bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 1
Joshua 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Awo olwatuuka, Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n'ayogera ne Yoswa, omuyambi wa Musa, era mutabani wa Nuuni,
2
n'agamba nti: “Musa omuweereza wange afudde. Kale kaakano weetegeke, ggwe n'Abayisirayeli bonna, musomoke Omugga Yorudaani, muyingire mu nsi gye mbawa bo.
3
Nga bwe nagamba Musa, mbawadde mmwe buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe.
4
Ensalo yammwe eriva ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku Lusozi Lebanooni mu bukiikakkono, era eriva ku mugga omunene Ewufuraate mu buvanjuba, okuyita mu nsi y'Abahiiti, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba.
5
Yoswa, tewaliba muntu n'omu aliyinza kukuwangula ennaku zonna ez'obulamu bwo. Nnaabeeranga naawe, nga bwe nabeeranga ne Musa. Siikwabulirenga era siikulekenga.
6
Ddamu amaanyi, ogume omwoyo, kubanga ggwe olikulembera abantu bano nga bagenda okufuna ensi eno gye nasuubiza bajjajjaabwe okugibawa.
7
Kale ddamu amaanyi, ogume omwoyo, era wekkaanye otuukirizenga amateeka gonna Musa omuweereza wange ge yakuwa. Togavangako n'akatono, lw'onooweebwanga omukisa buli gy'onoogendanga.
8
Ekitabo kino eky'Amateeka okisomanga bulijjo, n'okyebuulirirangako emisana n'ekiro, olyoke weegenderezenga okutuukiriza byonna ebikiwandiikiddwamu. Lw'onooweebwanga omukisa n'owangula mu byonna.
9
Manya nga nze nkulagidde okuddamu amaanyi n'okuguma omwoyo. Totya, era toterebukanga, kubanga nze, Mukama Katonda wo, ndi wamu naawe buli gy'onoogendanga yonna.”
10
Awo Yoswa n'alagira abakulembeze
11
okuyita mu lusiisira, bagambe abantu nti: “Mutegeke emmere yammwe, kubanga mu nnaku ssatu, mujja kusomoka Omugga Yorudaani, okuyingira mufune ensi Mukama, Katonda wamwe gy'abawa ebe eyammwe.”
12
Yoswa n'agamba Ebika ekya Rewubeeni, n'ekya Gaadi, n'ekitundu eky'Ekika kya Manasse nti:
13
“Mujjukire Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagamba nti Mukama, Katonda wammwe alibawa ensi eno ey'ebugwanjuba bw'Omugga Yorudaani, gye muba mutebenkeramu.
14
Bakazi bammwe n'abaana bammwe abato balisigala wano wamu n'amagana gammwe, naye mu mmwe, abazira bonna ab'amaanyi, balisomoka nga balina ebyokulwanyisa, ne bakulemberamu baganda bammwe,
15
okutuusa nabo lwe balimala okutebenkera mu nsi ey'ebugwanjuba bw'Omugga Yorudaani, Mukama, Katonda wammwe gy'aliwa bo. Olwo muliddayo ne mukkalira mu nsi gye mwafuna mu buvanjuba bw'Omugga Yorudaani, Musa omuweereza wa Mukama, gye yabawa.”
16
Yoswa ne bamuddamu nti: “Byonna by'otulagidde tunaabikola, era tunaagendanga buli gy'onootutumanga.
17
Tunaakuwuliranga mu byonna nga bwe twawuliranga Musa, era Mukama, Katonda wo abeere naawe nga bwe yali ne Musa.
18
Buli anaajeemeranga ekiragiro kyo, n'atawulira bigambo byo, mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga. Ggwe ddamu amaanyi, era guma omwoyo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24