bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 6
Joshua 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Enzigi za Yeriko zaali ziggaliddwawo ddala, olw'okwerinda Abayisirayeli, nga tewali n'omu ayingira, wadde afuluma.
2
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Ntadde mu mikono gyo ekibuga Yeriko ne kabaka waamu, n'abalwanyi ab'amaanyi.
3
Ggwe n'abalwanyi bo, mujja kutambula mukyetooloole omulundi gumu buli lunaku, okumala ennaku mukaaga.
4
Bakabona musanvu, nga buli omu akutte eŋŋombe ey'ejjembe ly'endiga ennume, bajja kukulemberamu Essanduuko ey'Endagaano. Ku lunaku olw'omusanvu mulitambula okwetooloola ekibuga emirundi musanvu, nga bakabona bafuuwa eŋŋombe.
5
Awo balifuuwa nnyo eŋŋombe. Bwe muliwulira eddoboozi ly'eŋŋombe, abantu bonna ne baleekaana mu maloboozi ag'omwanguka, ekisenge ky'ekibuga ne kiryoka kigwa. Olwo eggye lyonna ne liyingira butereevu mu kibuga.”
6
Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n'ayita bakabona n'abagamba nti: “Musitule Essanduuko ey'Endagaano, era musanvu ku mmwe bagikulemberemu nga bakutte eŋŋombe ez'amayembe g'endiga ennume.”
7
Awo n'agamba basajja be nti: “Mutambule, mwetooloole ekibuga. Abalina ebyokulwanyisa bakulemberemu Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano.”
8
Awo Yoswa bwe yamala okulagira bw'atyo abantu, bakabona omusanvu abakutte eŋŋombe omusanvu ez'amayembe g'endiga ennume nga bali mu maaso ga Mukama, ne bagenda nga bafuuwa eŋŋombe, nga bakabona abasitudde Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bavaako emabega.
9
Abaalina ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona abafuuwa eŋŋombe. Olwo abaali bakoobera emabega ne bagoberera Essanduuko, ne bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
10
Kyokka Yoswa yali alagidde basajja be nti: “Temuleekaana era temubaako kye mwogera, wadde okuwuliza eddoboozi lyammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira, olwo ne mulyoka muleekaana.”
11
Awo n'abalagira okutwala Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bagyetoolooze ekibuga omulundi gumu. Olwo ne badda mu lusiisira ne basula omwo.
12
Yoswa n'azuukuka ku makya ku lunaku olwaddirira.
13
Ne bakabona omusanvu abakutte eŋŋombe omusanvu ez'amayembe g'endiga ennume, ne bakulemberamu Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagenda nga bafuuwa eŋŋombe obutasalako. Abalwanyi abalina ebyokulwanyisa ne bakulemberamu. Abavaako emabega ne batambulira emabega w'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano. Ebbanga lyonna ng'eŋŋombe zivuga.
14
Ne ku lunaku olwokubiri, ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Baakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.
15
Ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera nkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga mu ngeri ye emu. Naye ku lunaku olwo ne bakyetooloola emirundi musanvu.
16
Ku mulundi ogw'omusanvu bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba basajja be nti: “Muleekaane, kubanga ekibuga Mukama akibawadde!
17
Ekibuga n'ebikirimu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe. Rahabu malaaya n'ab'omu nnyumba ye be bokka ab'okutalizibwawo, kubanga yakweka abakessi be twatuma.
18
Naye mwewalire ddala okubaako kye mutwala ku by'okuzikiriza. Bwe munaatwalako, mujja kuleetera olusiisira lw'Abayisirayeli emitawaana n'okuzikirizibwa.
19
Naye ebintu byonna ebya ffeeza, n'ebya zaabu, n'eby'ekikomo, n'eby'ekyuma, byawuliddwa Mukama, bya kutwalibwa mu ggwanika lya Mukama.”
20
Awo bakabona ne bafuuwa eŋŋombe. Abasajja bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, ne baleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka, ekisenge ekyetoolodde ekibuga ne kigwa wansi. Awo eggye lyonna ne lyambuka mu kibuga, buli omu ng'agenda butereevu mu maaso ge, ekibuga ne bakiwamba.
21
Ne batta bonna abaali mu kibuga, abasajja n'abakazi, abato era n'abakulu, awamu n'ente, n'endiga n'endogoyi.
22
Abasajja ababiri abaakola ogw'obukessi, Yoswa n'abagamba nti: “Mugende mu nnyumba y'omukazi malaaya mumufulumye, ye n'ab'omu nnyumba ye bonna nga bwe mwamulayirira.”
23
Abavubuka abakessi ne bayingira ne bafulumya Rahabu, wamu ne kitaawe ne nnyina ne baganda be, era n'abantu be abalala bonna, n'ebibye byonna, ne babaleeta, ne babateeka kumpi n'olusiisira lw'Abayisirayeli.
24
Awo ekibuga ne bakyokya omuliro, n'ebyalimu byonna. Naye ffeeza ne zaabu n'ebintu eby'ekikomo n'eby'ekyuma ne babitwala mu ggwanika lya Mukama.
25
Kyokka Yoswa n'awonya obulamu bwa Rahabu malaaya, n'obw'ab'omu nnyumba ya kitaawe wa Rahabu oyo, n'obwa bonna be yalina, kubanga Rahabu oyo yakweka abakessi, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko. Bazzukulu ba Rahabu bakyali mu Yisirayeli ne kaakano.
26
Mu biro ebyo, Yoswa n'ayisa ekirangiriro eky'amaanyi ekigamba nti: “Buli agezaako okuzimba obuggya ekibuga kino Yeriko, akolimirwe mu maaso ga Mukama. Buli alissaawo omusingi gwakyo, alifiirwa omwana we omuggulanda. Buli aliwangamu enzigi zaakyo, alifiirwa omwana we omuggalanda.”
27
Bw'atyo Mukama n'abeera ne Yoswa, ettutumu lye ne libuna mu nsi eyo yonna.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24