bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Joshua 22
Joshua 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Awo Yoswa n'ayita ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse,
2
n'abagamba nti: “Mukoze byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira okukola, era muwulidde ebiragiro byange byonna.
3
Ebbanga lino lyonna temulekererangako Bayisirayeli bannammwe, naye mutuukirizza bulungi ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe.
4
Kaakano Mukama Katonda wammwe awadde Bayisirayeli bannammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. N'olwekyo muddeeyo ewammwe mu kitundu Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa okuba ekyammwe mu buvanjuba bwa Yorudaani.
5
Mutuukirizenga bulungi amateeka n'ebiragiro, Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okukolanga byonna by'ayagala, n'okukwatanga amateeka ge, n'okubeeranga abeesigwa gy'ali, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna.”
6
Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasiibula ne baddayo ewaabwe.
7
Ekitundu ekimu eky'Ekika kya Manasse, Musa yali akiwadde ettaka mu Basani ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yorudaani, ate ekitundu ekirala Yoswa ng'akiwadde ku ludda Olw'ebugwanjuba bwa Yorudaani, wamu n'ebika ebirala.
8
Yoswa n'asiibula ebika ebyo ng'abagamba nti: “Muddayo ewammwe nga muli bagagga nnyo: nga mulina amagana g'ente ne ffeeza, ne zaabu, n'ebikomo n'ebyuma n'engoye nnyingi. Mugabane ne baganda bammwe, ebyo bye mwanyaga ku balabe bammwe.” Awo ne baddayo ewaabwe.
9
Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddayo ewaabwe, ne baleka Abayisirayeli abalala mu Siilo, mu nsi y'e Kanaani, ne bagenda mu nsi yaabwe, ey'e Gileyaadi, gye baaweebwa okuba eyaabwe, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
10
Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse, bwe baatuuka e Gelilooti, ekiriraanye Omugga Yorudaani mu nsi y'e Kanaani, ne bazimba awo alutaari ennene, esikiriza okulaba.
11
Awo Abayisirayeli abalala ne bawulira abantu nga bagamba nti: “Laba, ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bazimbye alutaari e Gelilooti, ku ludda lwaffe olwa Yorudaani.”
12
Abayisirayeli bwe baakiwulira, bonna ne bakuŋŋaanira e Siilo, bagende babalwanyise.
13
Awo Abayisirayeli ne batuma Finehaasi, mutabani wa Eleyazaari kabona, eri ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse mu nsi y'e Gileyaadi.
14
N'agenda n'abakulembeze kkumi, abaava mu buli kika kya Yisirayeli, era nga be bakulu b'ennyumba zaabwe.
15
Ne bajja eri ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse mu nsi y'e Gileyaadi,
16
ne boogerera ekibiina kya Mukama kyonna, ne babagamba nti: “Lwaki mukoze ekintu kino ekibi mu maaso ga Mukama Katonda wa Yisirayeli? Mujeemedde Mukama nga mwezimbira alutaari eno! Mumuvuddeko, temukyamugoberera!
17
Era twongere ku kibi kye twakolera e Peyori, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newaakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be?
18
Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Yisirayeli kyonna.
19
Naye kaakano oba ng'ensi yammwe tegwanira kusinzizaamu, mujje mu nsi ya Mukama omuli eweema ye, mwefunire ettaka mu ffe. Naye temujeemera Mukama, oba okutufuula abajeemu nga muzimba alutaari endala, ng'ate alutaari ya Mukama Katonda waffe weeri.
20
Akani mutabani wa Zeera, bwe yagaana okuwulira ekiragiro ekifa ku bintu ebyali eby'okuzikiriza, ekibiina kyonna ekya Yisirayeli tekyabonerezebwa? Akani si ye yekka eyafa olw'ekibi kye.”
21
Ab'Ekika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddamu abakulu b'ennyumba z'Abayisirayeli abalala nti:
22
“Mukama, ye Katonda Nnannyinibuyinza! Mukama, ye Katonda Nnannyinibuyinza! Ye amanyi, era nammwe twagala mumanye kye twakola. Ddala oba nga twakikola lwa bujeemu, na lwa kweggya ku Mukama, ku luno temutusaasira.
23
Oba nga twazimba alutaari lwa kujeemera Mukama, tuleme kumugoberera, oba tulyoke tuweereko gy'ali ebitambiro ebyokebwa oba ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, oba ebiweebwayo olw'okutabagana, Mukama yennyini atubonereze.
24
Nedda! Twakikola kubanga twatya nti gye bujja, bazzukulu bammwe bandigamba abaffe nti: ‘Mulina nkolagana ki ne Mukama, Katonda wa Yisirayeli?
25
Mukama yafuula Yorudaani ensalo wakati waffe nammwe Abarewubeeni n'Abagaadi. Temulina kye mugabana wa Mukama.’ Bwe batyo bazzukulu bammwe bandiresezzaayo bazzukulu baffe okusinza Mukama.
26
Kale kyetwava tuzimba alutaari, si lwa kwokerako bitambiro, oba okuweerako ebiweebwayo,
27
naye twagizimba, ebe obujulizi obulaga abantu baffe n'abammwe, era n'ab'omu mirembe egirituddirira nti ddala tusinza Mukama, era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'okutabagana, bazzukulu bammwe baleme kugamba bazzukulu baffe gye bujja nti: ‘Temulina kye mugabana wa Mukama.’
28
Twalowooza nti bwe balitugamba bwe batyo, oba bwe baligamba bwe batyo bazzukulu baffe gye bujja, tuligamba nti: ‘Mulabe alutaari bajjajjaffe gye baakola ng'efaananira ddala alutaari ya Mukama. Baagikola, si lwa biweebwayo ebyokebwa, oba lwa bitambiro, naye ebe obujulizi wakati waffe nammwe.’
29
Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, oba okulekera awo okumugoberera, ne tuzimba alutaari okuweerako ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, oba ebitambiro. Ekyo tetuyinza kukikola nga waliwo alutaari ya Mukama Katonda waffe mu maaso g'Eweema ye.”
30
Awo Finehaasi kabona, n'abakulembeze b'ekibiina, abakulu b'ennyumba za Yisirayeli abaali naye, bwe baawulira ebigambo ab'omu Bika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bye bagambye, ne basanyuka nnyo.
31
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abagamba nti: “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera. Muwonyezza Abayisirayeli okubonerezebwa Mukama.”
32
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abakulembeze, ne bava mu nsi y'e Gileyaadi gye baasisinkanira Abarewubeeni n'Abagaadi, ne baddayo mu nsi y'e Kanaani eri Abayisirayeli, ne babategeeza ebibaddewo.
33
Abayisirayeli ne basanyuka, ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku bya kugenda kulwanyisa Barewubeeni na Bagaadi, n'okuzikiriza ensi mwe babeera.
34
Abarewubeeni n'Abagaadi ne batuuma alutaari eyo erinnya “Obujulizi”, nga bagamba nti: “Eno bwe bujulizi obutulaga nti Mukama ye Katonda.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24