bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Isaiah 40
Isaiah 40
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 41 →
1
“Mugumye abantu bange, ddala mubagumye.” Bw'atyo bw'ayogera Katonda wammwe.
2
“Mwogere ebizzaamu ab'omu Yerusaalemu amaanyi. Mubagambe nti okubonaabona kwabwe kaakano kuwedde, ebibi byabwe bisonyiyiddwa. Nze Mukama mbawadde ekibonerezo ekimala, nga mbalanga ebibi byabwe.”
3
Eddoboozi ery'omwanguka ligamba nti: “Mulongooseze Mukama ekkubo mu lukoola, mutereereze Katonda waffe oluguudo mu ddungu.
4
Buli kiwonvu kijjuzibwe. Buli lusozi na buli kasozi biseeteezebwe, ebikyamu bigololwe, n'ebifo ebitali bisende, bitereezebwe.
5
Olwo ekitiibwa kya Mukama kiriragibwa, era abantu bonna balikiraba, kubanga Mukama yennyini ye ayogedde.”
6
Awo ddoboozi ne ligamba nti: “Langirira!” Nze ne mbuuza nti: “Kiki kye mba nnangirira?” Ne liddamu nti: “Langirira nti abantu bonna bali nga muddo, n'okunyirira kwabwe kwonna kuli nga kimuli kya mu ttale.
7
Omuddo gukala, n'ekimuli kiyongobera Mukama bw'asindika embuyaga n'ebifuuwako. Ddala abantu bali nga muddo: nabo tebawangaala.
8
Weewaawo omuddo gukala n'ekimuli kiyongobera; naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerawo ennaku zonna.”
9
Ggwe abuulira Siyooni amawulire amalungi, linnya waggulu ku lusozi oluwanvu. Ggwe abuulira Yerusaalemu amawulire amalungi, yimusa eddoboozi, oyogeze maanyi. Liyimuse, totya. Gamba ebibuga bya Buyudaaya, nti: “Katonda wammwe wuuno!”
10
Ddala Mukama Afugabyonna wuuno ajja n'amaanyi, n'obuyinza bw'afugisa. Wuuno ali n'ebirabo, era n'empeera by'aligaba.
11
Aliisa endiga ze ng'omusumba bw'aliisa. Ento azikuŋŋaanya, n'azireetera mu mikono gye, n'aziwambaatira mu kifuba kye. N'enzadde eziyonsa, azirunda na bwegendereza.
12
Ani yali apimye obungi bw'embatu z'ayinza okusena mu nnyanja, oba eyapima eggulu n'oluta? Ani yali atadde enfuufu y'oku nsi ku minzaani epimibwe, oba ensozi n'obusozi bipimibwe mu minzaani?
13
Ani yali awabudde Mwoyo wa Mukama, oba eyali amuwadde amagezi n'amuyigiriza?
14
Katonda yali yeebuuzizza ku ani, gw'asaba amuwe amagezi? Ani yali amuyigirizza, n'amulaga bw'aba asala ensonga? Ani yali amunnyonnyodde amanye era ategeere ebintu nga bwe bikolebwa?
15
Ku Mukama amawanga gali ng'ettondo mu nsuwa y'amazzi; gali ng'olufufugge oluli ku minzaani. Laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.
16
Ebibira by'e Lebanooni, byonna tebivaamu nku ziyinza kumala Mukama; n'ensolo zaamu, tezimala okuba ebiweebwayo ebyokebwa.
17
Amawanga gonna si kantu mu maaso ge, gali nga birerya byereere.
18
Kale ani gwe mugeraageranyaako Katonda? Oba kiki kye mulimufaananya?
19
Ekifaananyi ekyole omukozi akiyiiya; n'oyo aweesa akibikkako zaabu, era akiweeseza emikuufu gya ffeeza.
20
Omwavu atayinza ebyo, alondawo muti ogutavunda; anoonya mukozi ow'amagezi asseewo ekifaananyi ekyole ekitagenda kunyeenyezebwa.
21
Abange, temumanyi? Temukiwulirangako? Temwabuulirwa kuva lubereberye? Mwali temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi?
22
Katonda ye wuuyo atuula waggulu w'ensi enneekulungirivu. Abantu abagiriko basirikitu: batono bali nga buseenene. Atimba eggulu ng'olutimbe, era alibamba ng'eweema ey'okubeeramu.
23
Afufuggaza era atoowaza abafuzi n'abafuula abatalina bwe bali.
24
Baba ng'obumera obwakasimbibwa, obutannasimba mirandira wala wansi mu ttaka. Mukama olusindika embuyaga, ebufuuwako ne buwotoka. Bwe wajja kibuyaga ow'amaanyi, ng'abwerawo ng'ebisusunku.
25
Yennyini Omutuukirivu agamba nti: “Muyinza kungeraageranya n'ani? Mazima tewali annenkana.”
26
Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe. Ani yatonda ebyo ebiriyo? Ye oyo aduumira biveeyo ng'eggye, byonna n'abituuma amannya. Olw'obukulu bw'amaanyi ge, n'olw'obuyinza bwe obungi, tewali na kimu ku byo kibulako.
27
Kale bazzukulu ba Yakobo, ŋŋamba mmwe Abayisirayeli, muyinza mutya okwemulugunya nti Mukama tabalumirwa, era nti ne bwe munyigirizibwa Katonda wammwe tafaayo?
28
Temukimanyi? Era temukiwulirangako? Mukama ye Katonda ow'olubeerera. Ensi yonna gy'efayenkana, ye yagitonda. Taggwaamu maanyi, takoowa, amagezi ge tegategeerekeka.
29
Abatendewereddwa, abawa amaanyi; n'abatakyeyinza nnyini, abazzaamu endasi.
30
Abavubuka nabo bakoowa, ne bayenjebuka; n'abasajja abeekiwago, baggwaamu endasi ne bagwa wansi.
31
Naye abo abeesiga Mukama amaanyi agaabwe, galidda buggya. Balibuuka mu bbanga n'ebiwaawaatiro ng'empungu. Balidduka embiro, ne batakoowa. Balitambula, ne batayenjebuka.
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 41 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66