bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 38
Isaiah 38
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 39 →
1
Awo mu biseera ebyo, Heezeekiya n'alwala nnyo kumpi kufa. Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi, n'agendayo okumulaba, n'amugamba nti: “Mukama akugamba nti: ‘Teekateeka eby'omu maka go, kubanga ogenda kufa, tojja kulama.’ ”
2
Awo Heezeekiya n'akyuka n'atunula ku kisenge, ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti:
3
“Ayi Mukama, nkwegayiridde, jjukira bwe mbadde omwesigwa mu maaso go, nga nkugondera n'omutima gwange gwonna, era nga nfuba bulijjo okutuukiriza by'osiima.”
4
Awo Mukama n'agamba Yisaaya nti:
5
“Ddayo ogambe Heezeekiya nti: ‘Mukama, Katonda wa Dawudi jjajjaawo, agamba nti: Mpulidde ky'osabye, era ndabye amaziga go. Kale nja kwongera ku bulamu bwo emyaka kkumi n'etaano.
6
Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino Yerusaalemu, ne nkuggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya, era ndirwanirira ekibuga kino.’ ”
7
Yisaaya era n'agamba Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero Mukama k'akuwa okukakasa ky'asuubizza:
8
ekisiikirize ekiri ku ssaawa ya Ahazi, ekikolera ku njuba nga bw'egenda, ajja kukizza emabega ebbanga lya madaala kkumi.” Awo enjuba n'eddayo emabega ebbanga lya madaala kkumi, ku madaala g'essaawa ge yali emaze okukkirira.
9
Luno lwe luyimba, Heezeekiya, kabaka wa Buyudaaya lwe yawandiika ng'amaze okuwona obulwadde bwe:
10
“Nali ŋŋamba nti ŋŋenda kufiira mu myaka egyawakati egy'obulamu bwange, nzigyibweko egikyasigaddeyo.
11
Nali ŋŋamba nti olwo nkomye okulaba Mukama mu nsi y'abalamu, siriddayo na kulaba bantu abagyeyagaliramu.
12
Obulamu bwange buvuddewo, era bunzigyiddwako ng'eweema y'omusumba. Obulamu bwange buzingiddwako ng'olugoye ku kyalaani ky'omutunzi. Okuva ku makya okuzibya obudde, nzigweramu ddala amaanyi.
13
Nsula nsinda okukeesa obudde, ng'aliibwa empologoma emeketa amagumba gange gonna. Emisana n'ekiro kyonna Katonda ali ng'ansaanyaawo!
14
Nabeeranga awo ne nsinda ng'ekinyonyi. Amaaso ne ganfuuyirira nga ntunuulira eyo waggulu. Ayi Mukama, mpuubadde! Ggwe jjangu onnyambe!
15
Nali sirina bigambo biddamu akiragidde, ng'era yennyini ye akikoze. Emyaka gyange gyonna natambulanga kasoobo nga kiva mu kwennyamira.
16
Ayi Mukama mu ebyo abantu mwe baggya obulamu, era mu ebyo byonna nange mwe nzigya obulamu. Ayi Mukama mponya, mbe omulamu.
17
Ddala kyangasa okunakuwala. Naye Ggwe, olw'okunjagala, omponyezza omugo gw'entaana, kubanga onsonyiye ebibi byange byonna.
18
Emagombe tewali ayinza kukwebaza tewali ayinza kukutendereza. Abafu baba tebakyayinza kusuubira mu Ggwe omwesigwa.
19
Abalamu be bakutendereza, nga kaakano nze bwe nkutendereza. Bakitaabwe b'abaana, babategeeza bw'oli omwesigwa.
20
Omponyezza, ayi Mukama. Kale tunaakuyimbiranga mu bulamu bwaffe bwonna nga bwe tukuba n'ennanga mu Ssinzizo lyo, ayi Mukama.”
21
Era Yisaaya yali alagidde baleete ebibala by'omutiini ebisekule, babiteeke ku jjute, Heezeekiya awone.
22
Era Heezeekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki akalaga nga ndyambuka mu Ssinzizo?”
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 39 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66