bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 21
Joshua 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
1
Awo abakulu b'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Leevi, ne bagenda eri Eleyazaari kabona, n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n'eri abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli.
2
Ne babagambira mu Siilo mu nsi y'e Kanaani nti: “Mukama yalagira ng'ayita mu Musa okutuwa ebibuga eby'okubeerangamu, n'ettale lyakwo ery'okulundirangamu ensolo zaffe.”
3
Awo Abayisirayeli ne bawa Abaleevi ebibuga ebimu n'ettale lyakwo, mu bitundu byabwe, nga Mukama bwe yalagira.
4
Abaleevi ab'ennyumba ya Kohati be baasooka okuweebwa ebibuga mu kalulu. Abasibuka mu Arooni kabona, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yuda n'ekya Simyoni n'ekya Benyamiini.
5
Abakohati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Efurayimu n'ekya Daani n'ekya Manasse.
6
Ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yissakaari n'ekya Aseri n'ekya Nafutaali n'ekya Manasse mu Basani.
7
Ab'ennyumba ya Merari ne baweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva mu bitundu eby'Ebika: ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekya Zebbulooni.
8
Abayisirayeli baakuba bululu okuwa Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyakwo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
9
Gano ge mannya g'ebibuga ebyaggyibwa mu bitundu bya Yuda ne Simyoni ne biweebwa
10
bazzukulu ba Arooni, ab'ennyumba ya Kohati ow'omu Kika kya Leevi. Be baasooka okukubirwa akalulu.
11
Ne babawa Kiriyati Aruba (Aruba ye yali kitaawe wa Anaki), kati ekiyitibwa Heburooni, mu nsi ey'ensozi eya Yuda, awamu n'ettale lyakwo.
12
Naye ennimiro z'ekibuga ekyo n'ebyalo byakyo byali byaweebwa dda Kalebu, mutabani wa Yefunne okuba ebibye.
13
Okwongereza ku Heburooni, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu, bino bye bibuga ebyaweebwa bazzukulu ba Arooni kabona: Libuna,
14
ne Yattiri, ne Esutemowa,
15
ne Holoni, ne Debiri,
16
ne Ayini, ne Yutta, ne Beti Semesi, wamu n'ettale lyabyo. Ebyo bye bibuga omwenda, ebyaggyibwa ku Bika, ekya Yuda n'ekya Simyoni.
17
Okuva mu kitundu kya Benyamiini, baaweebwa ebibuga bina: Gibiyoni ne Geeba
18
ne Anatooti ne Alumoni n'ettale lyakwo.
19
Ebibuga kkumi na bisatu byonna awamu bye byaweebwa bakabona, bazzukulu ba Arooni.
20
Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Kohati ne baweebwa mu kalulu ebibuga, mu kitundu kya Efurayimu.
21
Baaweebwa ebibuga bina: Sekemu n'ettale lyakwo, ekimu ku bibuga eby'okuddukiramu mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ne Gezeri
22
ne Kibuzayimu, ne Betooroni n'ettale lyabyo.
23
Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Daani: Eluteke, ne Gibbetooni
24
ne Ayalooni, ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo.
25
Ne baweebwa ebibuga bibiri mu kitundu kya Manasse: Taanaki ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo.
26
Ebibuga byonna ab'ennyumba ya Kohati abalala bye baafuna byali kkumi, wamu n'ettale lyabyo.
27
Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa mu kitundu kya Manasse ebibuga bibiri: Goloni ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Basani, ne Beesutera, wamu n'ettale lyabyo.
28
Ne baweebwa mu kitundu kya Yissakaari ebibuga bina: Kisiyooni ne Daberaati
29
ne Yarumuti ne Engannimu, wamu n'ettale lyabyo.
30
Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Aseri: Misali ne Abudooni,
31
ne Elukati ne Rehobu, wamu n'ettale lyabyo.
32
Ne baweebwa ebibuga bisatu mu kitundu kya Nafutaali: Kedesi, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Galilaaya, ne Hammoti Doori, ne Karutaani, wamu n'ettale lyabyo.
33
Ab'ennyumba ya Gerusooni bonna awamu, baafuna ebibuga kkumi na bisatu wamu n'ettale lyabyo.
34
Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Merari, ne baweebwa mu kitundu kya Zebbulooni ebibuga bina: Yokuneyaamu ne Karuta,
35
ne Dimuna, ne Nahalali, wamu n'ettale lyabyo.
36
Ne baweebwa mu kitundu kya Rewubeeni ebibuga bina: Bezeri ne Yahazi,
37
ne Kedemooti ne Mefaati, wamu n'ettale lyabyo.
38
Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Gaadi: Ramoti, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Gileyaadi, ne Mahanayimu,
39
ne Hesubooni, ne Yazeri, wamu n'ettale lyabyo.
40
Bwe batyo ab'ennyumba ya Merari bonna awamu, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri.
41
Mu bitundu byonna Abayisirayeli bye baafuna okuba ebyabwe, Abaleevi baaweebwamu ebibuga amakumi ana mu munaana, wamu n'ettale lyabyo eribyetoolodde.
42
Ebibuga ebyo byonna bwe byali bwe bityo nga birina ettale eribyetoolodde.
43
Bw'atyo Mukama bwe yawa Abayisirayeli ensi yonna, gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe. Ne bagyefuga, ne bagibeeramu.
44
Mukama n'abawa emirembe ku nsalo zaabwe zonna, nga bwe yasuubiza bajjajjaabwe. Tewali n'omu ku balabe baabwe bonna eyasobola okuyimirira mu maaso gaabwe, kubanga Mukama yawa Abayisirayeli okuwangula abalabe baabwe bonna.
45
Tewali kirungi na kimu Mukama kye yasuubiza Yisirayeli ekyabulako: byonna byatuukirira.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24