bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 13
Isaiah 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
1
Buno bwe bubaka obufa ku Babilooni, Yisaaya mutabani wa Amozi bwe yafuna mu kulabikirwa.
2
“Muwanike bbendera y'olutalo ku lusozi olutaliiko muddo. Mukoowoole abaserikale, mubawenye n'omukono, bayingire mu miryango gy'ekibuga ekirimu abakungu.
3
Nze Mukama, ndagidde abawonge bange, era basajja bange ab'amaanyi, abeenyumiririza mu kitiibwa kyange, mbayise okubonereza abo be nsunguwalidde.”
4
Muwulire okuyoogaana okuli ku nsozi, okuyoogaana ng'okw'ekibiina ky'abantu ekinene, okuyoogaana kw'obwakabaka bw'amawanga agakuŋŋaanye. Mukama Nnannyinimagye akuŋŋaanyizza eggye okulwana olutalo.
5
Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'ensi. Mukama ng'ali wamu n'abo b'akozesa bw'asunguwala, ajja okuzikiriza ensi yonna.
6
Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku Omuyinzawaabyonna lw'alireeterako okuzikirira.
7
Emikono gya buli muntu giritekemuka, era omutima gwa buli omu guliyenjebuka.
8
Abantu bonna balitya, era balijjula obulumi, ng'omukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako mu kutya, amaaso gaabwe ne gajjula ensonyi.
9
Olunaku lwa Mukama luulwo lujja, olunaku olukambwe, luliraga obusungu bwe n'ekiruyi kye, okusaanyaawo ensi, okuzikiriza n'okugimaliramu ddala abalina ebibi.
10
Emmunyeenye kinneemu, ne mu bibinja byazo, zirirekera awo okwaka, n'enjuba erikwata ekizikiza ng'evaayo, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo.
11
Mukama agamba nti: “Ndituusa akabi ku nsi, era ndibonereza abantu olw'ebibi byabwe. Ndikomya olwetumbu lw'abeegulumiza, era nditoowaza buli eyeekulumbaza n'atiisatiisa abalala.
12
Ndifuula abantu okuba ab'omuwendo okusinga zaabu omulungi, ddala baliba ba bbula okusinga zaabu ow'e Ofiri.
13
Ndikankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa n'eva mu kifo kyayo, ku lunaku Nze Mukama Nnannyinimagye lwe ndiragirako obusungu bwange n'ekiruyi.
14
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abagwira balidduka, nga bali ng'empeewo egobebwa abayizzi, era nga basaasaanye ng'endiga ezitaliiko musumba, buli omu okudda mu bantu be mu nsi y'ewaabwe.
15
Buli gwe baligwikiriza, alifumitibwa, na buli gwe baliwamba, aliba wa kuttibwa.
16
Abaana baabwe abawere balikubwa wansi ne babetentebwa, nga bo bennyini balaba. Ennyumba zaabwe zirinyagibwamu ebintu, ne bakazi baabwe balikwatibwa olw'empaka.”
17
Mukama agamba nti: “Laba ndibawendulira Abameedi abatafa ku ffeeza, era abatasikirizibwa zaabu, ne babalumba.
18
Balikozesa emitego n'obusaale, ne batta abavubuka. Tebalisaasira mabujje, wadde okubaako omwana omuto gwe basonyiwa.”
19
Babilooni ekiweesa obwakabaka ekitiibwa, era ekirungi ekyeyagaza Abakaludaaya, kiriba nga Sodoma ne Gomora, Katonda bye yazikiriza.
20
Tekiriddamu kubeeramu bantu emirembe gyonna. Tewaliba Muwarabu asimbayo weema, wadde abasumba abalundirayo amagana gaabwe.
21
Ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaabeerangayo, n'ennyumba zaabwe zirijjulamu ebintu ebisindogoma. Ne bimmaaya binaabeeranga eyo, n'emisambwa ginaaziniranga eyo.
22
Emisege gye ginaakaabiranga mu minaala gyabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ekinyumu. Ekiseera kya Babilooni eky'enkomerero kiri kumpi kutuuka, n'ennaku zaakyo zinaatera okuggwaako.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66