bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 7
Isaiah 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka, Ahazi mutabani wa Yotamu era muzzukulu wa Wuzziya, bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, Rezini kabaka wa Siriya, ne Peka mutabani wa Remaaliya era kabaka wa Yisirayeli, ne balumba Yerusaalemu, naye ne kibalema okuwangula.
2
Ab'ennyumba ya Dawudi bwe baawulira nga Siriya yeekobaanye n'Abeefurayimu, kabaka n'abantu be emitima ne gibeewuuba ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga.
3
Mukama n'agamba Yisaaya nti: “Genda ne mutabani wo Seyariyasubu, osisinkane Ahazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba ky'amazzi eky'engulu we gukoma, mu luguudo olugenda ku kibanja ky'omwozi w'engoye.
4
Omugambe nti: ‘Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu obukambwe obwa Rezini n'Abassiriya, n'obwa Peka mutabani wa Remaaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka.
5
Siriya ne Yisirayeli ne kabaka waayo bakukoledde olukwe nga bagamba nti
6
mugende mulumbe Buyudaaya mugitiise, mugyewangulire, muteekewo mutabani wa Tabeeli abe kabaka waayo.’
7
“Naye Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti ekyo tekijja kubaawo, tekijja kutuukirira,
8
kubanga Rezini afuga Siriya yokka n'ekibuga kyayo ekikulu Damasiko. Ate mu myaka nkaaga mu etaano, Yisirayeli eriba yeekutuddekutuddemu, nga terikyali ggwanga limu.
9
Ekibuga ekikulu ekya Yisirayeli ye Samariya, ne kabaka wa Yisirayeli ye Peka mutabani wa Remaaliya. “Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywera.”
10
Awo Mukama n'atumira Ahazi obubaka obulala ng'amugamba nti:
11
“Saba Mukama Katonda wo akuwe akabonero, kave oba ewala ekuzimu, oba waggulu mu bbanga.”
12
Ahazi n'addamu nti: “Sijja kusaba kabonero, era sijja kukema Mukama.”
13
Yisaaya n'amuddamu nti: “Muwulire mmwe, ab'ennyumba ya Dawudi. Tekibamala okukooya abantu ababagumiikiriza mmwe, ne mwagala n'okukooya era ne Katonda wange?
14
Kale Mukama ye ku bubwe alibawa akabonero: omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'amutuuma erinnya Emmanweli.
15
W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi, amata n'omubisi gw'enjuki, ye eriba emmere y'abantu,
16
era olwo ensi z'okyawamu bakabaka baamu bombi, ziriba zaabuliddwa.
17
Ku ggwe, ne ku bantu bo, ne ku b'ennyumba ya kitaawo, Mukama alireeta ennaku ez'ebizibu ebisinga ku byali bizze, okuva obwakabaka bwa Yisirayeli bweyawula ku bwa Buyudaaya. Ajja kubaleetera kabaka wa Assiriya.
18
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alikoowoola Abamisiri okujja ng'ensowera, nga bava mu bifo eby'ewala, eby'oku mugga gw'e Misiri, n'Abasiriya okujja ng'enjuki, nga bava mu nsi yaabwe.
19
Balijja ne beeyiwa bonna mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna.
20
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alimwesa akamwano k'aligula mu bifo eby'emitala w'Omugga Ewufuraate, ako ye Kabaka wa Assiriya, n'alyoka abamwako enviiri ku mutwe, n'ebirevu, n'obwoya obw'oku mibiri gyammwe.
21
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, omuntu ne bw'aliba asigazizzaawo ente eyonsa ento, n'endiga bbiri,
22
amata ge zirigabiza galimumala, n'agasundamu n'omuzigo. Ddala buli aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo, n'omubisi gw'enjuki.
23
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu nga gwa sekeli lukumi, kirizika, nga kimezeemu emyeramannyo n'amaggwa.
24
Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusaale, kubanga ensi eyo yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa.
25
Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise emyeramannyo n'amaggwa, ng'omuntu tasobola kugendayo. Waliba wa kusindikayo nte na kulinnyirirwa ndiga.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66