bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 44
Isaiah 44
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 45 →
1
Mukama agamba nti: “Kale kaakano muwulire mmwe bazzukulu ba Yakobo omuweereza wange, mmwe Abayisirayeli be neeroboza.
2
Nze Mukama eyabatonda, eyababumba mu lubuto, era alibayamba ŋŋamba nti: Temutya, muli baweereza bange, abantu bange abalondemu be njagala.
3
“Ensi erakasidde ndigiwa amazzi; era ndikulukusa emigga ku ttaka erikaze. Ndifuka Mwoyo wange ku b'ezzadde lyammwe; n'omukisa gwange ndiguwa bazzukulu bammwe.
4
Balikula bulungi ng'omuddo ogumeze awali amazzi, baligimuka ng'ebimera eby'oku mabbali g'omugga.
5
“Walibaawo agamba nti: ‘Ndi wa Mukama.’ Omulala alyetuuma erinnya lya Yakobo, n'omulala aliwandiika ku mukono gwe nti wa Mukama, ne yeebalira mu Bayisirayeli.”
6
Mukama, Kabaka wa Yisirayeli era Omununuzi we, Mukama Nnannyinimagye, agamba nti: “Nze ntandikwa, era Nze nkomerero; era nzekka, Nze Katonda. Teri Katonda mulala, wabula Nze.
7
Kale ani ali nga Nze? Bw'abaayo, akirangirire, akyogere, akiteeke mu maaso gange. Ani okuva edda, eyalangirira ebiribaawo? Kale abuulire abantu n'ebyo ebiribaawo gye bujja.
8
Temutya era temuggwaamu maanyi. Mumanyi ng'okuva edda n'okutuusa kati, mbabuulira ebiribaawo. Era mmwe bajulizi bange. Ate eriyo Katonda omulala okuggyako Nze? Nze nzekka Nze Lwazi omwewogomwa, simanyiiyo mulala.”
9
Abo bonna abakola ebifaananyi ebisinzibwa, temuli kantu. N'ebifaananyi byabwe ebyo ebibeeyagaza, tebiriiko kye bigasa. N'ababisinza, tebalaba, era tebaliiko kye bamanyi, ne kye bakola, kibaswaza.
10
Ani yali akoze lubaale, oba n'aweesa ekifaananyi kya lubaale, n'aba nga tatawaanidde bwereere?
11
Buli alikisinza alikwatibwa ensonyi. Ate nno abakola ebifaananyi ebyo bantu buntu, tebalinaayo kirala. Basaanye bonna baleetebwe, bayimirire wamu, bawozesebwe. Balitya era balikwatibwa wamu ensonyi.
12
Omuweesi ng'aweesa ekifaananyi ekisinzibwa, aleeta ekyuma, n'akifukutira mu manda, n'akikuba n'ennyondo, ng'akozesa omukono gwe ogw'amaanyi. Bw'amala ebyo olwo n'alumwa enjala, n'aggwaamu amaanyi. Bw'atanywa ku mazzi n'ayenjebuka.
13
Ye omubazzi aleega ku muti olukoba lwe olupima, n'agulamba n'ekkalaamu. Agulanda n'eranda, n'agupimisa ekyuma kye ekipima, n'agukolamu ekifaananyi ekirungi nnyini ekifaanana ng'omuntu, n'akiteeka mu ssabo.
14
Ayinza okutema enzo, oba alondawo okutema omuyovu, oba omuvule, mu kibira. Oba ayinza okusimba enkanaga, enkuba bw'etonnya n'egikuza.
15
Oluvannyuma omuntu oyo afunako enku. Atwalako, n'akuma omuliro, n'ayota, n'afumbisa n'emmere. Ekitundu ekisigaddewo n'akikolamu lubaale, n'amusinza; ekifaananyi ekyo ekyole n'akivuunamira.
16
Enku ezimu azikumisa omuliro, endala n'azookesa ennyama n'alya, n'akkuta. Ayota omuliro, n'agamba nti: “Otyo, akaliro kalungi, kambugumizza!”
17
Ekitundu ky'omuti ekifisseewo, n'akifuula lubaale. Ekifaananyi kye ekyole, n'akivuunamira, n'akisinza, n'akiwanjagira ng'agamba nti: “Mponya, kubanga ggwe lubaale wange.”
18
Abantu abo tebamanyi, era tebalowooza. Katonda azibye amaaso gaabwe n'emitima gyabwe, ne batayinza kulaba, wadde okutegeera.
19
Omukozi w'ekifaananyi kya lubaale yeerabira, era tafumiitiriza, wadde okutegeera, asobole okugamba nti: “Ekitundu ky'omuti ogwo nkikumyeko omuliro, ne nfumba emmere ku manda gaakyo, era njokezza ennyama ne ngirya. Ekitundu kyagwo ekifisseewo, ate kye nnaafuula lubaale, nvuunamire ekitundu ky'omuti?”
20
Oyo omuntu aba ng'alya evvu. Aba yeerimba era ng'awabye, nga takyalimu keeyamba kuwonya bulamu bwe, wadde okwebuuza nti: “Ekifaananyi kye nkutte mu mukono gwange ogwa ddyo si kya bulimba bwereere?”
21
Mukama agamba nti: “Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo, kubanga oli muweereza wange, ggwe Yisirayeli. Nakutonda obe muweereza wange. Ggwe Yisirayeli, sirikwerabira.
22
Njezeewo ebibi byo ne bivaawo ng'ekire, n'ebyonoono byo ne biggwaawo ng'olufu. Komawo gye ndi, kubanga nakununula.”
23
Ggwe eggulu, yimba, kubanga Mukama ye akoze ekyo. Muleekaane mmwe ebitundu by'ensi ebyawansi. Mubaguke muyimbe mmwe ensozi; naawe ggwe ekibira, na buli muti oguli mu ggwe; kubanga Mukama yanunula bazzukulu ba Yakobo, era aliraga ekitiibwa kye mu Bayisirayeli.
24
Mukama Omununuzi wo, era eyakubumba mu lubuto lwa nnyoko agamba nti: “Nze Mukama akola byonna. Nze nabamba eggulu obwomu, Nze nayanjuluza ensi, awatali yankwatirako.
25
Nze mmalawo ebyewuunyo ebikolebwa abalanzi ab'obulimba, abalogo ne mbafuula abasiru. Nze mmulungula ebigambo by'abagezi, ne ndaga nti bye bayita eby'amagezi, ddala biba bya busiru.
26
Naye nnyweza ebyogerwa omuweereza wange, ntuukiriza omubaka wange by'alangirira. Ŋŋamba nti Yerusaalemu kiribeeramu abantu, n'ebibuga bya Buyudaaya birizimbibwa buggya.
27
Nze ndagira, ne nkaliza obuziba bw'ennyanja, awamu n'emigga.
28
Nze njogera ku Kuuro nti ye mufuzi gwe ntaddewo, era alituukiriza byonna bye njagala. Nze ndagira Yerusaalemu nti: ‘Zimbibwa buggya,’ n'Essinzizo nti: ‘Emisingi gyo gizimbibwe.’ ”
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 45 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66