bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 8
Joshua 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Totya era toterebuka. Twala abalwanyi bo bonna oyambuke e Ayi. Nja kukuwa okuwangula kabaka w'e Ayi n'abantu be n'ekibuga kye n'ensi ye.
2
Ojja kukola ku Ayi ne kabaka waakyo kye wakola ku Yeriko ne kabaka waakyo. Naye ku mulundi guno ebintu n'amagana muyinza okubyesigaliza ng'omunyago gwammwe. Muteegere ekibuga emabega waakyo.”
3
Awo Yoswa n'asituka n'abalwanyi bonna, n'ayambuka e Ayi. N'alondamu abazira ab'amaanyi emitwalo esatu, n'abasindika ekiro.
4
N'abalagira nti: “Muteegere ekibuga emabega waakyo, naye nga temuli wala nakyo, mwetegeke mwenna okulumba.
5
Nze n'abantu bonna abanaaba nange, tunaasemberera ekibuga. Ab'omu kibuga bwe banajja okutulumba, tujja kukyuka tubadduke, nga bwe twakola olwasooka.
6
Bajja kutuwondera, okutuusa nga tumaze okubasendasenda beesuule nnyo ekibuga. Bajja kulowooza nti tubadduse nga bwe twakola olwasooka.
7
Awo mmwe mujja kuva we muteegedde, muwambe ekibuga. Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mikono gyammwe.
8
Bwe munaamala okukiwamba, mukyokye omuliro, nga Mukama bwe yatugamba okukola. Ebyo bye mbalagidde.”
9
Awo Yoswa n'abasindika, ne bagenda we banaateegera, ne babeera eyo ebugwanjuba bwa Ayi, wakati wa Ayi ne Beteli. Naye Yoswa ekiro ekyo n'asula mu bantu mu lusiisira.
10
Enkeera Yoswa n'agolokoka mu makya, n'ayita abalwanyi, ne bakuŋŋaana. Awo ye ng'ali n'abakulembeze mu Yisirayeli, n'abakulembera ne bagenda e Ayi.
11
Abalwanyi bonna abaali naye ne bambuka, ne batuuka mu maaso g'ekibuga, ne bakuba olusiisira ku ludda olw'ebukiikakkono, nga waliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi.
12
N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abategeka ne beekweka ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga, wakati wa Beteli ne Ayi.
13
Abalwanyi ne bategekebwa, ng'eggye eddene liri mu bukiikakkono obw'ekibuga, ate ng'abalwanyi abalala bali mu bugwanjuba bwakyo. Yoswa n'amala ekiro ekyo mu kiwonvu.
14
Awo kabaka w'e Ayi bwe yalaba abasajja ba Yoswa, ye n'abantu be bonna ab'omu kibuga ne banguwa mangu, ne bagenda ku makya mu Kiwonvu kya Yorudaani okulwanyisa Abayisirayeli abo, nga kabaka tamanyi nti waliwo abamuteeze emabega w'ekibuga.
15
Yoswa n'Abayisirayeli bonna ne beefuula abakyuse okubadduka, ne badduka nga boolekedde eddungu.
16
Abasajja bonna ab'omu kibuga ne bayitibwa okubawondera. Gye baakoma okuwondera Yoswa, gye baakoma n'okwesuula ekibuga.
17
Abasajja bonna ne baggwaayo mu Ayi ne mu Beteli okuwondera Abayisirayeli, ne baleka ekibuga nga kiggule, awatali akikuuma.
18
Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Effumu ly'okutte ligalulire ku Ayi, kubanga nnaakiwaayo mu mikono gyo.” Yoswa n'agalulira ku kibuga ekyo effumu ly'akutte.
19
Yoswa olwagolola omukono gwe, abateezi ne basituka mangu gye baali beekwese, ne badduka mbiro ne bayingira mu kibuga, ne bakiwamba, amangwago ne bakyokya omuliro.
20
Ab'e Ayi bwe baatunulako emabega ne balaba omukka oguva mu kibuga nga gunyooka okutuuka mu bire, ne babulwa gye banaddukira, kubanga Abayisirayeli abaali baddukidde mu ddungu, baabakyukira okubalumba.
21
Yoswa n'Abayisirayeli bonna bwe baalaba ng'abateezi baabwe bawambye ekibuga era nga kinyooka omukka, awo ne bakyuka ne batandika okutta ab'e Ayi.
22
N'Abayisirayeli abaali mu kibuga, nabo ne bajja okulumba abalabe. Olwo ab'e Ayi ne babeera wakati, nga beetooloddwa Abayisirayeli, ne battibwa bonna, ne wataba n'omu asigalawo, wadde adduka,
23
okuggyako kabaka w'e Ayi gwe baawamba nga mulamu, ne bamutwalira Yoswa.
24
Awo Abayisirayeli bwe baamala okuttira ddala abatuuze b'omu Ayi bonna abaali babawondedde mu ddungu, ne bakomawo mu Ayi, ne batta buli muntu eyalimu.
25
Effumu Yoswa lye yali akutte ng'aligalulidde ku Ayi, n'atalissa wansi okutuusa nga buli eyakirimu amaze okuttibwa. Abantu bonna ab'omu Ayi abasajja n'abakazi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, ne battibwa ku lunaku olwo.
27
Wabula amagana n'ebintu, Abayisirayeli bye baanyaga mu kibuga, ne babyetwalira, nga Mukama bwe yalagira Yoswa.
28
Awo Yoswa n'ayokya Ayi omuliro, n'akireka nga matongo, era ne leero bwe kikyali.
29
N'awanika kabaka w'e Ayi ku muti okutuusa olweggulo. Enjuba bwe yagwa, n'alagira bawanuleyo omulambo, ne bagusuula ku mulyango ogwa wankaaki w'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja ekyaliwo ne kaakano.
30
Awo Yoswa n'azimbira Mukama, Katonda wa Yisirayeli, alutaari ku Lusozi Ebali.
31
Yagizimba ng'agoberera ebiragiro bya Musa, omuweereza wa Katonda, bye yawa Abayisirayeli, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa nti: “Alutaari ekolebwenga na mayinja amalamba agatayasiddwa na kyuma kyonna.” Ne baweerako eri Mukama ebitambiro ebyokebwa, era ne bawaayo ebiweebwayo olw'okutabagana.
32
Amateeka Musa ge yawandiika, Yoswa n'agawandiika awo ku mayinja ng'Abayisirayeli balaba.
33
Abayisirayeli bonna enzaalwa era n'ab'amawanga amalala ababeera mu bo, n'abakulembeze baabwe n'abaami era n'abalamuzi baabwe ne bayimirira erudda n'erudda lw'Essanduuko, nga batunuulidde bakabona Abaleevi, abasitudde Essanduuko eyo ey'Endagaano ya Mukama. Ekitundu kyabwe ekimu ekyokubiri, baayimirira nga batunuulidde Olusozi Gerizimu, n'ekitundu ekirala nga batunuulidde Olusozi Ebali. Bw'atyo Musa omuweereza wa Katonda bwe yabalagira okusooka okukola, nga bagenda okuweebwa omukisa.
34
Awo Yoswa n'asoma mu lwatu Amateeka gonna, omuli ebigambo eby'okusabira omukisa n'okukolima, nga bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky'Amateeka.
35
Tewali teeka lya Musa na limu Yoswa ly'ataasomera lukuŋŋaana lwonna olw'Abayisirayeli, omuli abakazi n'abaana abato, n'ab'amawanga amalala ababeera mu bo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24