bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 24
Isaiah 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 25 →
1
Laba, Mukama ensi aligimalamu buli kintu, aligizikiriza n'agifuula matongo. Aligivuunika n'asaasaanya abagibeeramu bonna.
2
Ekiseera kirituuka abantu bonna ne bayisibwa bumu: abantu baabulijjo ne bakabona, abaddu ne bakama baabwe, abazaana ne bagole baabwe, abaguzi n'abatunzi, abawola n'abo abeewola, asasula era n'oyo asasulwa.
3
Ensi eriggyibwamu buli kintu, n'eba ng'enyaguluddwa. Ekyo Mukama ye akyogedde, tekirirema kutuukirira.
4
Era ensi yonna ekala, ebigiriko ne biwotoka. Ensi eggwaamu amaanyi, buli kyayo ne kiyongobera. Abantu abeekitiibwa nabo balitoowazibwa.
5
Ensi abantu bagyonoonye olw'okumenya amateeka ga Mukama n'olw'okusobya by'alagira, ne bateekako n'okumenya endagaano ye eteri ya kuggwaawo.
6
Ensi kyevudde ekolimirwa, n'abatuuze baamu ne basingibwa omusango era bangi ne bazikirizibwa. Abasigalawo be batono.
7
Emizabbibu egisogolwa giwotose, omwenge gwagyo ne gukendeera. Abaali basanyuka bonna, kati bali mu kuwuubaala.
8
Abaali bakola ebinyumu nga bakubiramu ebivuga ng'eno bwe baleekaana, ebyo tebakyabikola.
9
Baakomya okunywa omwenge nga bayimba n'ennyimba. Abaali bagunywa batamiire, kati gubakaayirira.
10
Ekibuga kikyankalanye, buli omu yeggalira mumwe, abayingira tabakkiriza.
11
Abali mu nguudo baleekaana kubanga tebalina mwenge. Ebinyumu tebikyakolebwa, essanyu lyonna ligenze.
12
Ekibuga kisigadde matongo. Emiryango gyakyo bagikubye, balese egyo bagimenye.
13
Bwe kityo bwe kiriba mu nsi, mu buli ggwanga. Kiriba nga bwe kibeera amakungula nga gawedde: ng'emizayiti ginogeddwa, nga n'emizabbibu tekukyali.
14
Abo abaliba bawonyeewo, baliyimusa amaloboozi ne bayimba n'essanyu eringi, ne batenda ekitiibwa kya Mukama nga ku ludda oluliko ennyanja gye basinziira.
15
N'abebuvanjuba balimutendereza. Abo ababeera okumpi n'ennyanja baligulumiza Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
16
Tuliwulira ennyimba eziva ku nkomerero y'ensi nga zitenda Omutuukirivu. Kyokka nze ŋŋamba nti: Nzigwerera, nzigwerera, nga zinsanze nze! Kubanga abalyamu enkwe beeyongera okulyamu enkwe, era enkwe zaabwe zeeyongera bweyongezi!
17
Ggwe omutuuze w'omu nsi entiisa era n'obunnya wamu n'omutego biteeze ggwe.
18
Ebyo nga bimaze okubaawo olwo buli alidduka awone entiisa, aligwa ate mu bunnya. Oyo asituka n'avaayo mu bunnya, alikwatibwa olwo mu mutego. Enkuba erifukumuka okuva mu bire, emisingi gy'ensi ne ginyeenyezebwa.
19
Ensi eryetemeramu ddala, era erimerengukira ddala. Ensi erinyeenyezebwa nnyo.
20
Ensi eritagatta ng'omutamiivu, eriyuuguumizibwa ng'ensiisira, erizitoowererwa ebibi byayo, erigwa n'eteddayo kuyimuka.
21
Ekiseera kijja kutuuka, Mukama abonereze ab'obuyinza abali eyo mu bbanga, n'abafuzi abali ku nsi.
22
Ab'obuyinza abo n'abafuzi, balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe abateekeddwa mu bunnya. Balisibirwa mu kkomera, era balibonerezebwa nga wayiseewo ennaku eziwera.
23
Olwo omwezi gulikwata ekizikiza n'enjuba erigaana okwaka, kubanga Mukama Nnannyinimagye ye aliba kabaka ku Lusozi Siyooni, ne mu Yerusaalemu kyonna, ne mu maaso g'abakulembeze ekitiibwa kye kiryeyoleka.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66