bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 24
Joshua 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Awo Yoswa n'akuŋŋaanya ebika ebya Yisirayeli mu Sekemu. N'ayita abantu abakulu, n'abakulembeze, n'abalanzi, era n'abakungu ba Yisirayeli. Ne bajja mu maaso ga Mukama.
2
Yoswa n'agamba abantu bonna nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Ewufuraate, ne basinzanga balubaale. Omu ku bajjajjammwe abo, ye Teera, kitaawe wa Aburahamu ne Nahori.
3
Aburahamu jjajjammwe ne mmuggya emitala w'Omugga ogwo Ewufuraate, ne mmuyisa mu nsi yonna ey'e Kanaani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Yisaaka.
4
Yisaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Ne mpa Esawu ensi Seyiri ey'ensozi okuba eyiye. Naye Yakobo n'abaana be, ne baserengeta e Misiri.
5
Oluvannyuma ne ntuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye nakolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe.
6
Naggya bajjajjammwe e Misiri, Abamisiri ne babawondera n'amagaali n'abeebagadde embalaasi. Naye bajjajjammwe bwe baatuuka ku Nnyanja Emmyufu,
7
ne bankoowoola, Nze Mukama, mbayambe. Ne nteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Abamisiri ne mbayiwako ennyanja ne mbasaanyaawo. Mumanyi bye nakola ku Misiri. “ ‘Mwamala ekiseera kiwanvu mu ddungu.
8
Awo ne mbaleeta mu nsi y'Abaamori, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'Omugga Yorudaani. Ne babalwanyisa mmwe. Naye mmwe ne mbawa okubawangula, ne mwefuga ensi yaabwe, bo ne mbazikiriza nga mmwe mulaba.
9
Awo kabaka w'e Mowaabu, Balaki mutabani wa Zippori, n'abalwanyisa mmwe Abayisirayeli. N'atumya Balamu mutabani wa Bewori, n'amusaba okubakolimira.
10
Naye ne ŋŋaana okuwuliriza ebya Balamu, kyeyava abasabira omukisa. Bwe ntyo ne mbawonya Balaki.
11
Ne musomoka Omugga Yorudaani, ne mutuuka e Yeriko. Abantu b'e Yeriko ne babalwanyisa, ng'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abagirugaasi, n'Abahiivi, n'Abayebusi bwe baakola. Naye ne mbawa mmwe okubawangula abo bonna.
12
Bwe mwali nga mutuuka, ne ndeeta mu bantu abo entiisa n'egoba bakabaka bombi ab'Abaamori. Tebyali bitala byammwe, wadde emitego gyammwe.
13
Nabawa ensi gye mwali mutalimanga, n'ebibuga bye mwali mutazimbanga, ne mubibeeramu. Ne mulya ku mizabbibu ne ku mizayiti gye mutasimbanga.’ ”
14
“Kale kaakano musseemu Mukama ekitiibwa, mumuweerezenga mu mazima awatali bukuusa. Era muggyeewo balubaale, bajjajjammwe be baasinzanga mu Mesopotaamiya ne mu Misiri, muweerezenga Mukama yekka.
15
Era oba nga temwagala kumuweerezanga, mulondeewo olwaleero gwe munaaweerezanga: oba balubaale, bajjajjammwe be baaweerezanga mu Mesopotaamiya, oba balubaale b'Abaamori, ab'omu nsi gye mulimu kaakati. Naye nze n'ab'omu nnyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”
16
Abantu ne baddamu nti: “Kikafuuwe ffe okuva ku Mukama ne tuweereza balubaale!
17
Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu buddu mu nsi y'e Misiri, ne tulaba ebyewuunyo bye yakola. Yatukuuma wonna gye twagendanga mu mawanga gonna ge twayitangamu.
18
Bwe twali nga tujja mu nsi eno, Mukama n'agobamu Abaamori bonna abaagirimu. N'olwekyo tunaaweerezanga Mukama, kubanga ye Katonda waffe.”
19
Yoswa n'agamba abantu nti: “Naye muyinza okulemwa okuweereza Mukama. Ye ye Katonda, era mutuukirivu. Kale taasonyiwenga bibi byammwe. Tagenda kukkiriza kuvuganyizibwa.
20
Bwe munaamuvangako ne muweereza balubaale, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza. Alibazikiriza, newaakubadde nga yasooka kubakolera birungi.”
21
Abantu ne bagamba Yoswa nti: “Nedda, tunaaweerezanga Mukama.”
22
Yoswa n'abagamba nti: “Muli bajulirwa bammwe mwennyini nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama.” Ne bagamba nti: “Tuli bajulirwa.”
23
N'agamba nti: “Kale kaakano muggyeewo balubaale abagwira be mulina. Mukyusize ddala emitima gyammwe eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli.”
24
Abantu ne bagamba Yoswa nti: “Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga. Ne by'alagira, tunaabituukirizanga.”
25
Bw'atyo Yoswa n'akola endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera amateeka n'ebiragiro e Sekemu.
26
Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu Kitabo eky'Amateeka ga Katonda. N'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omuvule mu kifo ekitukuvu ekya Mukama.
27
N'agamba abantu bonna nti: “Ejjinja lino linaabanga mujulirwa waffe, kubanga liwulidde ebigambo byonna Mukama by'atugambye; kyerinaavanga liba omujulirwa abalumiriza mmwe, mulemenga okwegaana Katonda wammwe.”
28
Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli omu n'adda mu kitundu kye yagabana okuba ekikye.
29
Ebyo bwe byaggwa, omuweereza wa Mukama, Yoswa mutabani wa Nuuni, n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi.
30
Ne bamuziika mu ttaka lye, lye yagabana e Timunati Seera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ku ludda olw'ebukiikakkono obw'Olusozi Gaasi.
31
Ebbanga lyonna Yoswa lye yamala nga mulamu, Abayisirayeli baaweereza Mukama. Era ne bongera okumuweereza ebbanga lyonna, ery'obulamu bw'abakulembeze abeerabirako n'agaabwe byonna Mukama bye yakolera Yisirayeli, era abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa.
32
Amagumba ga Yosefu, Abayisirayeli ge baaleeta nga bava e Misiri, ne bagaziika e Sekemu, mu ttaka Yakobo lye yagula ebitundu bya ffeeza ekikumi ku batabani ba Hamori, kitaawe wa Sekemu. Ettaka eryo ne liba obusika bwa bazzukulu ba Yosefu.
33
Eleyazaari mutabani wa Arooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finehaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24