bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 2
Isaiah 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 3 →
1
Buno bwe bubaka Katonda bwe yawa Yisaaya mutabani wa Amozi, obufa ku Ggwanga lya Bayudaaya, ne ku Kibuga Yerusaalemu.
2
Mu biseera eby'oluvannyuma, olusozi okuli Essinzizo lulifuulibwa olusinga zonna obugulumivu, ne lusoolooba ku busozi bwonna, era amawanga galikuluumulukukira ku lwo.
3
Abantu bangi balijja ne bagamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu Ssinzizo lya Katonda wa Yakobo, atuyigirize empisa z'ayagala tubeere nazo; naffe tunaayisanga nga bw'ayagala, kubanga Mukama ayigiriza ng'asinziira ku Lusozi Siyooni, era amateeka ge agaweera mu Yerusaalemu.”
4
Aliramula amawanga, abantu bangi n'abatabaganya. Ebibadde ebyokulwanyisa byabwe balibiweesa, ne babifuula ebintu ebirala: ebibadde ebitala byabwe, balibiweesa, ne babifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe ne bagafuula ebiwabyo. Tewaliba ggwanga likwata byakulwanyisa kulumba ggwanga linnaalyo, era tewaliba nate kutendekebwa mu bya ntalo.
5
Kale, mmwe bazzukulu ba Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama.
6
Ayi Katonda, oyabulidde abantu bo, bazzukulu ba Yakobo, kubanga ensi yaabwe yonna bagijjuzizza eby'obulogo ebiva ebuvanjuba, era bafuuse balaguzi ng'Abafilistiya, era bassa kimu n'abagwira.
7
Ensi yaabwe ejjudde ffeeza ne zaabu, era obugagga bwabwe tebuliiko kkomo. Ensi yaabwe ejjudde embalaasi, n'amagaali gaabwe nago tegaliiko kkomo.
8
Ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi bya balubaale, abantu basinza ebyo, bo bennyini bye bakoze n'emikono gyabwe,
9
omuntu owaabulijjo n'avuunama, n'omukungu ne yeetoowaza. N'olwekyo, Ayi Mukama tobasonyiwa n'akatono.
10
Mudduke muyingire mu mpuku z'omu njazi, mwekweke mu nfuufu, nga mudduka Mukama ow'entiisa, era oweekitiibwa n'obuyinza.
11
Olunaku lujja kutuuka, okwekuluntaza kw'abantu lwe kulimalibwawo, n'okwegulumiza kwabwe lwe kulizikirizibwa. Okuva olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa,
12
kubanga walibaawo olunaku, Mukama Nnannyinimagye kw'alitoowaliza bonna abeekuza ne beewanika, na buli eyeekulumbaza ne yeegulumiza.
13
Mukama alizikiriza emiti gyonna emiwanvu egy'omu Lebanooni, n'emivule gyonna egy'e Basani.
14
Aliseeteeza ensozi zonna empanvu, n'obusozi bwonna obugulumivu,
15
buli munaala omuwanvu, na buli kisenge eky'ekigo ekigumu.
16
Alibbika mu nnyanja emmeeri zonna ez'e Tarusiisi, n'azikiriza byonna ebyakolebwa, ebisanyusa okulaba.
17
Okugulumizibwa kw'abantu kulitoowazibwa, n'okwekulumbaza kwabwe kwonna kulimenyebwa. Ku lunaku olwo, Mukama yekka ye aligulumizibwa.
18
N'ebifaananyi byonna bye basinza, biriggweerawo ddala.
19
Abantu baliyingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bunnya obusime mu ttaka, okwekweka Mukama ow'entiisa era n'ekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa.
20
Olunaku olwo bwe lulituuka, abantu balisuula eri ebifaananyi bye basinza, ebikole mu zaabu ne mu ffeeza, era balibirekera mmese na buwundo,
21
ne bayingira mu mpuku ez'omu njazi, ne mu mpompogoma z'amayinja agaayatika, okwekweka Mukama ow'entiisa era oweekitiibwa n'obuyinza, bw'alyesowolayo okukuba ensi entiisa.
22
Mulemenga kwesiga bantu. Okuggyako okussiza mu nnyindo, kiki eky'omuwendo kye balina?
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66