bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 37
Isaiah 37
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 38 →
1
Awo olwatuuka, Kabaka Heezeekiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala ebikutiya, n'ayingira mu Ssinzizo.
2
N'atuma Eliyakimu eyali alabirira olubiri lwa kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, n'abamu ku bakabona abakulu, nga bambadde ebikutiya, ne bagenda eri Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi.
3
Ne bamugamba nti: “Heezeekiya agamba nti: ‘Olunaku luno, lunaku lwa kubonaabona: tubonerezeddwa, era tuswaziddwa. Tuli ng'omukazi atuusizza okuzaala, kyokka nga talina maanyi ga kuzaala.
4
Kabaka wa Assiriya atumye omukungu we omukulu, okujerega Katonda Nnannyinibulamu. Oboolyawo Mukama, Katonda wo, anassaayo omwoyo ku bigambo byonna omukungu oyo by'ayogedde, n'amukangavvula olw'ebigambo ebyo, Ye Mukama, Katonda wo by'awulidde. Kale sabira abantu baffe abakyasigaddewo.’ ”
5
Awo abakungu ba Kabaka Heezeekiya bwe baatuusa obubaka bwe eri Yisaaya,
6
Yisaaya n'abagamba nti: “Mugende mugambe mukama wammwe nti Mukama agamba nti: ‘Totya bigambo by'owulidde, nga banjerega.
7
Laba, nja kusindika omwoyo mu ye, bw'anaawulira olugambo, addeyo mu nsi ye, era nja kumuleetera okuttirwayo.’ ”
8
Awo omukungu oyo Omussiriya n'awulira nga kabaka w'ewaabwe avudde e Lakisi, era ng'alwanyisa ab'omu Kibuga Libuna, n'agenda gy'ali.
9
Kabaka wa Assiriya bwe baamubuulira nti: “Tiraka kabaka wa Etiyopiya wuuli asitudde eggye okukulwanyisa,” n'addamu okutumira Heezeekiya ababaka ng'agamba nti:
10
“Mugambe Heezeekiya, kabaka wa Buyudaaya nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'agamba nti Yerusaalemu tekirigabulwa mu mikono gya kabaka wa Assiriya.
11
Ndowooza wawulira bakabaka b'e Assiriya kye baakola ensi zonna, ze baasalawo okuzikiririza ddala. Ggwe onoowona?
12
Bajjajjange baazikiriza ebibuga Gozani, ne Harani, ne Rezefu, ne batta Abeedeni abaali e Talasaari. Waliwo ku balubaale baabwe eyasobola okubawonya?
13
Bakabaka bali ludda wa ab'omu bibuga Hamati ne Arupaadi, ne Sefarivayimu, wadde ow'e Hera n'ow'e Yivva?’ ”
14
Awo Heezeekiya n'aggya ebbaluwa ku babaka, n'agisoma. N'ayambuka mu Ssinzizo, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
15
Ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti:
16
“Ayi Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, atuula ku bakerubi, Ggwe wekka Ggwe Katonda. Ggwe wekka, Ggwe ofuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe wakola eggulu n'ensi.
17
Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire. Tunula, ayi Mukama, olabe. Wulira ebigambo ebyo byonna Sennakeribu by'aweerezza okukujerega, Ggwe Katonda Nnannyinibulamu.
18
Kyo kituufu, ayi Mukama, bakabaka ba Assiriya baazikiriza amawanga mangi, ensi zaago ne bazifuula matongo.
19
Baayokya balubaale baago, bo ddala abatali Katonda, wabula ebifaananyi eby'emiti n'eby'amayinja, abantu bye baakola n'emikono gyabwe, kyebaava babazikiriza.
20
Kale nno kaakano, ayi Mukama, Katonda waffe, ggwe tuwonye, otuggye mu mikono gya kabaka wa Assiriya, ab'amawanga gonna ku nsi balyoke bamanye nga Ggwe wekka, ayi Mukama, Ggwe Katonda.”
21
Awo Yisaaya mutabani wa Amozi n'atumira Heezeekiya ng'agamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nga bw'onneegayiridde ku bikwata ku Sennakeribu kabaka wa Assiriya,
22
kino Nze Mukama kye ŋŋamba ku ye nti: Ekibuga Siyooni kikunyoomye ggwe Sennakeribu, era kikusekeredde! Ekibuga Yerusaalemu kikukongodde!
23
Olowooza ani gw'ojereze, gw'ovvodde? Ani gw'oboggoledde era gw'oziimudde? Ye Nze, Omutuukirivu wa Yisirayeli.
24
Otumye ababaka bo okunjerega Nze Afugabyonna, nga weewaana nga bwe wakozesa amagaali go n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti watuukira ddala ku lusozi olukomererayo, mu kibira ekisingayo okuba ekikwafu.
25
Weetenze bwe wasima enzizi, n'onywa amazzi, era nti ebigere by'abaserikale bo byakaza emigga gyonna egy'e Misiri.
26
“ ‘Tewakiwulirako nti Nze nategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa obuyinza, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu okubifuula entuumu z'ebisasiro.
27
Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
28
“ ‘Naye mmanyi byonna ebikufaako, ne by'okola era ne gy'ogenda. Era mmanyi ne bw'ondalukiddeko.
29
Mmaze okuwulira eddalu lyo, n'okwekulumbaza kwo. Kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.’ ”
30
Awo Yisaaya n'agamba Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero akakulaga nga bye ŋŋambye bijja kutuukirira: mu mwaka guno ne mu mwaka ogujja, mujja kulya mmere ya kyemeza. Naye mu mwaka oguddako, mulisiga emmere yammwe ne mugikungula. Mulisimba ennimiro z'emizabbibu, ne mulya ebibala byamu.
31
Abo abaliwonawo mu Buyudaaya, balyanya ng'ebimera ebisimba emirandira gyabyo wansi mu ttaka, ne bibala ebibala waggulu.
32
Wajja kubaawo abawonawo mu Yerusaalemu ne ku Lusozi Siyooni. Mukama Nnannyinimagye amaliridde ekyo okukituukiriza.
33
“N'olwekyo bino Mukama by'ayogera ku kabaka wa Assiriya: ‘Tajja kuyingira mu kibuga kino, wadde okulasaayo akasaale. Tajja kukirumba na ngabo, wadde okutuuma entuumu z'ettaka okukyetooloola.
34
Mu kkubo mwe yayita ng'ajja, era mw'aliddirayo, nga tayingidde mu kibuga kino. Nze Mukama, njogedde.
35
Nja kutaasa ekibuga kino, nkiwonye, olw'ekitiibwa kyange, n'olw'ebyo bye nasuubiza omuweereza wange Dawudi.’ ”
36
Awo ekiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abassiriya abaserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Enkeera ku makya, abo bonna nga bafu bajjo!
37
Awo Sennakeribu kabaka wa Assiriya, ne yeemulula, n'agenda, n'addayo mu Kibuga Nineeve, n'abeera eyo.
38
Awo lumu bwe yali mu ssabo ng'asinza lubaale we Nisirooki, batabani be Adurammeleki ne Sarezeeri ne bamutemula, ne baddukira mu nsi y'e Ararati, mutabani we Esaraddoni n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66