bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 41
Isaiah 41
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 42 →
1
Katonda agamba nti: “Musirike mu maaso gange mmwe ebizinga, muwulirize kye ŋŋamba. Amawanga gaddemu amaanyi, gasembere kumpi okuwoza. Tukuŋŋaane wamu okuwozesa omusango.
2
“Ani yayita omuntu oyo okumuggya ebuvanjuba n'agenda ng'awangula buli w'atuuka wonna? Amugabula amawanga agawangule, afufuggaze bakabaka. Abasaanyaawo n'ekitala, aleka abafudde bangi ng'enfuufu. Obusaale bwe bubasaasaanya, ne baba ng'ebisusunku ebikuŋŋunsibwa embuyaga.
3
Abawondera n'atambula mirembe, ng'ayita mu kkubo ly'atayitangamu.
4
Ani akkiriza ebyo byonna bibeewo, eyabitegeka okuva olubereberye? Ye Nze Mukama ow'olubereberye, era ye Nze enkomerero ya byonna.
5
“Abatuuze b'omu bizinga n'ab'omu nsi eziri ewala baalaba bye nkoze ne batya, ne beekuŋŋaanya, ne bajja
6
Buli omu n'ayamba munne era n'amugamba nti: ‘Guma!’
7
Omubazzi w'ekifaananyi kye basinza agumya omuweesi wa zaabu. Oyo akuba ennyondo okuttaanya, n'agumya akomereramu emisumaali nti: ‘Kye tukoze kye kyo, kirungi!’ Ne bakikomerera n'enninga kireme kusagaasagana.
8
“Naye ggwe, Eggwanga lya Yisirayeli, omuweereza wange, muzzukulu wa Yakobo gwe neeroboza, ggwe zzadde lya Aburahamu mukwano gwange.
9
Nakuggya ku nkomerero y'ensi, ne nkuyita okuva ku nsonda zaayo, ne nkugamba nti: ‘Ggwe muweereza wange!’ Nakweroboza era sikuboolanga.
10
Totya, kubanga Nze, ndi wamu naawe. Teweeraliikirira, kubanga Nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi, era nnaakuyambanga. Ddala nnaakuwaniriranga n'omukono gwange ogwa ddyo nga nkozesa obwenkanya.
11
“Kale abo bonna abakusunguwalidde, balikwatibwa ensonyi era baliswazibwa. N'abo abakulwanyisa balimalibwawo ne bazikirizibwa.
12
Olibanoonya, naye tolibazuula. Abo abakwesimbamu ne beefuula abalabe bo balisaanyizibwawo, ne baba ng'abatabangawo.
13
Kubanga Nze Mukama, Katonda wo, Nze nkuwa amaanyi, era nkugamba nti: ‘Totya, Nze nnaakuyambanga.’ ”
14
Mukama Omununuzi wo era Omutuukirivu wa Yisirayeli agamba nti: “Totya, Yisirayeli, ggwe omutono ng'olusiriŋŋanyi. Nze nja kukuyambanga.
15
Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula, era ekikyali ekiggya, ekyogi, era ekirina amannyo. Oliwuula ensozi n'ozaasaayasa, n'obusozi n'obufuula enfuufu.
16
Olibiwewa, empewo n'ebifuumuula, embuyaga ez'akazimu ne zibisaasaanya. Olwo olisanyukira mu Nze, Mukama. Olinneenyumiririzaamu, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli.
17
“Abantu bange abanaku abatalina kantu, bwe balinoonya amazzi ne gababula, emimiro ne gibakala olw'ennyonta, Nze Mukama ndiwulira kye basaba. Nze Katonda wa Yisirayeli siribalekerera.
18
Ndizibukula emigga okuva mu bifo ebigulumivu, era nditeekawo enzizi mu biwonvu. Ndifuula eddungu ekiyanja ky'amazzi, n'ettaka ekkalu ndirifuula ensulo ezikulukuta.
19
Ndimeza emivule mu ddungu n'emiti egya kasiya, n'emimwanyi, n'emizayiti. Mu ttaka ekkalu, ndimezaamu emisizi, n'emiyovu, ne nnamukago, nga giri wamu.
20
Olwo abantu baliraba ne bamanya era balirowoolereza ne bategeerera ddala nga Nze Mukama, Nze nkoze kino, era nga Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli, Nze nkitaddewo.”
21
Mukama, Kabaka wa Yakobo, agamba nti: “Mmwe balubaale b'amawanga mwanjule ensonga zammwe. Muleete ezisingira ddala okuba ez'amaanyi.
22
Mujje mutubuulire ebiribaawo, tumanye we biribeererawo. Era mwogere ebyabaawo, munnyonnyole amakulu gaabyo, tubirowoozeeko era tumanye ekinaabivaamu. Oba mu tubuulire ebiri eyo gye bujja.
23
Mwanjule ebiribaawo oluvannyuma, tulyoke tukakase nti ddala muli balubaale. Mubeeko ekirungi kye mukola oba akabi ke muleeta, mutujjuze okutya n'okweraliikirira.
24
Mmwe mwennyini temuli kantu, ne bye mukola tebiriimu kantu. Alondawo okubasinza, aba kyenyinyalwa.
25
“Nalonda omusajja ava ebukiikakkono, era wuuyo atuuse. Ava ebuvanjuba, ng'akoowoola erinnya lyange. Alirinnyirira abafuzi ng'ettaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba.
26
Ani ku mmwe eyalanga edda nti kino kirituukirira, tulyoke tumanye nti yali mutuufu? Ku mmwe tewali yakyogerako. Tewali muntu yawulira kigambo na kimu kye mwayogera.
27
Nze Mukama, Nze nasooka okukibuulira Siyooni, era ne ntuma ababaka, okubuulira Yerusaalemu amawulire amalungi nti: ‘Laba, baabo, baabo, abantu bo bakomawo!’
28
Bwe ntunula mu balubaale, sirabamu alimu kantu. Era mu bo temuli muwi wa magezi gwe mbuuza kibuuzo, n'anziramu.
29
Balubaale bonna abo, tebalina mugaso. Tebaliiko kye basobola kukola. Ebifaananyi byabwe ebiweese, mpewo era temuli makulu.”
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 42 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66