okukuweereza, biriggyibwawo. Weewaawo amawanga ago galizikiririzibwa ddala.
13
“Emiti n'embaawo ebiva mu Lebanooni ebisingayo obulungi, birireetebwa okuzimba obuggya n'okuwoomya Essinzizo lyange, n'ekibuga kyange okukifuula ekyekitiibwa.
14
Era abaana b'abo abaakujoonyesanga balijja ne bakuvuunamira, n'abo bonna abaakujooganga balifukamira awo ku bigere byo ne bakuyita ‘Ekibuga kya Mukama, Siyooni eky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.’
15
“Newaakubadde walekebwawo n'okyayibwa nga tewali muntu akuyitamu, ndikufuula waakitiibwa era omulungi, ekifo eky'essanyu emirembe n'emirembe.
16
Amawanga ne bakabaka balikulabirira nga nnyina w'omwana bw'amulabirira. Olimanya nga Nze Mukama, Omulokozi wo era Omununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.
17
“Ndireeta zaabu mu kifo ky'ekikomo, ne ffeeza mu kifo ky'ekyuma. Mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja, ndireeta kyuma. Abakufuga tebaakutulugunyenga, ndibafuula benkanya era ba mirembe.
18
Amaloboozi ag'obukambwe tegaliddamu kuwulirwa mu nsi yo, era ensi yo teriddamu kuzika wadde okuzikirizibwa. Ebisenge byo olibiyita ‘Buwanguzi,’ n'emiryango gyo ‘Kutendereza.’
19
“Toomulisibwenga njuba emisana, wadde ekitangaala ky'omwezi ekiro. Nze Mukama, Nze nnaabanga ekitangaala kyo, ekitangaala ky'ekitiibwa kyange kye kinaakwakangako.
20
Ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba ziweddewo. Nze Mukama, Nze ndifuuka enjuba yo etegwa, n'omwezi gwo ogutavaawo nga nkuwa ekitangaala ekitaliggwaawo.
21
Abantu bo bonna banaakolanga ebituufu n'ensi eyo eriba yaabwe emirembe gyonna. Baliba ttabi lye nasimba era omulimu Nze Nzennyini gwe nakola, ndyoke mpeebwenga ekitiibwa.
22
N'amaka go agasingayo obutono era agataliiko bwe gali, galifuuka ggwanga ery'amaanyi. Nze Mukama ekyo ndikyanguya okubaawo ng'ekiseera kyakyo kituuse.”
← Chapter 59
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 61 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66